bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 10
2 Samuel 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Oluvannyuma, kabaka w'Abammoni n'afa; Kanuni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
2
Dawudi n'agamba nti: “Nzija kugirira ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi nga kitaawe bwe yangirira ekisa.” Awo Dawudi n'atumayo abaweereza be bamutuusize okukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Naye abaweereza ba Dawudi bwe bajja mu nsi y'Abammoni,
3
abakungu b'Abammoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti: “Olowooza Dawudi akutumidde ab'okukukubagiza lwa kussaamu kitaawo kitiibwa, nandiki Dawudi abaweereza be abasindise gy'oli bekkaanye ekibuga, bakikette ate bakizikirize?”
4
Kanuni n'addira abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekitundu ky'ekirevu, n'engoye zaabwe n'azisalirako awo mu makkati ku butuuliro, n'abagoba bagende.
5
Dawudi bwe baakimubuulira, n'asindika ab'okubasisinkana; anti baali batoowaziddwa nnyo. Dawudi n'abalagira nti: “Musigale mu Yeriko, okutuusa ebirevu byammwe nga bimeze, awo mulyoke mukomeewo.”
6
Abammoni bwe baalaba nga bekyayisizza ewa Dawudi, ne bapangisa abatabaazi ab'ebigere Abaaramu: mu Beti-Rekobu ne Zoba baggyayo emitwalo ebiri, ewa kabaka Maaka baggyayo abasajja lukumi, ne mu basajja b'e Tovu omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
7
Dawudi bwe yakiwulira, n'asindika Yowabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
8
Abammoni ne bavaayo, ne batala okulwana ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga kyabwe. Bo Abaaramu abaava e Zoba, Rekobu, Tovu ne Maaka baasigala ku ttale bokka.
9
Yowabu bwe yalaba nga beetegese okumulwanyisa nga bafuluma mu maaso n'emabega, n'alonda mu bonna abatabaazi abalondobe mu Yisirayeli, n'abategeka okulumba Abaaramu;
10
ekitundu ky'abantu ekyasigalawo n'akiwa Abisayi muganda we n'abategeka okulumba Abammoni.
11
Yowabu n'agamba nti: “Abaaramu bwe banansinza amaanyi, ononziruukirira; n'Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, ddala nzija kukudduukirira.
12
Beera muzira; tulwane na buzira okutaasa abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe; Omukama anaakola ekisaanye mu maaso ge.”
13
Yowabu n'eggye lye yali nalyo ne balumba okulwana n'Abaaramu, Abaaramu ne babadduka.
14
Abammoni bwe baalaba ng'Abaaramu badduse, nabo ne badduka Abisayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowabu n'aleka Abammoni, n'akomawo e Yeruzaalemu.
15
Abaaramu bwe baalaba nga bakubiddwa Yisirayeli, ne beekuŋŋaanya.
16
Adadeezeri n'atuma, n'aggyayo Abaaramu okuva emitala w'omugga, ne bagenda e Kelamu; Sobaki omuduumizi w'eggye lya Adadeezeri ng'abakulembedde.
17
Bwe baakibuulira Dawudi, n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna n'asomoka Yorudani, n'ajja e Kelamu; Abaaramu ne bataza eggye okusisinkana Dawudi; ne bamulwanyisa.
18
Naye Abaaramu ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Baaramu abatabaazi b'oku bigaali lusanvu, n'abatabaazi baabwe ab'ebigere emitwalo ena. Yakuba Sobaki omuduumizi w'eggye lyabwe, n'afiira eyo.
19
Bakabaka bonna abaali abaweereza ba Adadeezeri bwe baalaba nga bakubiddwa Yisirayeli, ne bateeseganya n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Abaaramu ne batya okuddayo okuyamba Abammoni.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24