bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 22
2 Samuel 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Dawudi yayimbira Omukama oluyimba luno ku lunaku Omukama lwe yamuwonya mu mikono gy'abalabe be bonna ne mu ngalo za Sawulo,
2
n'agamba nti: “Omukama lwe lwazi lwange, ekigo kyange, omulokozi wange;
3
Katonda wange lwe lwazi lwange, mwe nzirukira; engabo yange, amaanyi g'obulokofu bwange, bbugwe wange, obuddukiro bwange; omulokozi wange, omponya mu bubenje.
4
Nkoowoola Omukama asaanye okutendebwa, mponyezeddwa abalabe bange.
5
“Amayengo g'okufa ganneebungulula, engezi z'ababi zambikka;
6
emiguwa gy'emagombe gyanneezingirira, emitego gy'okufa gyali ginnindiridde.
7
Mu nnaku yange nakoowoola Omukama, ne mpanjagira Katonda wange. Yayima mu Kiggwa kye n'awulira eddoboozi lyange; okuwanjaga kwange ne kutuuka ku matu ge.
8
“Ensi yayuuga n'ekankana, emisingi gy'eggulu ne giyuuguuma, ne gikubagana kubanga yali asunguwadde.
9
Omukka gwattunka okuva mu nnyindo ze, n'omuliro ogusenkenya ne guva mu kamwa ke, n'amanda gaawamatukamu nga gaaka.
10
Yaggula eggulu n'akkirira, ekire ekikwafu nga kiri wansi w'ebigere bye.
11
“Yeebagala ku bakerubi n'abuuka, n'aseeyeeyera ku biwaawaatiro by'empewo.
12
Enzikiza yagifuula ensiisira okumwetooloola; n'asiikirizibwa amazzi amakwafu, ebire ebikutte,
13
mu kitangaala ekiri w'abeera mwawamatukamu amanda g'omuliro.
14
“Omukama yabwatuka ng'ayima mu ggulu; Ali Waggulu Ddala n'ata eddoboozi lye.
15
Yalasa obusaale n'ababunya emiwabo, n'okubwatuka kwa laddu okw'amaanyi n'abasaanyaawo.
16
Ebiwonvu by'ennyanja ne byeyerula, emisingi gy'enkulungo y'ensi ne girabika, Omukama bwe yaboggola, omukka gw'emivumbo gye bwe gwafuuwa.
17
“Yayima waggulu n'ambaka, n'ansikayo mu mazzi amangi.
18
Yamponya omulabe wange ow'amaanyi, abo abaali bankyaye, abampitiridde amaanyi.
19
Bannumba ku lunaku olw'obuyinike bwange, naye Omukama ye yali obuyambi bwange.
20
Yanzigyayo n'antwala mu kyererezi; yamponya, kubanga aneesiimiramu.
21
“Omukama yampeera ng'agerera ku butuukirivu bwange; yanziriza ng'agerera ku butukuvu bw'emikono gyange.
22
Kubanga nakuuma amakubo g'Omukama, saakola bubi kuva ku Katonda wange.
23
Kubanga ebiragiro bye byonna bindi wano mu maaso; saawunjuka ku mateeka ge.
24
Mu maaso ge saaliko musango; neekuuma nze okukola ekibi.
25
N'Omukama yanziriza ng'agerera ku butuukirivu bwange, ng'asinziira ku butukuvu bwange mu maaso ge.
26
“Ku mutuufu weeraga bw'oli omutuufu; ku muntu ataliiko musango weeraga bw'otoliiko musango.
27
Ku mutukuvu weeraga bw'oli omutukuvu; ku mwonoonefu weeraga bw'oli omukalabakalaba.
28
Olokola abatene, naye amaaso n'ogasimba abeekuza obatoowaze.
29
Ggwe ttawaaza yange, ayi Mukama, Omukama atangaaza enzikiza yange.
30
Nga ndi naawe n'eggye ndirumba, Nga ndi ne Katonda wange mpalampa ne bbugwe.
31
“Katonda ono, ekkubo lye temuli bbala. Ekigambo ky'Omukama kitukuze na muliro; Ye ngabo ya bonna abaddukira gy'ali.
32
“Kubanga ani Katonda, wabula Omukama? Ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
33
Ye Katonda ankindikidde amaanyi, ekkubo lyange alittaanyizza ddala.
34
Ebigere byange yabifaananya eby'empeewo, n'annyimiriza awagulumivu.
35
Yayigiriza emikono gyange okutabaala, emikono gyange giweta omusaale ogw'ekikomo.
36
“Wampa engabo y'obuwanguzi bwo; wanfaako n'onfuula mwatiikirivu.
37
Enta zange wazigaziya, obukongovvule bwange buleme kukoowa.
38
Nawondera abalabe bange ne mbaseseggula; saakyuka nga sinnabazikiriza.
39
Nabakuba, tebaddamu kusituka; bangwa awo ku bigere byange.
40
“Wankindikira obuzira nsobole olutalo, abansitukiramu wabafeebeza ku bigere byange.
41
Abalabe bange wabakyusa ne banziruka; abankyawa ne mbazikiriza.
42
Baalekaana, ne wabula abalokola; baawanjagira Omukama, kyokka teyabaddamu.
43
Nabamerengula ng'enfuufu y'ettaka, nabasambirira ne mbalinnyirira ng'ebitoomi by'omu kkubo.
44
“Wamponya ennyombo z'abantu bange, wankuuma ng'omutwe gwa mawanga; abantu be nali simanyi bampeereza.
45
Abagwira babundaala we ndi; okutu kwabwe kuŋŋondera.
46
Abagwira batekemuka, ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
47
“Omukama mulamu, aweebwe omukisa Olwazi lwange. Agulumizibwe Katonda, Olwazi lw'obulokofu bwange.
48
Ye Katonda awoolera eggwanga ku lwange, assa amawanga wansi wange;
49
antaasa ku balabe bange. Wangulumiza ku bannumba, wamponya abantu abakambwe.
50
Kyendiva nkugulumiza mu mawanga, ayi Mukama; ndiyimbira erinnya lyo ettendo.
51
Awa kabaka we obuwanguzi obw'amaanyi; agirira ekisa omusiige we, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24