bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 29
Deuteronomy 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
1
Eno ye ndagaano, Mukama gye yalagira Musa okukola n'Abayisirayeli mu nsi ya Mowaabu, ng'eyongerwa ku ndagaano, Mukama gye yakola nabo ku Lusozi Horebu,
2
Musa n'ayita Abayisirayeli bonna, n'agamba nti: “Mwerabirako n'amaaso gammwe ebyo byonna Mukama bye yakola mu nsi y'e Misiri ku kabaka waayo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna.
3
Mwalaba okugezebwa okw'amaanyi n'ebyewuunyo, n'ebyamagero ebikulu.
4
Kyokka n'okutuusa kaakano, Mukama tabawadde mmwe mutima ogutegeera, wadde amaaso agalaba, n'amatu agawulira.
5
Emyaka amakumi ana bukya mbakulembera mu ddungu, ebyambalo byammwe tebibayulikidde ku migongo, n'engatto zammwe tezibakutuseeko mu bigere.
6
Temubadde na mmere gye mulya, oba omwenge ogw'emizabbibu wadde ekitamiiza kyonna kye munywa, naye Mukama yabawa bye mwetaaga mulyoke mumanye nga Mukama ye Katonda wammwe.
7
Era bwe twatuuka mu kifo kino, Sihoni Kabaka w'e Hesubooni, ne Ogi kabaka w'e Basani, baasituka ne batulumba okutulwanyisa. Naye ne tubawangula,
8
ne twefuga ensi yaabwe, ne tugigabanya mu Bika: ekya Rewubeeni, n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri ky'Ekika kya Manasse.
9
Kale mukuumenga ebigambo ebiri mu ndagaano eno, mubituukirizenga, mulyoke mubenga n'omukisa mu byonna bye mukola.
10
“Olwaleero Abayisirayeli muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mwenna abakulu b'ebika byammwe, abakulembeze bammwe, abafuzi bammwe, abasajja,
11
abakazi, abaana abato, n'abagwira ababeera mu mmwe ababatyabira enku era ababakimira amazzi.
12
Muzze mubeere mu ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gy'akola nammwe olwaleero, ng'erimu okweyama okugituukirizanga,
13
abanyweze, mube abantu be, Ye abe Katonda wammwe, nga bwe yabagamba mmwe, era nga bwe yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.
14
Mukama takola nammwe mwekka endagaano eno erimu okweyama okugituukirizanga,
15
wabula agikola naffe ffenna abayimiridde wano mu maaso ge olwaleero, era n'abaana baffe ne bazzukulu baffe abatannazaalibwa.
16
“Mumanyi bulungi embeera gye twalimu mu nsi y'e Misiri, era nga bwe twatambula okuyita mu nsi z'ab'amawanga amalala.
17
Mwalaba ebyenyinyalwa bye baalina: ebifaananyi, emiti, amayinja, ffeeza ne zaabu, ebyasinzibwanga mu bo.
18
Walemenga kubaawo musajja oba omukazi oba amaka, oba ekika, mu bali wano olwaleero, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe, okusinza balubaale b'amawanga gali, n'aba ng'omulandira ogusibukako ekimera eky'obutwa era ekikaawa.
19
Bwe wabaawo awulira ebigambo by'ekikolimo kino ne yeekubagiza mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Nja kuba n'emirembe ne bwe nnaagugubira mu bukakanyavu bw'omutima gwange’, ekyo kiba kya kuzikiriza mwenna, abalungi n'ababi.
20
Mukama taamusonyiwenga. Era Mukama atayagala kuvuganyizibwa, anaasunguwaliranga nnyo omuntu oyo, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ne bimubaako, Mukama n'amusaanyizaawo ddala ku nsi.
21
Era Mukama alimufuula ekyokulabirako mu bika bya Yisirayeli byonna, n'amutuusaako akabi, ng'ebikolimo byonna eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'Amateeka bwe biri.
22
“Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, n'abagwira abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe, n'endwadde Mukama z'agireeseemu, ne balaba
23
ng'ensi eyo yonna eyokeddwa, ng'efuuse buganga na munnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Gomora, Abuda ne Zeboyiimu, Mukama bye yakwatirwa obusungu n'ekiruyi n'abizikiriza.
24
Ab'amawanga gonna balyebuuza nti: ‘Lwaki Mukama akoze ekyo ku nsi eno? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo?’
25
Abantu banaabaddangamu nti: ‘Kubanga baamenya endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri,
26
ne bagenda ne baweereza era ne basinza balubaale be baali batasinzangako era Mukama be yabagaana okusinzanga,
27
Mukama kyeyava asunguwalira ensi eno, n'agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
28
Mukama mu busungu n'ekiruyi ne mu kunyiiga okungi, abantu be n'abasimbulayo mu nsi yaabwe, n'abakasuka mu nsi endala n'okutuusa kati.’
29
“Ebyo Mukama Katonda waffe by'atatumanyisa, bisigala nga bibye. Kyokka yatumanyisa Amateeka ge, ffe n'ezzadde lyaffe, tulyoke tugakuumenga ennaku zonna.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34