bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 30
Deuteronomy 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 31 →
1
“Ebyo byonna eby'omukisa n'ekikolimo bye ntadde mu maaso gammwe, bwe birimala okubatuukako, ne mubijjuukiriranga mu mawanga gonna, Mukama Katonda wammwe gy'abasaasaanyizza,
2
mmwe n'abaana bammwe munaakyukanga ne mudda eri Mukama Katonda wammwe. Era ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, bwe munaabigonderanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna,
3
Mukama Katonda wammwe anaabakwatirwanga ekisa. Anaabakuŋŋaanyaangayo n'abaggya mu mawanga gonna gye yabasaasaanyiza, n'abakomyawo.
4
Ne bwe muliba musaasaanyiziddwa mu nsonda z'ensi ez'ewala, Mukama Katonda wammwe alibakuŋŋaanyaayo n'abakomyawo,
5
n'abateeka mu nsi bajjajjammwe gye baafuna, ne mugyefuga, n'abawa mmwe ebirungi, n'abafuula bangi okusinga bajjajjammwe.
6
Mukama Katonda wammwe aligonza emitima gyammwe n'egy'abaana bammwe, ne muba babe, ne mumwagala n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, ne muba balamu.
7
Aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bammwe, ne ku abo ababakyawa mmwe era abaabayigganyanga.
8
Era muliddamu okugondera Mukama, n'okutuukiriza ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero.
9
“Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga, ne muzaala abaana bangi, n'ensolo zammwe ne zeeyongera okwala, era ne mubaza ebirime. Mukama aliddamu okusanyukira okubawa mmwe omukisa, nga bwe yasanyukiranga okuguwa bajjajjammwe,
10
kasita munaamuwuliranga, ne mutuukiriza amateeka ge n'ebiragiro bye, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'Amateeka.
11
“Ekiragiro kino kye mbawa olwaleero, si kizibu nnyo, era tekibasukkiridde.
12
Tekiri mu ggulu, mulyoke mugambe nti: ‘Ani anaatulinnyirayo akituleetere, atusobozese okukiwulira, tulyoke tukituukirize?’
13
Era tekiri mitala wa nnyanja, mutuuke n'okugamba nti: ‘Ani alituwungukira ennyanja akituleetere, atusobozese okukiwulira, tulyoke tukituukirize?’
14
Naye kiri kumpi nnyo nammwe. Kiri mu kamwa kammwe, ne mu mitima gyammwe, musobole okukituukiriza.
15
“Nzuuno olwaleero ntadde mu maaso gammwe ekirungi n'ekibi, era obulamu n'okufa,
16
kubanga mbalagira olwaleero okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okukoleranga ku by'abakuutira, n'okukuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye byonna, mulyoke mubenga balamu, muzaalenga mwale, Mukama Katonda wammwe abawenga omukisa mu nsi gye mugenda okuyingiramu mugyefuge.
17
Naye emitima gyammwe bwe ginaawabanga ne mutawulira, era ne musendebwasendebwa, ne musinza balubaale, ne muba baweereza baabwe,
18
mbategeereza ddala olwaleero nga temulirema kuzikirira. Temuliwangaalira mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.
19
Nkoowoola olwaleero eggulu n'ensi okuba abajulizi ababalumiriza mmwe, nga ntadde mu maaso gammwe obulamu n'okufa, omukisa n'ekikolimo. Kale mulondeko obulamu, mulyoke mubenga balamu mmwe n'ezzadde lyammwe.
20
Mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mumuwulirenga, mumunywererengako, kubanga ye bwe bulamu bwammwe, bwe buwangaazi bwammwe. Olwo nno munaabeeranga mu nsi, Mukama Katonda wammwe gye yalayirira okuwa bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.”
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34