bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 1
2 Samuel 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Sawulo bwe yamala okufa, Dawudi n'akomawo ng'ava okukuba Amaleki, n'amala ennaku bbiri mu Zikulagi.
2
Ku lwokusatu omusajja n'ajja ng'ava mu lusiisira lwa Sawulo; engoye ze zaali nga ziyuliseyulise n'enfuufu ng'ejjudde mu mutwe. Bwe yajja ewa Dawudi, n'agwa wansi ku ttaka n'amuvunnamira.
3
Dawudi n'amubuuza nti: “Ova wa?” Ye n'agamba nti: “Nziruse kuva mu lusiisira lw'Abayisirayeli.”
4
Dawudi n'amugamba nti: “Kiki ekifuddeyo? Mbuulira.” N'addamu nti: “Abantu olutalo baludduse; bangi mu bantu battiddwa, bafudde, ne Sawulo ne Yonatani mutabani we bafudde.”
5
Dawudi n'abuuza omuvubuka eyali amubuulira nti: “Otegeeredde ku ki nga Sawulo ne mutabani we Yonatani bafudde?”
6
Omuvubuka eyali amubuulira n'agamba nti: “Nasangiddwa ndi eyo ku lusozi Gilubowa; Sawulo yali yeesigaamirizza ku ffumu lye, ebigaali n'abeebagazi nga bagenda bamusemberera.
7
Bwe yakyuka, n'andaba, n'ampita, ne mmwanukula nti: ‘Nzuuno.’
8
N'ambuuza nti: ‘Ggwe ani?’ Ne mmugamba nti: ‘Nze ndi Mwamaleki;’
9
n'aŋŋamba nti: ‘Yimirira kumpi nange onzite, kubanga obulumi bw'okufa bunkutte, naye ng'obulamu mu mubiri bukyalimu.’
10
Kwe kuyimirira we yali ne mmutta, kubanga nali ndabye nti oluvannyuma lw'okugwa yali takyasobola kulama. Ne nzirira engule eyali ku mutwe gwe, n'akakomo akaali ku mukono gwe ne mbikuleetera wano mukama wange.”
11
Dawudi n'akwata ebyambalo bye n'abiyuza, n'abasajja bonna abaali naye ne bakola kye kimu;
12
ne bakungubaga, ne bakaaba, ne basiiba okutuusa akawungeezi olw'okubeera Sawulo ne Yonatani mutabani we, n'olw'okubeera eggye ly'Omukama n'ennyumba ya Yisirayeli, kubanga baali battiddwa ekitala.
13
Dawudi n'abuuza omulenzi eyali amubuulidde nti: “Ova wa?” N'ayanukula nti: “Ndi mutabani wa musajja omugwira Omwamaleki.”
14
Dawudi n'amugamba nti: “Lwaki tewatidde kusitula mukono gwo n'ozikiriza omusiige w'Omukama?”
15
Dawudi n'ayita omu mu baweereza be, n'amugamba nti: “Sembera, mutte.” N'amukuba, n'afa.
16
Dawudi n'amugamba nti: “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ke kakulumirizza bw'ogambye nti: ‘Nze natta omusiige w'Omukama.’ ”
17
Dawudi n'alirira Sawulo ne Yonatani mutabani we mu luyimba luno olw'okukungubaga.
18
Yalagira abantu ba Yuda bayigirizibwe oluyimba luno olw'omutego gw'akasaale; lwawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari. Yagamba nti:
19
“Yisirayeli, abatutumufu bo battiddwa ku nsozi zo. Abazira bagudde batya!
20
“Temukyogerako mu Gati, temukiraalaasa mu nguudo z'omu Asukeloni, sikulwa nga bawala b'Abafilisitiini bajaguza, sikulwa nga bawala b'abatali batayirire basagambiza.
21
“Nsozi z'e Gilubowa, omusulo n'enkuba tebibagwangako; tebangayo nnimiro muva bitone. Kubanga eyo engabo y'abazira gye yatyoboolebwa, engabo ya Sawulo tekyasiigwa muzigo.
22
Omusaale gwa Yonatani tegwaddanga nga tekuli musaayi gw'abattiddwa, amasavu g'abazira, n'ekitala kya Sawulo tekyakomerangawo awo.
23
Sawulo ne Yonatani baayagalibwa, baali basanyusa mu bulamu bwabwe, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, ba maanyi okusinga empologoma.
24
“Bawala ba Yisirayeli, mukaabire Sawulo eyabambazanga ebitwakaavu n'engoye ez'amatendo; eyatonanga engoye zammwe ne zaabu.
25
“Abazira bagudde batya mu lutalo wakati! Yonatani attiddwa ku nsozi zo.
26
Onnumye, muganda wange Yonatani, wali mwagalwa wange nnyo; okwagala kwe wanjagalamu kwali kwa kitalo, kwasinga n'okwagala okw'abakazi.
27
“Abazira bagudde batya, ebyokulwanyisa eby'entalo ne bizikirira!”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24