bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 21
Deuteronomy 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 22 →
1
“Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugyefuga, omuntu bw'anattibwanga, n'asangibwa mu nnimiro oba ttale, ng'amusse tamanyiddwa,
2
abakulembeze n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo.
3
Abakulembeze b'ekibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaatwalanga ennyana etekozesebwangako mirimu, era etebangako ky'ewalula ng'eri mu kikoligo,
4
abakulembeze abo ne bagiserengesa mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitalimwanga era ekitasigibwangamu birime, ne bamenya era ne bakutulira ensingo yaayo mu kiwonvu ekyo.
5
Ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi banajjanga, kubanga abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, era be basalawo ensonga z'abakaayana, n'abalwanaganye.
6
Olwo abakulembeze bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nnyana emenyeddwa ensingo mu kiwonvu,
7
nga bagamba nti: ‘Si ffe twatemula omuntu ono, era tetumanyi yamutemula.
8
Ayi Mukama, kwatirwa ekisa abantu bo Abayisirayeli be wanunula, oleme kubateekako musango gwa kutemula muntu ataliiko musango.’
9
Kale bwe munaakolanga ebyo Mukama by'alaba nti bituufu, munaggyibwangako omusango ogw'obutemu.
10
“Bwe munaatabaalanga abalabe bammwe, Mukama Katonda wammwe n'abawa abalabe bammwe abo ne mubawangula ne mubatwala nga basibe,
11
ggwe n'olabamu omukazi omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa,
12
onoomutwalanga ewuwo mu nnyumba yo. Anaamwangako enviiri ze, era anaasalanga enjala ze,
13
n'akyusa engoye ze yawambirwamu, n'abeera mu nnyumba yo. Anaamalanga omwezi mulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina, n'oluvannyuma n'olyoka weebaka naye, n'ofuuka bba, naye n'afuuka mukazi wo.
14
Awo bw'onoolabanga nga takyakusanyusa, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala, wabula toomutundengamu nsimbi. Toomuyisenga nga muzaana, kubanga wamutoowaza.
15
“Omusajja bw'anaabanga n'abakazi babiri, ng'omu gw'asinga okwagala, ng'omulala si muganzi, nga bombi baamuzaalira abaana, kyokka ng'omwana omulenzi omuggulanda wa mukazi atali muganzi,
16
omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omuggulanda, mu kifo ky'omwana omulenzi omuggulanda omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi.
17
Wabula anakkirizanga nti omwana ow'omukazi atali muganzi ye mwana omuggulanda, n'awa omwana oyo omugabo gwe ogw'emirundi ebiri, ku bintu bye byonna by'alina, kubanga ye mwana eyasooka okuva mu maanyi ge. N'olwekyo eby'omwana omulenzi omuggulanda bibye.
18
“Omuzadde bw'anaabanga alina mutabani we ow'emputtu era omujeemu, atagondera kitaawe oba nnyina, era nga ne bwe bamubonereza, takkiriza kubawulira,
19
olwo bazadde be abo banaamutwalanga eri abakulembeze b'ekibuga ky'ewaabwe,
20
ne bategeeza abakulembeze abo nti: ‘Omwana waffe ono wa mputtu era mujeemu, takyakkiriza kugondera bye tumugamba. Wa mpisa mbi era mutamiivu.’
21
Awo abasajja bonna ab'omu kibuga ky'ewaabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu mmwe. Kale buli anaawuliranga ekyo mu Yisirayeli, anaatyanga.
22
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi ekimusaanyiza okufa, ne mumuwanika ku muti,
23
omulambo gwe teguusulenga ku muti, wabula munaamuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikiddwa, aba akolimiddwa Katonda. Kale mulemenga kufaafaaganya nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34