bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 7
2 Samuel 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Kabaka bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'Omukama ng'amuwadde akalembereza ku balabe bonna abaali bamwetoolodde,
2
n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolookyo, sso nga yo Ssanduuku ya Katonda ebeera mu weema buweema!”
3
Natani n'agamba kabaka nti: “Buli kyonna ekikuli ku mutima, genda okikole, kubanga Omukama ali naawe.”
4
Naye ekiro ekyo kyennyini, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Natani nti:
5
“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama: Ggwe onoozimbira nze ennyumba mwe nnaasula?
6
Sisulanga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero; mbadde nsenvulira mu weema ng'ekisulo.
7
Mu bifo byonna mwe nayita n'Abayisirayeli bonna, nali njogedde n'omu ku bakulembeze ba Yisirayeli be nalagira balunde abantu bange Yisirayeli, ne ŋŋamba nti: “Lwaki temwanzimbira nnyumba ya ntolookyo?” ’
8
Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama w'Amagye: Nakuggya mu malundiro, mu kulunda ndiga, olyoke obeere omukulembeze w'abantu bange, owa Yisirayeli.
9
Yonna gy'oyise mbadde naawe, ne nkusalako abalabe bo bonna mu maaso go. Kati erinnya lyo nzija kulifuula tutumufu okwenkana ery'abo abatutumufu mu nsi.
10
Nzija kukolera abantu bange Yisirayeli ekifo, mbasse omwo, babeerenga omwo, nga tebakyaddayo kutawaanyizibwa. Ababi tebaliddayo kubabonyaabonya nga bwe baakola mu masooka,
11
era nga bwe babadde bakola okuva ku lunaku lwe nassaawo abalamuzi ku bantu bange Abayisirayeli. Nzija kukuwa akalembereza ku balabe bo bonna. Era Omukama akugambye nti: Omukama kennyini ajja kukuzimbira ennyumba.
12
Ennaku zo bwe ziriba zituuse, n'ogalamira ne bajjajjaabo, ndisitusawo ezzadde lyo eririkusikira, omwana gwe weezaalidde wennyini, era ndinyweza obwakabaka bwe.
13
Oyo y'alizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza nnamulondo y'obwakabaka bwe emirembe gyonna.
14
Ndibeera kitaawe, naye alibeera mwana wange. Bw'aliba aliko ky'akoze ekikyamu, ndimubonereza n'omuggo abantu gwe beeyamba, ndimukuba ng'abantu bwe bakuba.
15
Naye sirimuggyako kisa kyange nga bwe nakiggya ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go.
16
Ennyumba yo n'obwakabaka bwo biriba binywevu mu maaso gange emirembe gyonna, ne nnamulondo yo eribeera nnywevu emirembe gyonna.’ ”
17
Natani ebigambo n'abibuulira Dawudi nga bino byonna bwe byali bimugambiddwa, nga bino byonna bwe byali bimubikkuliddwa.
18
Dawudi n'ayingira, n'atuula mu maaso g'Omukama, n'agamba nti: “Nze ani, ayi Mukama Omuyinza, n'ennyumba yange kye ki, okulaba ng'ontuusizza wano?
19
Ayi Mukama Omuyinza, olabye nga kino ekikyali ekitono, n'oyogera ne ku nnyumba y'omuweereza wo gye bujja. Bw'otyo bw'oyisa omuntu, ayi Mukama Omuyinza?
20
Dawudi akyalinayo ki ekirala ky'anaakugamba? Anti ayi Mukama Omuyinza, omuweereza wo omumanyi.
21
Ku lw'ekigambo kyo, ng'ogoberera omutima gwo, okoze ekintu kino kyonna ekikulu ate n'okimanyisa omuweereza wo.
22
Ng'oli mukulu, ayi Mukama Omuyinza! Teri akufaanana; teri na Katonda mulala, okuggyako ggwe, mu byonna bye twawulira n'amatu gaffe.
23
Ggwanga liruwa eriri ng'abantu bo, eriri nga Yisirayeli: eggwanga lyokka mu nsi Katonda lye yagenda anunule babe abantu be, yessizeewo erinnya, akole ebikuuno n'eby'entiisa ng'agobawo, amawanga ne balubaale baago, mu maaso g'abantu bo be weenunulira mu Misiri?
24
Weeteerawo bw'otyo abantu bo Yisirayeli babe bantu bo emirembe gyonna; ate naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
25
Awo nno, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muweereza wo ne ku nnyumba ye kinyweze emirembe gyonna; kola nga bw'osuubizza.
26
Olwo erinnya lyo lirigulumizibwa emirembe gyonna, n'abantu baligamba nti: ‘Omukama w'Amagye ye Katonda wa Yisirayeli,’ n'ennyumba y'omuweereza wo Dawudi erinywera mu maaso go.
27
Anti ayi Mukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino okibikkulidde omuweereza wo nti: ‘Nzija kukuzimbira ennyumba.’ Omuweereza wo kyavudde azuula amaanyi okwegayirira gy'oli mu ssaala eno.
28
Kale nno, ayi Mukama Omuyinza, ggwe oli Katonda, ebigambo byo bya mazima; osuubizza n'omuweereza wo ebirungi bino,
29
kati kkiriza okuwa omukisa ennyumba y'omuweereza wo, bulijjo ebeere mu maaso go, kubanga ggwe, ayi Mukama Omuyinza, osuubizza; ng'owadde omukisa gwo ennyumba y'omuweereza wo eriweebwa omukisa emirembe gyonna.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24