bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 20
Deuteronomy 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 21 →
1
“Bwe mugendanga okulwanyisa abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene, temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ali wamu nammwe.
2
Kale bwe munaabanga mugenda okutandika olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'ab'eggye,
3
n'abagamba nti: ‘Muwulire mmwe Abayisirayeli! Olwaleero munaatera okutandika okulwanyisa abalabe bammwe. Muleme kuddirira na kutya, wadde okukankana. Abalabe bammwe baleme kubatekemula,
4
kubanga Mukama Katonda wammwe ye anaagenda nammwe okulwanyisa abalabe bammwe ku lwammwe, n'okubatuusa mmwe ku buwanguzi.’
5
“Awo abakulu mu ggye banaayogeranga n'abaserikale, ne babagamba nti: ‘Wano waliwo abadde azimbye ennyumba, kyokka nga tannakola mukolo gwa kugiyingira? Oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo, omuntu omulala n'akola omukolo ogw'okugiyingira.
6
Era ani ali wano, eyasimba ennimiro ey'emizabbibu, atannalya ku bibala byayo? N'oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo ne biriibwa omulala.
7
Wano era waliwo ayogereza omukazi kyokka nga tannamuwasa? Era n'oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo, omukazi n'awasibwa omusajja omulala.’
8
“Abakulu mu ggye era baneeyongeranga okugamba abaserikale nti: ‘Wano waliwo atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwaamu omutima nga ye.’
9
Kale abakulu mu ggye bwe banaamalanga okwogera n'abaserikale, banassangawo abaduumizi mu ggye okukulembera abaserikale.
10
“Bwe munaasembereranga ekibuga okukirwanyisa, munaasookanga ne muwa abakirimu omukisa okwewaayo.
11
Bwe banaabaddangamu nti bakkirizza okwewaayo, ne babaggulirawo, abantu bonna abakirimu banaateekwanga okubakoleranga emirimu n'okubaweerezanga.
12
Naye bwe banaagaananga okwewaayo gye muli ne basalawo okubalwanyisa, munaazingizanga ekibuga ekyo.
13
Era Mukama Katonda wammwe bw'anaakiwangayo mu mikono gyammwe ne mukiwangula, munattanga abasajja bonna abakirimu.
14
Naye muneetwaliranga abakazi n'abaana abato, n'amagana, na buli kintu ekinaabanga mu kibuga ekyo. Era munaakozesanga eby'omunyago byonna bye muggye ku balabe bammwe. Ebyo Mukama Katonda wammwe anaabanga abibawadde.
15
Bwe mutyo bwe munaakolanga ne ku bibuga byonna ebibali ewala ennyo, ebitali bya mu nsi gye mugenda okubeeramu.
16
“Naye bwe munaawambanga ebibuga ebiri mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, temuutalizengawo kiramu na kimu ekissa omukka.
17
Munaasaanyizangawo ddala abantu bonna: Abahiiti n'Abaamori, Abakanaani n'Abaperizi, Abahiivi n'Abayebusi, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira mmwe.
18
Mubattanga baleme kubaleetera kukola bibi ne munyiiza Mukama Katonda wammwe, nga babayigiriza okukola eby'emizizo byabwe byonna, bye baakoleranga balubaale baabwe.
19
“Bwe munaamalanga ebbanga eggwanvu nga muzingizizza ekibuga nga mukirwanyisa okukiwamba, temuuzikirizenga miti gyakyo nga mugigalulira embazzi, kubanga muyinza okugiryako ebibala. N'olwekyo temuugitemenga. Kale omuti ogw'omu nnimiro oba ogw'omu ttale, muntu nti muguzingize?
20
Emiti egyo gyokka gye mumanyi nga tegiriibwako bibala, gye munaayinzanga okuzikiriza ne mugitemaatema okugizimbisa bye mwetaaga mu kulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34