bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 15
Deuteronomy 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 16 →
1
“Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, munaasonyiwanga abantu amabanja.
2
Eno ye ngeri gye munaakikolangamu: buli anaabanga alina munne gw'abanja, anaamusonyiwanga kye yamuwola. Taakibanjenga munne oyo era muganda we, kubanga Mukama yennyini ye anaabanga alangiridde ekisonyiwo.
3
Abagwira munaayinzanga okubabanja, naye buli kintu kyammwe ekiri mu baganda bammwe, munaakibalekeranga.
4
“Tewaabenga mwavu mu mmwe, kubanga Mukama Katonda wammwe taalemenga kubawa mukisa mu nsi gy'abawa okwefuga, ebe obutaka bwammwe,
5
kasita munaanyiikiranga okuwulira, ne mutuukirizanga ebiragiro bye bino byonna bye mbawa olwaleero.
6
Ddala Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa nga bwe yabasuubiza. Munaawolanga amawanga mangi, naye mmwe, temwewolenga. Munaafuganga amawanga mangi, naye mmwe, tegaabafugenga.
7
“Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazenga mitima gyamwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu,
8
wabula mumukwatirwanga ekisa, ne mumuwola byonna by'anaabanga yeetaaga.
9
Temuugaanenga kumuwola nga mwekwasa nti omwaka ogw'omusanvu ogw'okusonyiyiramu amabanja gunaatera okutuuka. Temukkirizenga ndowooza eyo embi kuyingira mu mitima gyammwe. Bwe munaagaananga okumuwola, n'amala akoowoola Mukama ng'abawawaabira, munaavuunaanibwanga ekibi ekyo.
10
Temulemanga kumuweesa kwagala, nga n'omutima gwammwe teguliimu kwennyamira. Olwo Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga.
11
Abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna. Kyenva mbalagira mmwe nti temulemanga kuyamba baganda bammwe abali mu bwetaavu, era abaavu mu nsi yammwe.
12
“Bwe bakuguzanga Omwebureeyi munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka mukaaga, mu mwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda.
13
Era ng'omuteera ddala okugenda, tomulekanga kugenda nga talina kantu.
14
Omuwanga n'omutima omugabi, ng'otoola ku ndiga n'embuzi, ku mmere ey'empeke ne ku mwenge ogw'emizabbibu, okusinziira ku ebyo Mukama Katonda wo bye yakuweeramu omukisa.
15
Mujjukire nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wammwe n'abanunula, kyenva mbawa ekiragiro ekyo kaakano.
16
“Naye omuddu wo ayinza obutayagala kukuvaako, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mumativu okusigala naawe.
17
Olwo onookwatanga olukato, n'omuwummula okutu kwe ng'ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomuyisanga bw'otyo.
18
Leka kulowooza nti kizibu okumuteera ddala n'akuvaako, kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga, emirimu gya mirundi ebiri egy'omukozi akolera empeera. Bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'onookolanga.
19
“Ente zammwe, embuzi n'endiga zammwe ezisooka okuzaalibwa, munaazaawuliranga Mukama Katonda wammwe. Ente ezo ezisooka okuzaalibwa temuuzikozesenga mirimu, era embuzi n'endiga ezo ezisooka okuzaalibwa, temuuzisalengako byoya.
20
Buli mwaka mmwe n'ab'omu maka gammwe, munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ekyo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu.
21
Naye ezinaabeerangako akamogo, nga nnema oba nga zizibye amaaso, oba nga ziriko ekikyamu ekirala kyonna, temuuziwengayo eri Mukama Katonda wammwe.
22
Munaaziriiranga mu bibuga byammwe. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okuziryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
23
Naye temuulyenga musaayi gwazo. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34