bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 14
Deuteronomy 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 15 →
1
“Mmwe muli bantu ba Mukama Katonda wammwe. Bwe mubanga mukungubagira abafu, temwesalengako misale era temuumwenga ku mitwe gyamwe mu ngeri ebafaananya ng'ab'ebiwalaata, ng'abantu abalala bwe bakola,
2
kubanga mmwe muli ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Yabalondamu okuba eggwanga lye eryenjawulo mu mawanga amalala gonna agali ku nsi.
3
“Temuulyenga kintu na kimu Mukama kye yalangirira okuba eky'omuzizo.
4
Zino ze nsolo ze munaayinzanga okulya: ente, endiga n'embuzi,
5
enjaza n'empeewo, enjobe n'ennangaazi, embulabuzi, entamu n'ensirabo,
6
na buli nsolo erina ekinuulo ekyaseemu, era ezza obwenkulumu.
7
Naye mu ezo ezizza obwenkulumu oba ezirina ebinuulo ebyaseemu, zino ze mutaalyenga: eŋŋamiya, akamyu, n'omusu. Ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu, kubanga wadde zizza obwenkulumu, naye tezirina binuulo byaseemu.
8
Era temuulyenga mbizzi. Nayo munaagibaliranga mu nsolo ezitali nnongoofu, kubanga wadde erina ebinuulo ebyaseemu, naye tezza bwenkulumu. Temuulyenga ku nnyama ya nsolo ezo, wadde okuzikoonako nga zifudde.
9
“Mu byonna ebibeera mu mazzi, munaayinzanga okulya buli ekirina amaggwa n'amagamba.
10
Naye buli ekitalina maggwa na magamba, temuukiryenga. Munaakibaliranga mu bitali birongoofu.
11
“Munaayinzanga okulya ku nnyonyi zonna ennongoofu.
12
Naye zino temuuziryengako: ennunda, empungu ne makwanzi;
13
wonzi, eddiirawamu, ne kamunye, n'endala eziri ng'ezo;
14
na buli ngeri ya nnamuŋŋoona,
15
ne mmaaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo, n'endala eziri ng'ezo;
16
n'akawuugulu akatono, n'ekkukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu,
17
n'ekimbala, n'ensega, n'enkobyokkoobyo;
18
ne kasida, ne ssekanyolya, n'endala ezimufaanana, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
19
“Ebitonde byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro mubibaliranga mu bitali birongoofu. Temuubiryenga.
20
Munaayinzanga okulya ku bitonde byonna ebirongoofu ebirina ebiwaawaatiro.
21
“Temuulyenga ku kintu na kimu ekifudde ku bwakyo. Munaayinzanga okukiwa abagwira ababeera mu nsi yammwe ne bakirya, oba munaayinzanga okukiguza abagwira abalala. Naye mmwe muli ggwanga, Mukama Katonda wammwe lye yafuula erirye. Temuufumbirenga mwana gwa nsolo mu mata ga nnyina waagwo.
22
“Muneesoloozangako ekitundu kimu eky'ekkumi ku bibala bye mukungula mu nnimiro zammwe buli mwaka,
23
era munaagendanga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne muliira eyo mu maaso ge, ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yammwe, n'eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, n'eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, n'ente, endiga n'embuzi zammwe ezisooka okuzaalibwa, bwe mutyo muyige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna.
24
Naye olugendo bwe lunaabayitirirangako obuwanvu, ng'ekifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu kiri wala, ne mutasobola kutwalayo kitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebyo Mukama Katonda wammwe ky'abawaddemu omukisa,
25
munaakitundanga ne mufunamu ensimbi, ne mutwala ezo, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza.
26
Ensimbi ezo munaazigulangamu kye munaabanga mwagadde: ente, oba endiga, oba omwenge ogw'emizabbibu, oba omwenge omuka, oba ekintu ekirala kyonna kye munaabanga mwegombye okulya. Ne muliira eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, ne musanyukira wamu n'ab'omu maka gammwe.
27
Abaleevi ababeera mu bibuga byammwe temuubasuulirirenga, kubanga bo tebalina mugabo gwa ttaka ery'ensikirano nga mmwe.
28
“Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu, munaaleetanga ekitundu kimu eky'ekkumi kyonna eky'ebirime bye mukungudde omwaka ogwo, ne mukitereka mu bibuga byammwe.
29
Kale Abaleevi abatalina mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe gwe mulina, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe, banajjanga ne bafuna ku mmere eyo, ne balya ne bakkuta, Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga mmwe omukisa mu byonna bye munaakolanga.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34