bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 23
Deuteronomy 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
1
“Eyalaayibwa oba eyasalwako ekitundu ky'omubiri gwe eky'ekyama, taabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama.
2
“Omwana azaalibwa ebweru w'obufumbo obutukuvu, wadde bazzukulu be okutuusa ne ku zzadde ery'ekkumi, tebaabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama,
3
“Omwammoni n'Omumowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ne ku zzadde ery'ekkumi, tebaabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama,
4
kubanga mu lugendo lwammwe nga muva e Misiri, baagaana okubawa emmere n'amazzi. Era baagulirira Balamu mutabani wa Bewori okuva e Petori ekibuga ky'e Mesopotaamiya, okubakolimira.
5
Naye Mukama Katonda wammwe yagaana okuwuliriza ebya Balamu. Mu kifo ky'ekikolimo, n'abawaamu mukisa, kubanga yabaagala mmwe.
6
Ennaku zonna temuukolererenga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi.
7
“Temuunyoomenga Beedomu, kubanga baganda bammwe. Temuunyoomenga Bamisiri, kubanga mwabeerako mu nsi yaabwe.
8
Bazzukulu baabwe bannakabirye banakkirizibwanga okubeera mu nkuŋŋaana z'abantu ba Mukama.
9
“Bwe munaabeeranga mu lusiisira nga mugenda okutabaala abalabe bammwe, muneewalanga buli kintu ekibi.
10
Bwe wanaabangawo mu mmwe omuntu afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo.
11
Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egwa.
12
“Munaabeeranga n'ekifo ebweru w'olusiisira gye munaagendanga okweteewuluza.
13
Munaabeeranga n'ekifumu mu bintu byammwe. Anaafulumanga okugenda okweteewuluza, anaasimanga ekinnya, oluvannyuma n'akiziika ng'amaze okweteewuluza.
14
Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega.
15
“Omuddu abombye ku mukama we n'ajja gye muli okumukuuma, temuumuzzengayo eri mukama we oyo.
16
Anaabeeranga nammwe mu kifo ky'anaabanga yeerobozezza, mu kimu ku bibuga byammwe. Temuumutulugunyenga.
17
“Tewaabenga mukazi Muyisirayeli akola bwamalaaya, wadde omusajja Omuyisirayeli alya bisiyaga.
18
Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwamalaaya obw'engeri ezo, temuuzireetenga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda wammwe akyayira ddala obwamalaaya obwo.
19
“Baganda bammwe be muwola ensimbi oba emmere, oba ekintu ekirala kyonna, temuubaggyengako magoba.
20
Abagwira munaayinzanga okubawola ne mubaggyako amagoba, naye temuugaggyenga ku baganda bammwe be muwoze, Mukama Katonda wammwe lw'anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga mu nsi gye mugenda okwefuga.
21
“Bwe mubangako kye mweyamye okukolera Mukama Katonda wammwe, temuulindirizenga kukituukiriza, kubanga Mukama Katonda wammwe talirema kukibabuuza, ne kibaviiramu ekibi.
22
Naye bwe muteeyamenga, temuubengako kibi kye mukoze.
23
Ekyo kye mubanga musuubizza Mukama Katonda wammwe nga mweyagalidde, mukikuumanga ne mukituukiriza.
24
“Bw'otuukanga mu nnimiro ey'emizabbibu ey'omuntu omulala, onooyinzanga okulya ku mizabbibu nga bw'oyagala n'okkuta. Naye toobengako gy'otwalira mu kintu kyo na kimu.
25
Bw'otuukanga mu nnimiro y'eŋŋaano ey'omuntu omulala, onooyinzanga okunoga ku birimba n'olya, naye toosalenga na kiwabyo ŋŋaano ya muntu mulala.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34