bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 19
2 Samuel 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Kabaka n'atekemuka, n'alinnya mu kisenge ekya waggulu waggulu w'omulyango n'akaaba. Yagendanga alira nga bw'agamba nti: “O, mutabani wange Abusalomu, mutabani wange Abusalomu! Singa nno nfudde mu kifo kyo? O, Abusalomu, mwana wange, mwana wange!”
2
Yowabu ne bamubuulira nti: “Kabaka akaaba, akungubagira mutabani we.”
3
Ku olwo okuwangula kwafuuka kukungubaga kwa mu ggye wonna, kubanga ku olwo abatabaazi bonna baawulira nga bagamba nti: “Kabaka munakuwavu olwa mutabani we.”
4
Ku olwo abatabaazi ekibuga baakiyingira basolima, ng'abantu bwe basolima ng'ensonyi zibakutte nga badduse mu lutalo.
5
Kabaka yali yeebisse ku maaso, ng'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Mwana wange Abusalomu, mwana wange, mwana wange Abusalomu!”
6
Yowabu n'ayingira ewa kabaka mu nnyumba n'agamba nti: “Oswazizza amaaso g'abaweereza bo bonna abawonyezza obulamu bwo, obwa batabani bo, bawala bo, obulamu bwa bakazi bo n'abasebeyi bo.
7
Abakukyawa b'oyagala n'okyawa abakwagala. Olwa leero weeyolese ng'abagabe bo tobafaako n'abakungu bo; era kati ntegedde nti Abusalomu aba kusigalawo ffe ffenna ne tufa, ekyo kye kyandikusanyudde.
8
Kale nno situka ogumye abasajja bo. Ndayidde Omukama, bw'otoogende, we bunaazibira wanaaba tewakyali n'omu asigadde naawe. Ate ekyo kijja kukubeerera kibi okusinga byonna ebyali bikugwiridde okuva mu buvubuka bwo n'okutuusa kati.”
9
Kabaka n'asituka, n'atuula ku wankaaki. Abantu bonna ne bababuulira nti: “Kabaka atudde ku wankaaki.” Bonna ne bajja mu maaso ga kabaka. Abayisirayeli baali baddukidde buli omu mu weema ye.
10
Wonna mu bika bya Yisirayeli abantu baali beebuuza nti: “Kabaka yatuwonya mu mikono gy'abalabe baffe; yennyini yatuwonya mu mikono gy'Abafilisitiini; ate kati adduse mu nsi olwa Abusalomu.
11
Abusalomu gwe twasiiga atufuge, afiiridde mu lutalo. Lwaki temubaako kye mugamba ku kuzza kabaka?” Ebyali byogerwa mu Yisirayeli wonna ne bituuka ewa kabaka mu lubiri lwe.
12
Awo kabaka Dawudi n'atuma ewa Zadoki ne Abiyatari kabona, n'agamba nti: “Mugambe abakulu mu Yuda nti: ‘Lwaki mmwe musembyeyo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe? Kubanga byonna ebyogeddwa mu Yisirayeli wonna bituuse kabaka mu lubiri lwe.
13
Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange na musaayi gwange. Lwaki mmwe musembyeyo okuzza kabaka?’
14
Ne Amasa mumugambe nti: ‘Ggwe toli wa musaayi gwange? Katonda ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa n'okuva kati si ggwe onootwala eggye mu kifo kya Yowabu.’ ”
15
Bw'atyo yasobola okuzza emitima gy'abantu ba Yuda, bonna nga bali kimu ng'omuntu omu. Ne batuma ewa kabaka, ne bagamba nti: “Komawo, ggwe n'abantu bo bonna.”
16
Kabaka n'akomawo, n'ajja n'atuuka ku Yorudani. Abantu ba Yuda ne bajja e Gilugali okusisinkana kabaka bamusomose Yorudani.
17
Ne Semeyi mutabani wa Gera Omubenyamiini ow'e Bakurimu n'ayanguwako n'akkirira ne basajja ba Yuda okusisinkana kabaka Dawudi.
18
Yali n'abasajja lukumi Ababenyamiini ne Ziba omuweereza w'omu nnyumba ya Sawulo, n'abaana be kkumi na bataano n'abaweereza be amakumi abiri abaabeeranga naye. Ne bajja mangu ku Yorudani nga ne kabaka tannatuuka.
19
Ne basomoka ne bayamba mu kusomosa ennyumba ya kabaka, n'okukola kyonna kye yayagalanga. Ye Semeyi mutabani wa Gera bwe yasomoka Yorudani, n'agwa mu maaso ga kabaka nga yeevuunise ku maaso ge,
20
n'amugamba nti: “Mukama wange, tonzisaako musango, leka na kujjukira kibi kya muweereza wo luli mukama wange kabaka lwe yava mu Yeruzaalemu; ayi kabaka, tokikuumira ku mutima gwo.
21
Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nti nayonoona, kyenvudde mbeera omubereberye mu nnyumba ya Yozefu okuserengeta nsisinkane mukama wange kabaka.”
22
Abisayi mutabani wa Zeruya n'agamba nti: “Semeyi tagwanidde kufa olwa kino? Anti yavumirira omusiige w'Omukama.”
23
Dawudi n'agamba nti: “ Batabani ba Zeruya, ogubadde nze nammwe? Olwa leero munfuukidde abalabe. N'olwa leero mu Yisirayeli mufeemu omuntu? Nze simanyi nti olwa leero nfuuse kabaka wa Yisirayeli?”
24
Kabaka n'agamba Semeyi nti: “Tojja kufa.” N'amulayirira n'okumulayirira.
25
Ne Mefiboseti muzzukulu wa Sawulo naye yaserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga ku bigere, wadde okumwa ekirevu, n'engoye ze nga tazoozanga okuva luli kabaka lwe yadduka n'okutuusa ku lunaku lwa leero, okutuusa lwe yakomawo mu ddembe.
26
Bwe yava e Yeruzaalemu okugenda okusisinkana kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mefiboseti, lwaki tewajja nange?”
27
Ye n'amwanukula n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, omuweereza wo engeri gyali omulema, nali ŋŋambye omulenzi andabirira nti: ‘Endogoyi yange gintandiikire, neebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye omuweereza n'annimba.
28
Ate n'awaayiriza omuweereza wo eri mukama wange kabaka. Naye ggwe, mukama wange kabaka, oli nga malayika wa Katonda; kola nga bw'onooba olabye.
29
Anti ennyumba ya jjajjange yali egwanira kibonerezo kya kuttibwa ewa mukama wange kabaka; naye wabalira omuweereza wo mu abo b'olya nabo. Nnina ki kwe nnaayima okuwanjaga ewa kabaka?”
30
Kabaka n'amugamba nti: “Lwaki olondobereza nnyo? Ndagidde ggwe ne Ziba mugabane ennimiro.”
31
Mefiboseti n'ayanukula kabaka nti: “Atwale, kasita mukama wange kabaka akomyewo mu ddembe mu lubiri lwe.”
32
Ne Baruzillayi Omugileyaadi n'aserengeta ng'ava e Rogelimu okusomosa kabaka Yorudani n'okumusiibula okuva ku Yorudani.
33
Baruzillayi Omugileyaadi yali mukadde nnyo ng'aweza emyaka kinaana. Kabaka we yabeerera e Makanayimu yamuweerezanga emmere, anti yali musajja mugagga nnyo.
34
Kabaka n'agamba Baruzillayi nti: “Jjangu tusomoke wamu, nzija kukulabiriranga ewange mu Yeruzaalemu.”
35
Baruzillayi n'agamba kabaka nti: “Ennaku z'emyaka gy'obulamu bwange nsigazza mmeka kwe mba nsinziira okwambuka ne kabaka e Yeruzaalemu?
36
Kati mpeza emyaka kinaana; nkyamanyi ekirungi n'ekibi? Yadde omuweereza wo nkyawoomerwa byakulya oba byakunywa? Nkyaddayo okuwulira eddoboozi ly'abayimbi abasajja oba abakazi? Lwaki omuweereza wo yandifuukidde mukama wange kabaka omugugu?
37
Omuweereza leka awerekereko kabaka katono okuva ku Yorudani. Siraba lwaki kabaka yandinsiimye na bino byonna!
38
Nkwegayiridde, leka omuweereza wo addeyo afiire mu kibuga okumpi n'ebiggya bya kitange ne nnyabo. Wano waliwo omuweereza wo Kimuwamu; oyo y'aba agenda naawe, mukama wange; mukolere kyonna ky'olaba.”
39
Kabaka n'agamba nti: “Kimuwamu asomoke nange, nange nzija kumukolera kyonna ky'osiimye; na buli kyonna ky'ononsaba nzija kukikukolera.”
40
Abantu bonna ne basomoka Yorudani. Kabaka bwe yamala okusomoka, n'anywegera Baruzillayi, n'amwagaliza omukisa; Baruzillayi n'addayo ewaabwe.
41
Kabaka n'asomoka n'atuuka mu Gilugali, nga ne Kimuwamu ali naye. Amagye gonna aga Yuda n'ekyokubiri eky'amagye ga Yisirayeli baali basomosezza kabaka.
42
Abasajja bonna Abayisirayeli ne bajja ewa kabaka ne bamugamba nti: “Baganda baffe basajja ba Yuda lwaki babba kabaka, ne bamusomosa Yorudani, n'ennyumba ye yonna n'abasajja bonna aba Dawudi?”
43
Abantu ba Yuda bonna ne baanukula abantu ba Yisirayeli nti: “Kubanga kabaka wa luganda naffe? Ku bya kabaka tulinako n'ekimu kye tuliddeko, oba kye twetwaliddeko?”
44
Abantu ba Yisirayeli ne baanukula aba Yuda nti: “Mu kabaka tulinamu emigabo kkumi, bw'atyo Dawudi waffe okusinga mmwe. Lwaki mutunnyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye abantu ba Yuda ne baanukuza bukambwe okusinga abantu ba Yisirayeli.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24