bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 28
Deuteronomy 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 29 →
1
“Bwe munaanyiikiranga okuwulira Mukama Katonda wammwe, ne mukwatanga ebiragiro bye byonna bye mbawa olwaleero, era ne mubituukiriza, Mukama Katonda wammwe alibafuula ggwanga kkulu okusinga amawanga amalala gonna agali ku nsi.
2
Bwe munaawuliranga Mukama Katonda wammwe, emikisa gino gyonna ginaabajjiranga ne mugifuna:
3
“Munaabanga n'omukisa mu bibuga byammwe, era munaabanga n'omukisa mu nnimiro zammwe.
4
“Munaabanga n'omukisa ne muzaala abaana bangi, era ne mwaza ebirime, n'ebiraalo by'ente, n'amagana g'endiga n'embuzi.
5
“Emmere gye munaalimanga ne gye munaafumbanga okulya, eneebanga n'omukisa.
6
“Munaabanga n'omukisa nga muyingira, era munaabanga n'omukisa nga mufuluma.
7
“Abalabe bammwe ababalumba, Mukama anaabawangulanga nga mulaba. Banaakwatanga ekkubo limu nga bajja okubalumba mmwe, ne babadduka nga babunye emiwabo.
8
“Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye mukola, n'ajjuza amawanika gammwe. Anaabaweeranga mmwe omukisa mu nsi gy'abawa.
9
“Bwe munaawuliranga Mukama Katonda wammwe ne mukola by'abalagira, anaabakuumanga nga muli ggwanga lye nga bwe yabalayirira.
10
Olwo amawanga gonna ag'oku nsi ganaabatyanga mmwe, nga galaba Mukama abayita babe.
11
Era Mukama anaabawanga mmwe ebirungi bingi, ne muzaala abaana, ne muba n'ebisolo bingi, era ne mwaza ebibala mu ttaka lyammwe mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa mmwe.
12
Mukama anaabaggulirangawo etterekero lye ery'ebirungi, eggulu ne litonnyesanga mu nsi yammwe enkuba mu biseera byayo. Era byonna bye mukola anaabiwanga omukisa, ne muwolanga amawanga mangi, naye mmwe nga temwewola.
13
Mukama mmwe anaabafuulanga bakulembeze, sso si bagoberezi. Munaabeeranga ku ntikko bulijjo, awatali kukka, kasita munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa olwaleero, ne mubikuumanga era ne mubituukirizanga.
14
Temugezanga ne muwaba wadde okuwunjawunja okuva ku ebyo bye mbalagira olwaleero, ne musinzanga balubaale era ne mubaweerezanga.
15
“Naye bwe mutaliwulira Mukama Katonda wammwe, kukwata mateeka ge na biragiro bye, bye mbawa olwaleero, ebikolimo bino byonna biribajjira ne bibabeerako:
16
“Mulikolimirwa mu bibuga, era mulikolimirwa mu nnimiro.
17
“Emmere gye munaalimanga ne gye munaafumbanga okulya, eneebanga nkolimire.
18
“Ezzadde lyammwe ne bye munaalimanga mu ttaka lyammwe, n'ebiraalo by'ente zammwe era n'amagana g'endiga n'embuzi zammwe, binaabanga bikolimire.
19
“Munaabanga bakolimire nga muyingira, era munaakolimirwanga nga mufuluma.
20
“Bwe munaakolanga ebibi ne mweggya ku Mukama, Mukama anaabasindikiranga ekikolimo ne musoberwa era ne munenyezebwa mu byonna bye munaatuusangako engalo okukola, okutuusa lwe mulizikirizibwa ne muggwaawo mangu.
21
Anaabasindikiranga kawumpuli n'abeesibako, okutuusa lwe watalisigalawo n'omu ku mmwe mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga.
22
Mukama anaabalwazanga akafuba n'omusujja n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Anaabasindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaabeesibangako okutuusa lwe mulizikirira.
23
Eggulu linaabanga ng'ekikomo, ne litabatonnyeseza nkuba, ettaka lyammwe ne likala, ne liba ng'ekyuma.
24
Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yammwe, okutuusa lwe mulizikirira.
25
“Mukama anaabavangamu ne muwangulwa abalabe bammwe. Munaakwatanga ekkubo limu okugenda okubalumba, ne mubadduka nga mubunye emiwabo. Amawanga gonna ku nsi ganaalabanga ebibatuuseeko mmwe ne gatya.
26
Era nga mufudde, ebinyonyi n'ebisolo binaalyanga emirambo gyammwe, ne wataba abigobawo.
27
Mukama alibalwaza mmwe amayute nga ge yalwaza Abamisiri, n'amabwa, n'ebizimba, n'okwetakula ebitaliwonyezebwa.
28
Mukama anaabasuulanga eddalu, anaabafuulanga bamuzibe, era anaabeeraliikirizanga.
29
Munaawammantanga mu ttuntu, nga muzibe bw'awammanta mu kizikiza, era temuubenga na mukisa mu bye mukola. Munaanyigirizibwanga era munaanyagibwangako ebyammwe buli kiseera, nga tewali abayamba.
30
“Munaayogerezanga abakazi, abasajja abalala ne basobya ku bakazi abo. Munaazimbanga ennyumba ne mutazibeeramu. Munaasimbanga ennimiro z'emizabbibu, ne mutalya ku bibala byazo.
31
Ente zammwe zinattibwanga nga mulaba, ne mutalya ku nnyama yaazo. Endogoyi zammwe zinaanyagibwanga nga mutunula, ne zitabaddizibwa. Endiga zammwe zinaagabirwanga abalabe bammwe, mmwe ne wataba abayamba.
32
Batabani bammwe ne bawala bammwe banaagabirwanga abagwira nga mulaba. Buli lunaku munaakandanga kutunula nga mwagala bakomewo, naye nga temulina kye muyinza kukola.
33
Ab'eggwanga eddala balirya emmere gye mwalima ku ttaka lyammwe n'ebirala byonna bye mwateganira, nga munyigirizibwa bunyigirizibwa era nga mujoogebwa bulijjo,
34
ennaku gye mulaba eryoke ebasuule eddalu.
35
Mukama anaabalwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gababuna okuva ku bigere okutuuka ku mutwe.
36
“Mmwe ne kabaka gwe munaabanga mutaddewo okubafuga, Mukama anaabatwalanga mu nsi engwira, mmwe ne bajjajjammwe gye mutabeerangamu, ne muweereza balubaale ababajje mu miti ne mu mayinja.
37
Mu nsi Mukama mw'anaabanga abatutte, abantu baayo baneewuunyanga ekibatuuseeko mmwe, ne muwemuka era ne musekererwa.
38
“Munaatwalanga ensigo nnyingi ne muzisiga mu nnimiro, naye ne mukungula kitono, kubanga enzige zinaabiryanga.
39
Munaasimbanga ennimiro ez'emizabbibu ne muzirabirira, naye temuukungulengamu mizabbibu wadde okunywa ku mwenge gwagyo, kubanga obuwuka buligirya.
40
Munaabeeranga n'emizayiti mu nsi yammwe yonna, naye temwesiigenga ku muzigo gwagyo, kubanga ebibala byagyo binaakunkumukanga.
41
Mulizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye temulibeera nabo, kubanga balitwalibwanga mu busibe.
42
Emiti n'ebirime byammwe byonna, binaaliibwanga enzige.
43
“Abagwira ababeera mu nsi yammwe baneeyongeranga okukulaakulana okusinga mmwe, nga mmwe mweyongera kufeeba.
44
Bo banaabawolanga mmwe, naye mmwe temuubenga na kye muyinza kubawola. Be banaafuganga mmwe.
45
“Ebikolimo ebyo byonna binajjiranga mmwe, ne bibeesibako, ne bibeera nammwe, kubanga temwawulira Mukama Katonda wammwe, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye yabawa mmwe.
46
Ebikemo ebyo binaabatuukangako mmwe n'ezzadde lyammwe, ne biba ebyewuunyo n'ebyamagero ebibalumiriza omusango ennaku zonna.
47
Mukama Katonda wammwe yabawa ebirungi bingi, naye mmwe ne mugaana okumuweereza n'omutima ogujjudde essanyu n'okujaguza.
48
N'olwekyo abalabe bammwe Mukama b'anaasindikanga okubalumba mmwe, munaabaweerezanga nga mulumwa enjala n'ennyonta, nga muli bukunya, era munaabulwanga byonna bye mwetaaga. Mukama anaabateekanga mmwe ekikoligo eky'ekyuma mu nsingo, anaababonyaabonyanga mmwe n'obukambwe okutuusa lw'alibazikiriza.
49
Mukama alibaleetera mmwe abantu ab'eggwanga eddala, aboogera olulimi lwe mutategeera, b'aliggya ewala ku nkomerero y'ensi, ne bafubutuka ne babalumba ng'empungu bw'ebuuka okulumba.
50
Abo baliba bakambwe, abatafa ku bakadde, wadde okusaasira abaana abato.
51
Banaalyanga ensolo zammwe, n'emmere yammwe gye mulimye, obutabalekerawo ŋŋaano, na mwenge gwa mizabbibu, na muzigo gwa mizayiti, wadde ente n'endiga n'embuzi, ne mufa enjala, ne muzikirira.
52
Banaabazingizanga mmwe mu bibuga byammwe byonna, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde, ebigo byammwe ebigulumivu era ebigumu bye mwesiga ne bigwa.
53
Mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe bammwe, munaalyanga abaana bammwe, ennyama ya batabani bammwe ne bawala bammwe Mukama Katonda wammwe be yabawa.
54
Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, anaatunuuliranga bubi muganda we ne mukazi we gw'ayagala ennyo n'abaana be abalamu b'akyasigazizzaawo,
55
n'atabaako n'omu ku bo gw'awa ku nnyama ya baana be b'anaalyanga, nga talina kirala ky'alya mu kuzingizibwa, ne mu kunyigirizibwa abalabe bammwe kwe munaabangamu mu bibuga byammwe byonna.
56
Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye mu ttaka olw'empisa ze n'olw'ekitiibwa kye, anaatunuuliranga bubi bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we ne muwala we,
57
n'abalyako mu bubba omwana gwe yaakazaala, era n'ekitanyi kye, olw'okubulwa ebyokulya mu kuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe bammwe mu bibuga byammwe.
58
“Bwe mutaakwatenga biri mu mateeka gano gonna agawandiikiddwa mu kitabo kino ne mugatuukiriza, era bwe mutaatyenga linnya lya Mukama Katonda wammwe, ery'ekitiibwa era ery'entiisa,
59
Mukama anaabaleeteranga mmwe n'ezzadde lyammwe okubonaabona okutatendeka, okunene era okutasalako, n'endwadde embi era ezitawona.
60
Era alibalwaza endwadde zonna ez'e Misiri ze mwatyanga. Ziribeezingako mmwe.
61
Era anaabaleeteranga buli ndwadde n'okubonaabona ebitawandiikiddwa mu kitabo kya mateeka gano, okutuusa lwe mulizikirizibwa.
62
Ne bwe mulyala ennyo ne muba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu obungi, abaliwonawo muliba batono, kasita mutaliwulira Mukama Katonda wammwe.
63
Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubafuula abangi, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, abamalewo mu nsi gye muyingira okugyefuga,
64
“Mukama anaabasaasaanyanga mmwe mu mawanga gonna, okuva ensi w'etandikira okutuuka w'ekoma. Eyo gye munaasinzizanga balubaale ab'emiti n'amayinja, abaali batamanyiddwa mmwe wadde bajjajjammwe.
65
Era mu mawanga ago, temulyesiimirayo n'akatono. Temulibaako we muteredde, wabula Mukama alibawa emitima egitateredde, nga temulaba gye mulaga era nga temulina ssuubi.
66
Obulamu bwammwe temuubwekakasengamu. Emisana n'ekiro munaabeeranga mu mutya, nga temukakasa bulamu bwammwe bwe bunaabeera.
67
Ku makya munaagambanga nti: ‘Singa nno bubadde kawungeezi!’ Akawungeezi ne mugamba nti: ‘Singa nno bubadde ku makya!’ Ebyo munaabyogeranga olw'emitima gyammwe okwekengera buli kye mulaba.
68
Mukama alibaddizaayo mu maato e Misiri, gye nabagamba nti temuliddayo. Nga muli eyo, muneewangayo eri abalabe bammwe babagule mube abaddu n'abazaana, naye tewaabenga abagula.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34