bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 11
Deuteronomy 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 12 →
1
“Kale mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mutuukirizenga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ebibuuliriro bye ennaku zonna.
2
Mumanye olwaleero nti soogera na baana bammwe abatannamanya, era abatannalaba nga Mukama Katonda wammwe bw'akangavvula. Mmwe mwalaba obukulu bwe, n'obuyinza bwe obungi, n'amaanyi ge,
3
n'ebyewuunyo era n'ebikolwa, bye yakolera e Misiri ku kabaka waayo, ne ku Misiri yonna.
4
Mwalaba nga Mukama bwe yasaanyizaawo ddala n'okutuusa kati eggye ly'Abamisiri, n'embalaasi zaabwe, n'amagaali gaabwe, ng'abakuluggusizaako amazzi g'Ennyanja Emmyufu, bwe baali nga babawondera mmwe.
5
Mumanyi bye yabakolera mmwe mu ddungu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.
6
Era mujjukira kye yakola ku Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu ow'omu Kika kya Rewubeeni, ettaka bwe lyayasama ng'Abayisirayeli bonna balaba, ne libamira n'ab'omu maka gaabwe n'eweema zaabwe, na buli kiramu kye baali nakyo.
7
Ddala mwalabanga ebintu byonna ebikulu Mukama bye yakola.
8
“Kale mutuukirizenga ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga, mwefuge ensi gye munaatera okuyingiramu,
9
era mulyoke muwangaalire mu nsi eyo ennungi era engimu, Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe, okugibawa bo ne zzadde lyabwe.
10
Ensi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga, teri ng'ensi y'e Misiri gye mwavaamu, mwe mwasiganga ensigo ne mukola n'amaanyi okuzifukirira, ng'ennimiro y'enva.
11
Naye ensi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga nga musomose Omugga Yorudaani, ye nsi ey'ensozi n'ebiwonvu, efukirirwa enkuba etonnyamu.
12
Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala era agirabirira ennaku zonna, okuva omwaka lwe gutandika okutuusa lwe guggwaako.
13
“Kale munyiikirenga okutuukiriza ebiragiro bye mbawa olwaleero. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna.
14
Olwo anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo ebya ddumbi n'ebya ttoggo, musobolenga okukungula eŋŋaano yammwe n'okufuna omwenge gwammwe ogw'emizabbibu n'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti.
15
Anaabawanga omuddo gw'ensolo zammwe ku ttale. Nammwe mwennyini munaalyanga ne mukkuta.
16
Mwekuume mulemenga okubuzibwabuzibwa ne muwaba ne muweerezanga balubaale era ne mubasinzanga,
17
Mukama n'abasunguwalira mmwe, n'aziyiza enkuba okutonnya, ensi n'ekala n'etebaza bibala, ne muzikirira mangu, wadde nga muli mu nsi ennungi Mukama gy'abawa.
18
“Kale mukuumenga ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe. Mubisibenga ku mikono gyammwe, era mubyetimbenga mu byenyi byammwe ng'akabonero akabibajjukiza.
19
Mubiyigirizenga abaana bammwe. Mubyogerengako nga muli awaka, era nga mutambula mu ŋŋendo, nga mugalamiddeko, era nga mugolokose.
20
Mubiwandiikenga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba zammwe.
21
Olwo mmwe n'abaana bammwe muliwangaalira mu nsi, Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe. Muligibeeramu ebbanga lyonna eggulu lye lirimala nga liri waggulu w'ensi.
22
“Munyiikirenga okukwata amateeka gano gonna ge mbateekera era mugatuukirizenga. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe. Mukolenga byonna by'abalagira era mumunywererengako.
23
Olwo anaagobamu ab'amawanga ago gonna nga mutuuka, mmwe ne mwefuga ensi y'ab'amawanga agasinga eryammwe obunene n'amaanyi.
24
Buli kifo kye munaalinnyangamu ekigere, kinaabeeranga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Ewufuraate mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba.
25
Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe, kubanga buli gye munaagendanga, Mukama Katonda wammwe anaaleeteranga abantu baayo okubassaamu ekitiibwa n'okubatya mmwe, nga bwe yabagamba.
26
“Olwaleero mbawa mulondewo okuweebwa omukisa oba okukolimirwa.
27
Munaaweebwanga omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa olwaleero,
28
munaakolimirwanga bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva ku mpisa ze mbalagira leero, ne musinzanga balubaale be mwali mutamanyi.
29
Kale Mukama Katonda wammwe bw'alibatuusa mu nsi gye mugenda okwefuga, mulirangirira omukisa nga musinziira ku Lusozi Gerizimu, ate ekikolimo nga musinziira ku Lusozi Ebali.
30
Ensozi ezo zombi ziri mitala wa Mugga Yorudaani, mu nsi y'Abakanaani, ababeera mu kiwonvu kya Yorudaani okwolekera Gilugaali, mu mabbali g'emivule gya More.
31
Munaatera okusomoka Omugga Yorudaani, okuyingira mwefuge ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa. Bwe muligyefuga ne mugibeeramu,
32
mwegenderezanga okutuukiriza amateeka gonna n'ebiragiro bye mbateerawo olwaleero.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34