bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 31
Deuteronomy 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 32 →
1
Musa n'ayongera okutegeeza Abayisirayeli bonna ebigambo ebyo.
2
N'abagamba nti: “Olwaleero mpezezza emyaka kikumi mu abiri. Sikyayinza kuba mukulembeze wammwe, era Mukama yaŋŋamba nti: ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yorudaani.’
3
Mukama Katonda wammwe ye alibakulemberamu okusomoka, n'azikiriza, nga mulaba, ab'amawanga agaliyo, ne mwefuga ensi yaabwe. Era Yoswa ye alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yagamba.
4
Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sihoni ne Ogi, bakabaka b'Abaamori, be yazikiriza n'ensi yaabwe.
5
Mukama aliwaayo abantu abo mu mikono gyammwe, ne mubakolako nga bwe mbalagidde.
6
Mube bagumu era bamalirivu. Temubatya, era tebabatekemula. Mukama Katonda wammwe yennyini ye aligenda nammwe. Talibalekerera, era talibaabulira mmwe.”
7
Awo Musa n'ayita Yoswa, n'amugambira mu maaso g'Abayisirayeli bonna nti: “Beera mugumu era mumalirivu. Ggwe ojja okukulembera abantu bano okugenda okwefuga ensi Mukama gye yalayira okuwa bajjajjaabwe.
8
Era Mukama yennyini, omukulembeze wammwe, anaabeeranga naawe. Taakulekererenga, era taakwabulirenga. Totya era totekemuka.”
9
Awo Musa n'awandiika Amateeka ago, n'agakwasa bakabona Abaleevi, abaasitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, era n'abakulembeze bonna aba Yisirayeli.
10
Musa n'abalagira nti: “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo okusonyiyirangamu amabanja, ku Mbaga ey'Ensiisira,
11
ng'Abayisirayeli bonna bazze okusinza Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, munaasomeranga Amateeka gano mu maaso g'Abayisirayeli bonna bawulire.
12
Munaakuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, n'abagwira ababeera mu bibuga byammwe, bawulire era bayige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, n'okukwatanga Amateeka gano gonna, bagatuukirizenga,
13
era abaana baabwe abatannagayiga bawulire, bayige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna ze mulibeera mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.”
14
Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano osigazzaayo ennaku ntono ofe. Yita Yoswa, mweyanjule mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ndyoke mmulagire.” Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
15
Nga bali eyo, Mukama n'abalabikira mu mpagi ey'ekire. Empagi eyo n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'Eweema.
16
Mukama n'agamba Musa nti: “Onootera okufa weegatte ku bajjajjaabo. Abantu bano tebaliba beesigwa gye ndi era balimenya endagaano gye nakola nabo. Balindekawo ne basinza balubaale b'omu nsi gye bagenda okubeerangamu.
17
Ndibasunguwalira mu kiseera ekyo. Ndibaabulira ne mbeekweka, ne bazikirizibwa. Balituukibwako ebizibu n'okubonaabona okungi. Olwo balitegeera ng'ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga Nze Katonda waabwe sikyali wamu nabo.
18
Era sirirema kubeekwekera ddala olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga baliba bakyuse ne basinza balubaale.
19
“Kale kaakano, ggwe wennyini wandiika oluyimba luno, era oluyigirize Abayisirayeli, olubayimbise. Oluyimba luno lwe lunaabanga omujulizi wange alumiriza Abayisirayeli abo,
20
kubanga kaakano ŋŋenda okubayingiza mu nsi engimu era engagga, gye nalayirira bajjajjaabwe. Naye bwe balimala okulya ne bakkuta, ne bagejja, balikyukira balubaale ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange.
21
Ekiseera bwe kirituuka ne batuukibwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, kubanga ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, nga sinnabatwala mu nsi gye nneerayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.”
22
Awo Musa n'awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza Abayisirayeli.
23
Awo Mukama n'ayogera ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'amugamba nti: “Beera mugumu, era mumalirivu, kubanga ggwe olituusa Abayisirayeli mu nsi gye nabalayirira, era nze nnaabeeranga wamu naawe.”
24
Awo Musa bwe yamala okuwandiika mu kitabo ebigambo by'Amateeka gano n'okubimalirayo ddala obutalekaayo na kimu,
25
n'alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'agamba nti:
26
“Mutwale ekitabo kino eky'Amateeka, mukiteeke ku mabbali g'Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga eyo, nga bwe bujulizi obulumiriza abantu be.
27
Mmanyi nga bwe bali abajeemu era abakakanyavu, kubanga ne leero nga nkyali mulamu, nga ndi wamu nabo, babadde bajeemera Mukama. Kale tebalyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa?
28
Mumpitire abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakulembeze bammwe, bakuŋŋaane, ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, nkoowoole eggulu n'ensi, bibe abajulizi ababalumiriza,
29
kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.”
30
Musa n'ayogera ebigambo by'oluyimba luno byonna, ng'ekibiina ky'Abayisirayeli kyonna kiwulira.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34