bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 17
Deuteronomy 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 18 →
1
“Temuuwengayo kitambiro eri Mukama Katonda wammwe eky'ente oba endiga eriko akamogo, oba akantu konna akatali kalungi, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala.
2
Bwe wanaabangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi akola ekibi n'amenya endagaano ya Mukama Katonda wammwe,
3
ng'agenze n'aweereza era n'asinza balubaale, oba enjuba, oba omwezi, oba ezimu ku mmunyeenye, ng'awakanya ekiragiro kya Mukama,
4
ne bakibabuulira ne mukiwulira, mubuulirizanga n'obwegendereza. Bwe kinaabanga eky'amazima era ekikakafu ekitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu Yisirayeli,
5
omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekintu ekyo ekibi, munaamufulumyanga ebweru w'ekibuga kyammwe ne mumukuba amayinja n'afa.
6
Wabula anattibwanga nga waliwo abajulizi babiri oba basatu abamulumiriza. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga. Beb 10:28
7
Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba, bwe mutyo ne mweggyako ekibi ekyo.
8
“Wanaayinzanga okubaawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe ng'egy'abakaayanira ebintu, oba egy'ebisago ebituusiddwa ku bantu, oba egy'okwawula obutemu n'okutta omuntu mu butali bugenderevu. Olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu,
9
ne mwanjula emisango egyo eri bakabona Abaleevi, n'eri omulamuzi anaabeerangawo mu kiseera ekyo, ne babawa ensala yaabwe.
10
Munaakolanga kye babagambye nga bali mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era munassangako omwoyo okutuukiriza byonna bye banaabanga babalagidde.
11
Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja.
12
Omuntu anaakolanga emputtu n'atawulira kabona ali eyo mu luwalo lw'okuweereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, oba anaajeemeranga omulamuzi, anattibwanga, bwe mutyo ne muggyawo ekibi mu Yisirayeli.
13
Olwo abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne wataba addamu kukola mputtu.
14
“Bwe mulimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa nga mugyefuze ne mukkalira omwo, muliyinza okugamba nti: ‘Tweteerewo kabaka, ng'ab'amawanga gonna agatwetoolodde.’
15
Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga.
16
Kyokka kabaka tagezanga okwefunira embalaasi ennyingi, wadde okuzzaayo abantu mu Misiri ayongere okufunayo embalaasi ezisingawo obungi, kubanga Mukama yabagamba mmwe nti: ‘Temuddengayo eyo.’
17
Kabaka alemenga kwewasiza bakazi bangi, omutima gwe guleme kuwugulwa, era alemenga kuba na ffeeza era na zaabu mungi nnyo.
18
Kale bw'alituula ku ntebe ye ey'obwakabaka, alyewandiikira amateeka gano mu kitabo ng'agaggya mu ekyo ekiri ne bakabona Abaleevi.
19
Kinaamubeeranga kumpi n'akisomangamu mu bbanga ery'obulamu bwe bwonna, alyoke ayige okussangamu Mukama Katonda we ekitiibwa, n'okukuumanga ebigambo byonna eby'amateeka gano n'ebiragiro bino, era n'okubituukirizanga.
20
Omutima gwe gulemenga kwekulumbaliza ku Bayisirayeli banne, era alemenga kuwaba n'akatono okuva ku biragiro bino. Olwo aliwangaalira ku bwakabaka bwe, n'ab'ezzadde lye ne babuwangaalirako mu Yisirayeli.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34