bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 26
Deuteronomy 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 27 →
1
“Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne mugyefuga era ne mukkalira mu yo,
2
buli omu mu mmwe anaateekanga mu kibbo ekitundu ekisooka okukungulwa, eky'ebirime bye byonna by'anaabanga alimye mu nsi eyo Mukama Katonda wammwe gy'abawa, n'akitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu.
3
Anaagendanga eri kabona anaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo, n'agamba nti: ‘Kaakano njatulira Mukama Katonda wo nti nnyingidde mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okutuwa.’
4
“Kale kabona anaggyanga ekibbo mu mikono gyo, n'akissa wansi mu maaso ga alutaari ya Mukama Katonda wo.
5
Olwo ggwe onooyogereranga ebigambo bino mu maaso ga Mukama Katonda wo nti: ‘Jjajjange yali Mwarameeya omubungeese. Yaserengeta e Misiri n'abeera eyo n'ab'omu maka ge, abataali bangi. Baayalira eyo, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi.
6
Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, ne bakalubya obulamu bwaffe.
7
Ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe n'okutegana kwaffe, n'okunyigirizibwa kwaffe.
8
Mukama n'atuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza obungi n'amaanyi n'obuyinza, era ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero n'eby'entiisa ennyo.
9
N'atuleeta kuno, n'atuwa ensi eno, ensi engimu era engagga.
10
Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ “Onoobiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda wo, n'omusinza.
11
Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omu maka go, n'Abaleevi era n'abagwira ababeera mu mmwe.
12
“Buli mwaka ogwokusatu, muneesoloozangamu ekitundu kimu eky'ekkumi ekya byonna bye mukungudde mu mwaka ogwo ogusoloolezebwamu ekitundu ekyo eky'ekkumi, ne mukiwa Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nabo baliirenga mu bibuga byammwe bakkute.
13
Olwo onooyogereranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti: ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu maka gange, era mbiwadde Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga bwe wandagira okukola. Tewali kiragiro kyo na kimu kye nsobezza, wadde kye neerabidde.
14
Tewali kimu kya kkumi kye ndidde nga ndi mu kukungubaga, oba okukiggya we kibadde nga siri mulongoofu, wadde okubaako kye mpaayo eri emizimu. Mpulidde by'ogamba, ayi Mukama Katonda wange, ntuukirizza byonna bye wandagira.
15
Tunula ng'osinziira mu ggulu mu kifo kyo ekitukuvu, owe omukisa abantu bo Abayisirayeli, n'ensi engimu era engagga gy'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajjaffe.’
16
“Olwaleero Mukama Katonda wammwe abalagira okutuukirizanga amateeka gano n'ebiragiro. Kale mwegenderezenga okubituukiriza n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna.
17
Mukakasizza olwaleero nga Mukama ye Katonda wammwe, era nga munaamuwuliranga ne mukuuma amateeka ge n'ebiragiro bye, ne by'abakuutira byonna.
18
Era Mukama akakasizza olwaleero nga muli babe abenjawulo nga bwe yabasuubiza, n'abalagira okukwatanga ebiragiro bye byonna,
19
alyoke abakuze okusinga amawanga amalala gonna ge yatonda, mugasinge ettendo n'ettutumu n'ekitiibwa, era mubeererenga ddala ggwanga lya Mukama nga bwe yagamba.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34