bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 9
Deuteronomy 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 10 →
1
“Muwulire mmwe Abayisirayeli: olwaleero mugenda okusomoka Omugga Yorudaani, muyingire era mwefuge ensi y'amawanga agasinga eggwanga lyammwe obunene n'amaanyi. Ebibuga byago binene era byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka mu bire.
2
Abantu baamu banene era bawanvu, bazzukulu ba Anaki abawagguufu, be mumanyi. Era mwawulirako nti tewali ayinza kwaŋŋanga Baanaki abo.
3
Kale mumanye nti Katonda wammwe ye anaabakulemberamu mmwe, ng'ali ng'omuliro ogwokya buli kimu. Ye yennyini ajja kuwangula abantu abo, nga mmwe mutuuka, bwe mutyo mulyoke mubagobemu era mubazikirize mangu, nga Mukama bwe yabagamba mmwe.
4
“Mukama Katonda wammwe bw'alimala okugobamu abantu abo mu nsi eyo mmwe nga mutuuka, temugambanga mu mitima gyammwe nti: ‘Mukama atuleese mu nsi eno okugyefuga, lwa butuukirivu bwaffe.’ Wabula mmwe nga mutuuka, ajja kugobamu abantu b'amawanga ago, lwa bibi byabwe.
5
Muyingira okwefuga ensi yaabwe, si lwa kuba nti muli batuukirivu, oba nti muli balungi mu mitima gyammwe. Naye olw'ebibi byabwe, Mukama Katonda wammwe kyava agobamu ab'amawanga ago. Era ayagala anyweze kye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.
6
Kale mumanye nti Mukama Katonda weewaawo abawa ensi eno ennungi mugyefuge, kyokka tagibawa lwa butuukirivu bwammwe, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu.
7
“Mujjukire era temwerabiranga bwe mwasunguwaliza Mukama Katonda wammwe mu ddungu. Okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mujeemera Mukama.
8
Ne ku Lusozi Horebu mwanyiiza Mukama, n'abasunguwalira nnyo, n'ayagala okubazikiriza.
9
Bwe nayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja ebyawandiikibwako endagaano Mukama gye yakola nammwe, nasigalayo emisana n'ekiro okumala ennaku amakumi ana nga sirya mmere, wadde okunywa amazzi.
10
Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja, ye yennyini bye yawandiikako n'omukono gwe, ebigambo byonna bye yayogera nammwe ng'asinziira mu muliro wakati, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako eyo ku lusozi.
11
Kale ennaku ezo amakumi ana emisana n'ekiro, bwe zaayitawo, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, ebyawandiikibwako endagaano.
12
“Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’
13
“Mukama n'ayongera okuŋŋamba nti: ‘Ndabye ng'abantu b'eggwanga lino ba mitima mikakanyavu.
14
Ndeka mbazikirize, beerabirirwe ddala ku nsi. Ndisibusa mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo.’
15
“Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi nga nkutte mu mikono gyange gyombi ebipande ebibiri eby'amayinja okwawandiikibwa endagaano. Olusozi lwali lwaka omuliro.
16
Ne ntunula, ne ndaba nga mwali mumaze okukyama ne muva mangu ku mpisa Mukama ze yabalagira okukwata. Mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama Katonda wammwe, nga mulina bye musaanuusizza, ne mwekoleramu ekifaananyi ky'ennyana.
17
Ne mpanika ebipande byombi, ne mbikuba wansi, ne mbyasa nga mulaba.
18
Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, nga bwe nakola mu kusooka. Ne mmala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, kubanga mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama.
19
Natya olw'obusungu n'ekiruyi Mukama bye yali abasibidde, n'ayagala okubazikiriza. Kyokka Mukama n'ampuliriza ne ku mulundi ogwo.
20
Era Mukama n'asunguwalira nnyo Arooni, n'ayagala okumuzikiriza. Era ne nsabira ne Arooni mu kiseera ekyo.
21
Ne nkwata ekintu ekyo eky'ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngisuula mu muliro. Ne ngikoonakoona, ne ngisekulasekula nnyo okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu. Ne njiwa enfuufu yaayo eyo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.
22
“Era e Tabera n'e Massa n'e Kiburooti Hattaava, nayo mwanyiirizaayo Mukama.
23
Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesi Baruneya ng'agamba nti: ‘Mwambuke mwefuge ensi gye mbawadde’, mwajeemera ekiragiro kye. Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, era temwawuliriza ky'agamba.
24
Muzze mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nabamanya.
25
“Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama okumala ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, kubanga Mukama yali agambye nti agenda kubazikiriza.
26
Ne neegayirira Mukama, ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo, ababo ku bubwo, be wanunula n'obuyinza bwo, be waggya mu Misiri n'amaanyi go.
27
Jjukira abaweereza bo Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo. Totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano, newaakubadde ebibi byabwe, wadde okwonoona kwabwe,
28
sikulwa ng'ab'omu nsi gye watuggyamu bagamba nti: Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza. Era yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta.
29
Naye bano be bantu bo, ababo ku bubwo, be waggyayo n'obuyinza bwo obungi era n'amaanyi.’
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34