bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 21
2 Samuel 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Olwatuuka, mu mirembe gya Dawudi, enjala n'egwa, n'emalira ddala emyaka esatu. Dawudi ne yeeebuuza ku Mukama, Omukama n'amugamba nti: “Lwa Sawulo n'ennyumba ye abaayiwa omusaayi, kubanga yatta Abagibewoni.”
2
Kabaka n'ayita Abagibewoni, n'ayogera nabo. Kati nno Abagibewoni si Bayisirayeli, wabula Bammori abaasigalira. Abayisirayeli baali balayidde okubataliza, naye Sawulo n'ayagala okubazikiriza mbu olw'okutakabanira Yisirayeli n'abantu ba Yuda.
3
Dawudi n'agamba Abagibewoni nti: “Mbakolere ki? Mbagatte ki, mulyoke muwe omukisa obusika bw'Omukama?”
4
Abagibewoni ne bagamba nti: “Tetulina buyinza kusaba ffeeza oba zaabu okuva ewa Sawulo oba mu nnyumba ye, era tetulina buyinza kutta muntu mu nnyumba ya Yisirayeli.” Dawudi n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?”
5
Ne bagamba kabaka nti: “Omuntu eyali atusaanyaawo, eyeeteesa okutubunya emiwabo tubulweko akafo mu Yisirayeli wonna,
6
tuweebweyo abasajja musanvu okuva mu zzadde lye, bababambe mu maaso g'Omukama mu Gibewoni, ku lusozi lw'Omukama.” Kabaka n'agamba nti: “Nzija kubabawa.”
7
Kabaka yataliza Mefiboseti mutabani wa Yonatani, mutabani wa Sawulo, olw'okubeera ekirayiro Dawudi kye yali akoze ne Yonatani mutabani wa Sawulo mu maaso g'Omukama.
8
Naye kabaka n'addira abalenzi babiri: Arumoni ne Mefiboseti, batabani ba Rizupa muwala wa Aya be yazaalira Sawulo: Arumoni ne Mefiboseti, n'abalenzi abalala bataano aba Merabu muwala wa Sawulo be yali azaalidde Aduryeli, mutabani wa Baruzillayi Omumekola,
9
n'abawaayo mu mikono gy'Abegibewoni, ne bababamba ku lusozi mu maaso g'Omukama. Abo omusanvu ne bagwa lumu; battibwa mu nnaku ezisooka ez'amakungula, ng'amakungula ga sayiri gasooka.
10
Rizupa, muwala wa Aya n'addira ekideeya n'akyeyaliirira ku lwazi okuva mu masooka g'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatonnya ku mirambo ng'eva mu ggulu; emisana teyaganya binyonyi bya mu bbanga kugituukako, ate ekiro ng'aziyiza ebisolo by'omu nsiko.
11
Dawudi ne bamubuulira Rizupa muwala wa Aya, omusebeyi wa Sawulo, kye yali akoze.
12
Dawudi n'agenda, n'aggya amagumba ga Sawulo n'aga Yonatani mutabani we ku bantu b'e Yabesi-Gileyaadi, abaali bababbyeyo mu mbuga y'omu Beti-Sani Abafilisitiini gye baali babawanise nga bamaze okutta Sawulo mu Gilubowa.
13
Dawudi n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'aga Yonatani mutabani we, era ne bakuŋŋaanya n'amagumba ga be baali babambye.
14
Ne baziika amagumba ga Sawulo n'aga Yonatani mutabani we mu biggya bya kitaawe Kisi e Zela mu Benyamiini. Ne bakola byonna kabaka bye yali abalagidde. Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'addiramu ensi olw'okwegayirira kwabwe.
15
Ne wabaawo era olutalo wakati w'Abafilisitiini n'Abayisirayeli. Dawudi n'aserengeta n'eggye balwanyise Abafilisitiini, n'akoowa.
16
Yisubi-Benobu asibuka mu Rafa n'agamba okutta Dawudi. Yalina effumu okuli omutwe ogw'ekikomo oguzitowa sekeli ebikumi bisatu; yali yeesibye ekitala ekipya ttuku.
17
Naye Abisayi, mutabani wa Zeruya n'ataasa Dawudi; yakuba Omufilisitiini n'amutta. Basajja ba Dawudi ne balayira nti: “Tojja kuddamu kujja naffe mu lutalo, sikulwa ng'ozikiza omumuli gwa Yisirayeli.”
18
Oluvannyuma lwa bino waaliwo era olutalo mu Gobu n'Abafilisitiini; olwo Sibbekayi Omukusa n'atta Safu owa Rafa.
19
Era waaliwo olutalo mu Gobu n'Abafilisitiini. Mu olwo Elukanani mutabani wa Yaare-Oregimu ow'e Beteleemu n'atta Goliyati Omugitti, eyalina olunyago lw'effumu lye olwenkana omuti okulangirwa engoye.
20
Era waaliwo olutalo mu Gati omwali omusajja omuwagguufu, eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu n'obugere mukaaga ku buli kigere; byonna wamu amakumi abiri mu bina. N'oyo naye yali asibuka mu Rafa.
21
Bwe yajoogereza Yisirayeli, naye Yonatani mutabani wa Simewa, muganda wa Dawudi, n'amutta.
22
Abasajja bano abana baali basibuka mu Rafa mu Gati. Bafiira mu mikono gya Dawudi n'egy'abasajja be.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24