bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 4
2 Samuel 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneri yali afiiridde e Keburoni, emikono ne gimulagaya, ne Yisirayeli yenna n'atengera.
2
Mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abagabe b'ebikwanga ebyaya, omu nga ye Baana, omulala nga ye Rekabu, batabani ba Rimmoni ow'ekika kya Benyamiini; anti Beeroti kyatwalibwanga ng'ekibuga kya Benyamiini,
3
kubanga Ababeeroti baali baddukidde mu Gittayimu, ne babeera eyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
4
Yonatani mutabani wa Sawulo yalina omwana nga mulema amagulu gombi. Yali wa myaka etaano amawulire agafa ku Sawulo ne Yonatani we gaatuukira okuva mu Yezureeli. Omukazi eyali amulera yamubakula n'adduka; mu kuduma okwo, omwana n'agwa n'alemala. Erinnya lye nga ye Mefiboseti.
5
Kati nno batabani ba Rimmoni Omubeeroti, Rekabu ne Baana, baagenda ne batuuka ku nnyumba ya Yisi-Boseti mu ttuntu. Yisi-Boseti yali awumuddeko mu ggandaalo ly'omu ttuntu.
6
Omukazi eyali akuuma omulyango otulo twali tumukwatidde ku ŋŋano gye yali awewa.
7
Rekabu ne muganda we Baana ne bebbirira ne bayita ku mukazi ne bayingira mu nnyumba Yisi-Boseti mwe yali yeebase ng'agalamidde ku kitanda kye. Ne bamufumita ne bamutta, ne bamutemako omutwe. Omutwe gwe ne bagutwala nga bakutte ekkubo lya Araba, ne bamala ekiro ekyo kyonna nga batambula.
8
Omutwe gwa Yisi-Boseti ne baguleetera Dawudi e Keburoni, ne bagamba kabaka nti: “Guuguno omutwe gwa Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyali anoonya okukutta; Omukama olwa leero awadde mukama wange kabaka okuwoolera eggwanga ku Sawulo n'olulyo lwe.”
9
Dawudi n'ayanukula Rekabu ne Baana muganda we, batabani ba Rimmoni Omubeeroti nti: “Mazima Omukama nga mulamu, eyamponya mu bizibu byonna,
10
kubanga oli eyandeetera amawulire nti: ‘Sawulo afudde,’ amale alowooze nti aleese mawulire ga ssanyu, namukwata ne mmutta e Zikulagi, ng'ekyo kye kirabo kye namuwa olw'amawulire ago,
11
leero alabisa kati ng'abantu ababi basse omuntu ataliiko musango nga yeebase mu nnyumba ye ku kitanda kye! Omusaayi gwe siigulondoole mu mikono gyammwe, ne mbaggyawo ku nsi?”
12
Awo Dawudi n'alagira abasajja be ne babatta. Baabatemako emikono n'ebigere, ne bawanika emirambo gyabwe ku kidiba ky'e Keburoni. Gwo omutwe gwa Yisi-Boseti ne baguziika mu ntaana ya Abuneri mu Keburoni.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24