bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 16
2 Samuel 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Dawudi yali yaakavvuunuka akatunnumba k'olusozi, Ziba omuweereza wa Mefiboseti, n'ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri entandiike nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, ebitole by'emizabbibu emiwotose kikumi, ebibala eby'ekyeya kikumi, n'endyanga y'evviini.
2
Kabaka n'agamba Ziba nti: “Bino byaki by'oleese?” Ziba n'ayanukula nti: “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka beebagale, emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya basajja bo balye; evviini y'oyo anaaba alakasidde mu ddungu kw'ananywa.”
3
Kabaka n'agamba nti: “Muzukkulu wa mukama wo aluwa?” Ziba n'ayanukula kabaka nti: “Asigadde mu Yeruzaalemu; agambye nti: ‘Olwa leero ennyumba ya Yisirayeli ejja kunziriza obwakabaka bwa kitange.’ ”
4
Kabaka n'agamba Ziba nti: “Byonna ebibadde ebya Mefiboseti, kati bibyo.” Ziba n'agamba nti: “Nkuvunnamira, singa nno nsanze ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka.”
5
Dawudi bwe yali atuuka e Bakurimu, ne wavaayo omusajja, nga wa mu ssiga lya nnyumba ya Sawulo, erinnya lye Semeyi, mutabani wa Gera; n'ajja nga bw'avumirira.
6
N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaweereza ba Dawudi bonna, newandibadde ng'eggye lyonna n'abakuumi bonna baali kabaka bamutambulira ku ddyo ne ku kkono.
7
Bwe yalinga avumirira, Simeyi yagambanga nti: “Vvaawo, vvaawo ggwe omusajja ayiwa omusaayi, omusajja empongabyoya.
8
Omukama akusasudde omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo gwe wayiwa, n'olw'obwakabaka bwe bwe weekomya. Omukama awaddeyo obwakabaka bwo mu mikono gya mutabani wo Abusalomu. Zikusanze, kubanga oli musajja ayiwa omusaayi.”
9
Abisayi mutabani wa Zeruya kwe kugamba kabaka nti: “Embwa eno enfu, lwaki evumirira mukama wange kabaka? Ka ŋŋende mmutemeko omutwe.”
10
Kabaka n'amugamba nti: “ Batabani ba Zeruya, ogubadde nze nammwe? Oba avumirira ng'Omukama y'amulagidde nti: ‘Vumirira Dawudi,’ ani anaamubuuza ate nti: ‘Lwaki kino okikola?’ ”
11
Kabaka n'agamba Abisayi n'abakungu be bonna nti: “Wuuno mutabani wange gwe neezaalira nzennyini anoonya bulamu bwange, leero nno ate ono omwana Omubenyamiini! Mumuleke avumirire, oboolyawo ng'Omukama bw'amulagidde.
12
Oboolyawo Omukama anaakebuka n'alaba ennaku yange, n'ansasulamu ekirungi mu kuvumirirwa kuno okwa leero.”
13
Dawudi n'agenda ne basajja be nga bagoba oluguudo, ye Semeyi ng'agenda abalondoola emitala w'ekiwonvu eno nga bw'abavumirira, okubakasuukirira amayinja n'okubafuumuulira enfuufu.
14
Kabaka n'atuuka n'abantu bonna abaali naye awali amazzi, nga bakooye, ne yezzaamu endasi.
15
Abusalomu n'abantu be bonna aba Yisirayeli ne bayingira mu Yeruzaalemu, ne Akitofeli yali naye.
16
Kusayi Omwaruki, mukwano gwa Dawudi, bwe yajja eri Abusalomu, n'amugamba nti: “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!”
17
Abusalomu n'agamba Kusayi nti: “Bw'otyo bw'olaga bw'oyagala mukwano gwo? Lwaki tewagenze ne mukwano gwo?”
18
Kusayi n'ayanukula Abusalomu nti: “Nedda, oyo alondeddwa Omukama n'abantu bano ne Yisirayeli yenna, oyo gwe nnaaweereza, gwe nnaasigala naye.
19
Ate era, ani gwe nandiweerezza? Si mutabani wa kabaka? Nga bwe naweereza kitaawo, bwe ntyo naawe bwe nzija okukuweereza.”
20
Abusalomu yagamba Akitofeli nti: “Tuwe amagezi, tukole ki?”
21
Akitofeli n'agamba nti: “Weebake ne basebeyi ba kitaawo be yaleka okukuuma olubiri. Yisirayeli yenna bw'anawulira bwe weekyayisizza ewa kitaawo, bonna abakuwagira bajja kweyongera amaanyi.”
22
Ne bakolera Abusalomu weema ku lubalaza olwo ku nnyumba waggulu, ne yeebaka ne basebeyi ba kitaawe nga Yisirayeli yenna alaba.
23
Mu nnaku ezo amagezi Akitofeli ge yawanga nga gatwalibwa ng'ageeyeebuzizza ku kigambo kya Katonda; Dawudi ne Abusalomu bwe batyo bwe baatwalanga ebigambo bya Akitofeli.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24