bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 5
Deuteronomy 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 6 →
1
Awo Musa n'ayita Abayisirayeli bonna, n'abagamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, muwulire amateeka n'ebiragiro bye mbategeeza olwaleero. Mubiyige era mwegendereze okubituukirizanga.
2
Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano ku Lusozi Horebu.
3
Endagaano eyo teyagikola na bajjajjaffe bokka, wabula yagikola naffe ffenna abali wano, kati abalamu.
4
Eyo ku Lusozi, Mukama yayogera nammwe nga mulabagana maaso na maaso, ng'asinziira mu muliro wakati.
5
Nze nayimirira wakati wammwe ne Mukama mu kiseera ekyo, okubategeeza Mukama bye yali abagamba, kubanga mwali mutidde omuliro, ne mutayambuka ku lusozi.
6
“Mukama n'agamba nti: ‘Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwangamu obuddu.
7
“ ‘Temuubenga na Katonda mulala okuggyako Nze.
8
“ ‘Temwekolerenga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi wansi mu ttaka.
9
Temuuvuunamirenga bifaananyi ebyo, era temuubisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, sivuganyizibwa. Mbonereza abazzukulu bannakabirye ne bannakasatwe olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa.
10
Naye nsaasira abantu enkumi n'enkumi abanjagala, era abakuuma ebiragiro byange.
11
“ ‘Temuulayirirenga bwereere linnya lyange, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibonereza buli alayirira obwereere erinnya lyange.
12
“ ‘Mukuumenga olunaku olw'okuwummula nga lwange, nga Nze Mukama Katonda wammwe bwe nabalagira.
13
Mulina ennaku mukaaga okukolerangamu emirimu gyammwe gyonna.
14
Naye olunaku olw'omusanvu lwa kuwummula. Luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama Katonda wammwe. Temuulukolerengako mulimu na gumu, mmwe mwennyini wadde batabani bammwe ne bawala bammwe, wadde abaddu bammwe, wadde abazaana bammwe, ente zammwe, endogoyi zammwe n'ebisolo byammwe ebirala, wadde abagwira abali awaka wammwe. Abaddu bammwe n'abazaana bammwe nabo bawummulenga nga mmwe.
15
Mujjukirenga nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe ne mbaggyayo, nga nkozesa obuyinza obungi n'amaanyi. Kyenva mbalagira okukuumanga olunaku olw'Okuwummula.
16
“ ‘Bakitammwe ne bannyammwe mubassengamu ekitiibwa, nga Nze Mukama Katonda wammwe bwe mbalagira, mulyoke muwangaale era mube bulungi mu nsi gye mbawa.
17
“ ‘Temuttenga bantu.
18
“ ‘Era temuuyendenga.
19
“ ‘Era temubbenga.
20
“ ‘Era temuuwaayirizenga bannammwe.
21
“ ‘Era temuusigulenga baka bannammwe. Temuuyaayaanirenga nnyumba za bantu balala, newaakubadde ennimiro zaabwe, oba abaddu baabwe, oba abazaana baabwe, newaakubadde ente zaabwe, oba endogoyi zaabwe, wadde ekintu ekirala kyonna eky'omuntu omulala.’
22
“Ebyo bye biragiro Mukama bye yabawa mwenna nga mukuŋŋaanidde ku lusozi. Yabibagamba mu ddoboozi ery'omwanguka ng'asinziira mu muliro wakati ne mu kire, mu kizikiza ekikutte, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja, n'abimpa.
23
“Kale bwe mwawulira eddoboozi eriva mu kizikiza, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera mmwe n'abakulembeze bammwe, n'abakulu b'ebika byammwe bonna,
24
ne mugamba nti: ‘Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe. Tuwulidde eddoboozi lye eriva mu muliro wakati. Olwaleero tulabye nga Katonda ayogera n'omuntu, omuntu n'asigala nga mulamu.
25
Naye kaakano tufiira ki? Omuliro guno omungi gujja kutusaanyaawo! Bwe tunaddamu okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tujja kufa.
26
Ani mu bantu bonna, eyali awulidde eddoboozi lya Katonda Nnannyinibulamu, ng'ayogerera mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, omuntu oyo n'asigala nga mulamu?
27
Genda, ggwe oba osembera okumpi, owulire Mukama Katonda waffe by'anaagamba, okomewo otubuulire byonna by'anaaba akugambye. Tujja kubiwulira tubituukirize.’
28
“Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti: ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi.
29
Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, ne bakuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezzadde lyabwe bandibaddenga bulungi ennaku zonna!
30
Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe.
31
Naye ggwe okomewo wano we ndi, nkutegeeze amateeka gonna n'ebiragiro n'ebibuuliriro by'onoobayigiriza, babituukirizenga mu nsi gye mbawa okugyefuga.’
32
“Kale mwegenderezenga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, awatali kuwunjawunja kudda ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono.
33
Mukolerenga ku ebyo byonna Mukama Katonda wammwe bye yabalagira, mulyoke mubenga bulungi, era muwangaalire mu nsi, gye mulyefuga.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
Recommended Reading
Commentary
Deuteronomy Commentaries
→
Devotional
Deuteronomy Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→