bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 18
2 Samuel 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Dawudi bwe yamala okukunga abantu abaali naye, n'abassaako abaduumira ebibinja eby'ekikumi n'eby'olukumi.
2
Dawudi eggye n'alisindika, ekyokusatu nga kiri mu mikono gya Yowabu, ekyokubiri mu mikono gya Abisayi mutabani wa Zeruya muganda wa Yowabu, n'ekyokusatu mu mikono gya Yittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti: “Nange nzija kugenda nammwe”
3
Abantu ne baanukula nti: “Tojja kugenda naffe; ffe ne bwe tufaamu ekyokubiri, tebajja kutufaako nnyo. Bwe tuba tudduse, ffe tebajja kutufaako nnyo; naye mu ggwe omu muweramu mutwalo mulamba. Ekisinga obulungi, ggwe sigala mu kibuga otuwagirire eyo.”
4
Kabaka n'abagamba nti: “Kye musiima, kye nnaakola.” Kabaka n'ayimirira okumpi n'omulyango, abasajja bonna ne bamuyita awo mu maaso mu bibinja byabwe: eby'ekikumi n'eby'olukumi.
5
Kabaka n'alagira Yowabu, Abisayi ne Yittayi nti: “Omulenzi Abusalomu mumukwata na kisa olw'okubeera nze.” Abantu bonna baawulira nga kabaka bw'akuutira abagabe ku Abusalomu.
6
Eggye ne ligenda mu ddwaniro okulwanyisa Yisirayeli; olutalo lwali mu lukoola lwa Efurayimu.
7
Eggye lya Yisirayeli ne liwangulibwa mu maaso g'abasajja ba Dawudi; abattibwa ku olwo ne baba bangi: abantu emitwalo ebiri.
8
Olutalo lwabuna wonna; olukoola be lwamalawo baasingira wala ekitala be kyawemmenta ku olwo.
9
Kati nno Abusalomu yagenda n'agwa mu basajja ba Dawudi; yali ali ku nnyumbu ye. Ennyumbu bwe yayita wansi w'omwera omunene ogusakaatidde, omutwe gwe ne guwambira mu muti, n'abeera awo ng'alengejjera wakati w'eggulu n'ensi; ennyumbu kwe yali atudde yasigala egenda.
10
Ne wabaawo eyakiraba, n'abuulira Yowabu nti: “Ndabye Abusalomu ng'alengejjera ku mwera.”
11
Yowabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti: “Wamulabye? Lwaki tewamukubiddewo n'agwa ku ttaka? Nze nandikuwadde sekeli za ffeeza kkumi n'omusipi ogw'obuzira.”
12
Naye omusajja n'addamu Yowabu nti: “Nze ne bwe nandimpimiddwa mu ngalo zange sekeli za ffeeza lukumi, sandisitulidde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffe ffennyini twewuliridde kabaka ng'akuutira ggwe, Abisayi ne Yittayi nti: ‘Ne bw'aba ani, mukuume omulenzi Abusalomu.’
13
Singa neerimbye, ne ntunda obulamu bwange, anti tewali kisobola kukisibwa kabaka, naawe wennyini wandinneesambye.”
14
Yowabu n'agamba nti: “Sijja kumala biseera bwe ntyo naawe.” Awo n'akwata obujogolo busatu, n'abusogga mu mutima gwa Abusalomu nga mulamu akyalengejjera ku mwera.
15
Abalenzi ba Yowabu kkumi abasitula ebyokulwanyisa bye ne beetooloola Abusalomu, ne bamukuba ne bamutta.
16
Yowabu n'afuuwa eŋŋombe, abantu ne balekera awo okuwondera Yisirayeli kubanga Yowabu yabayimiriza.
17
Ne baddira Abusalomu ne bamukasuka mu kinnya ekinene eyo mu kibira, ne bamutuumako entuumu nnene nnyo ey'amayinja. Bo Abayisirayeli bonna ne badduka ne badda mu weema zaabwe.
18
Abusalomu yali akyali mulamu, yeesimbira empagi y'ejjinja mu Kiwonvu kya Kabaka, kubanga yali agamba nti: “Sirina mwana erinnya lyange mwe linajjuukirirwa.” Ejjinja n'alituuma erinnya lye; liyitibwa Omukono-gwa-Abusalomu n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
19
Akimaazi mutabani wa Zadoki n'agamba nti: “Leka nziruke mbuulire kabaka amawulire ag'essanyu nti: ‘Omukama amuwonyezza mu mikono gy'abalabe be.’ ”
20
Yowabu n'amugamba nti: “Tojja kubeera muleesi wa mawulire malungi olwa leero; oligatwala olulala, kubanga mutabani wa kabaka y'afudde.”
21
Yowabu n'atuma Omukuusi nti: “Genda obuulire kabaka by'olabye.” Omukuusi n'avunnamira Yowabu, n'addukirawo.
22
Akimaazi, mutabani wa Zadoki n'addamu okugamba Yowabu nti: “Oba kiba kibe, nkwegayiridde ndeka mpondere Omukuusi.” Yowabu n'agamba nti: “Ate ogukuddusa, mwana wange? Tolina mawulire ganakuweesa mpeera.”
23
Ye n'ayanukula nti: “Oba kiba kibe, nze nzija kudduka.” N'amugamba nti: “Dduka.” Akimaazi n'adduka ng'akutte ekkubo ery'omu Museetwe, n'ayisa Omukuusi.
24
Dawudi yali atudde wakati w'emiryango ogw'omu maaso n'ogw'emabega; omukuumi yali agenze ku lubalaza olwa waggulu w'omulyango, bwe yasitula amaaso n'alaba omuntu adduka ng'ali bw'omu,
25
n'aleekaana n'ategeeza kabaka. Kabaka n'agamba nti: “Oba ali bw'omu, aleeta mawulire malungi.” Omusajja n'ajja ng'asembera.
26
Omukuumi n'alengera omuntu omulala adduka; omukuumi eyali waggulu w'omulyango n'akoowoola nti: “Eriyo omuntu omulala ajja adduka obw'omu.” Kabaka n'agamba nti: “N'oyo mubaka mulungi.”
27
Ate omukuumi n'agamba nti: “Eyasoose ndaba enziruka ye efaanana ng'eya Akimaazi mutabani wa Zadoki.” Kabaka n'agamba nti: “Musajja mulungi, amawulire g'aleeta malungi.”
28
Akimaazi n'aleekaana n'agamba kabaka nti: “Kiri mulaala.” N'avunnamira kabaka; n'agwa ku ttaka nga yeevuunise ku maaso ge, n'agamba nti: “Omukama Katonda wo agulumizibwe awaddeyo abantu abaasitula emikono gyabwe okulwanyisa mukama wange kabaka.”
29
Kabaka n'agamba nti: “Omulenzi Abusalomu ali bulungi?” Akimaazi n'agamba nti: “Nalabye akagugumuko akanene Yowabu we yatumidde omuweereza wa kabaka, naye omuweereza wo saategedde kyabaddeyo.”
30
Kabaka n'amugamba nti: “Dda ebbali, yimirira wali.” Naye n'avaawo, n'ayimirira ebbali.
31
Omukuusi n'atuuka n'agamba nti: “Wulira amawulire amalungi, mukama wange kabaka; olwa leero Omukama akuddiddemu n'akuwonya mu mikono gya bonna abakusitukiramu.”
32
Kabaka n'abuuza Omukuusi nti: “Omulenzi Abusalomu ali bulungi?” Omukuusi n'amwanukula nti: “Abalabe ba mukama wange, na bonna abaamusitukiramu bamukole akabi, babeere ng'omulenzi oyo.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24