bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 3
2 Samuel 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
1
Ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi baalwanaganira ebbanga ggwanvu; Dawudi bulijjo nga yeeyongera maanyi, ennyumba ya Sawulo yo ng'egenda enafuwa.
2
Bano be baana abaazaalirwa Dawudi ng'ali e Keburoni: Omuggulanda yali Amunoni owa Akinowamu ow'e Yezureeli;
3
owookubiri Kileyabu owa Abigayili eyali muka Nabali ow'e Karumeli; owookusatu Abusalomu mutabani wa Maaka, muwala wa Talumayi kabaka w'e Gessuru;
4
owookuna Adoniya mutabani wa Kaggiti; owookutaano Sefatiya mutabani wa Abitali,
5
n'owoomukaga Yiturewamu owa Egula muka Dawudi; abo be baazaalirwa Dawudi e Keburoni.
6
Mu bbanga ennyumba ya Sawulo we yalwanaganiranga n'ennyumba ya Dawudi, Abuneri mutabani wa Neri yali yeeyongera okwenyweza mu nnyumba ya Sawulo.
7
Sawulo yalina omusebeyi, nga ye Rizupa, muwala wa Aya. Olumu Yisi-Boseti yagamba ku Abuneri nti:
8
“Lwaki oganza musebeyi wa kitange?” Abuneri n'asunguwala nnyo olw'ekyo Yisi-Boseti kye yayogera, n'ayanukula nti: “Olowooza ndi mutwe gwa mbwa, ndi wa Yuda? Na kati mbadde nkyagirira ekisa ennyumba ya kitaawo Sawulo ne baganda be ne mikwano gye; saakuwaayo mu mikono gya Dawudi, naye ggwe olwa leero onvunaana ekibi ekyekuusa ku mukazi ono.
9
Katonda akole bw'atyo Abuneri, ate asinze nawo, singa sikolera Dawudi Omukama bye yamulayirira,
10
okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okunyweza nnamulondo ya Dawudi ku Yisirayeli ne ku Yuda okuva ku Daani okutuuka ku Beeriseba.”
11
Yisi-Boseti teyaguma kugamba ku Abuneri kantu kalala konna, kubanga yali amutya.
12
Abuneri n'atuma ababaka ewa Dawudi ku lulwe bamugambe nti: “Ensi ye ani?” Era bamugambe nti: “Tukole endagaano nkuyambe okuzza Yisirayeli gy'oli.”
13
Dawudi n'addamu nti: “Kirungi; nzija kukola naawe endagaano, wabula nkusaba ekintu kimu: toliraba maaso gange, wabula ng'oleese Mikali muwala wa Sawulo lw'olijja; olwo lw'olinnyimirira mu maaso.”
14
Dawudi n'atuma ababaka ewa Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo ng'agamba nti: “Komyawo mukazi wange Mikali gwe nayogereza n'obuliba kikumi obw'Abafilisitiini.”
15
Yisi-Boseti n'alagira ne bamuggya ku bbaawe Palutyeli, mutabani wa Layisi.
16
Bbaawe yamugoberera nga bw'agenda akaaba okutuukira ddala e Bakurimu. Abuneri n'amugamba nti: “Genda, ddayo.” Naye n'addayo.
17
Abuneri yayogeraganyaamu n'abakadde mu Yisirayeli, n'abagamba nti: “Ebbanga lino lyonna mubadde mwegomba Dawudi abeere kabaka wammwe;
18
kale nno kati mumufuule, kubanga Omukama yasuubiza Dawudi nti: ‘N'omukono gw'omuweereza wange Dawudi, ndinunula abantu bange Yisirayeli mu mikono gy'Abafilisitiini n'egy'abalabe baabwe bonna.’ ”
19
Abuneri era n'ayogeraganyaamu n'Ababenyamiini. N'agenda n'abuulira Dawudi mu Keburoni byonna Yisirayeli ne Benyamiini yenna bye baali basemba.
20
Abuneri bwe yajja ewa Dawudi mu Keburoni wamu ne basajja be amakumi abiri, Dawudi n'amukolera embaga wamu n'abasajja be amakumi abiri abaali bazze naye.
21
Abuneri n'agamba Dawudi nti: “Ka ŋŋende nkuŋŋaanyize ku ggwe, mukama wange kabaka, Yisirayeli yenna, bakole naawe endagaano, ofuge bonna ng'omwoyo gwo bwe gwegomba.” Dawudi n'asiibula Abuneri, n'agenda mu ddembe.
22
Mu kadde ako abasajja ba Dawudi ne Yowabu ne badda nga bava okwaya; baalina omunyago munene. Abuneri teyali na Dawudi mu Keburoni, kubanga yali amaze okumusiibula, ng'agenze mu ddembe.
23
Yowabu n'eggye lyonna bwe baakomawo, abantu ne babuulira Yowabu nti: “Abuneri mutabani wa Neri yazze ewa kabaka, era yamusiibudde n'agenda mu ddembe.”
24
Yowabu n'agenda ewa kabaka n'agamba nti: “Wakoze ki kino? Abuneri mutabani wa Neri yazze gy'oli; lwaki watadde mute? Kati wuuyo agenze.
25
Abuneri mutabani wa Neri tomumanyi? Ekyamuleese kukulimbalimba, alabe enfuluma n'ennyingira yo, amanye na byonna by'okola.”
26
Yowabu n'afuluma n'ava awali Dawudi, n'atuma ababaka bagoberere Abuneri, ne bamukomyawo okumuggya ku luzzi lw'e Sira. Dawudi teyakimanyaako.
27
Abuneri bwe yakomawo mu Keburoni, Yowabu n'amuzza ku mabbali mu makkati g'omulyango abeere ng'ayogera naye mu kyama, awo we yamufumitira ekiso mu lubuto, n'afa. Yakikola okuwoolera eggwanga olw'omusaayi gwa muganda we Asaweli.
28
Dawudi bwe yakimanyaako oluvannyuma n'agamba nti: “Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango emirembe gyonna mu maaso g'Omukama olw'omusaayi gwa Abuneri, mutabani wa Neri.
29
Omusaayi gwe gubeere ku mutwe gwa Yowabu ne ku nnyumba ya kitaawe yonna. Mu nnyumba ya Yowabu temuggwanga alina kikulukuto ky'amazzi, mugenge, eyesimbaggiriza ku muggo, afa ekitala, n'atalina mmere.”
30
Bwe batyo Yowabu ne Abisayi muganda we bwe batta Abuneri, kubanga yatta Asaweli muganda waabwe mu lutalo lw'e Gibewoni.
31
Dawudi n'agamba Yowabu n'abantu bonna abaali naye nti: “Muyuze ebyambalo byammwe, mwesibe ebikutiya, mukungubage nga mukulembeddemu Abuneri.” Ye kabaka Dawudi yajja avaako emabega w'olunnyo.
32
Ne baziika Abuneri mu Keburoni; Dawudi yakangula eddoboozi n'akungubagira ku malaalo ga Abuneri, n'abantu bonna ne bakaaba.
33
Kabaka yakungubagira Abuneri, n'agamba nti: “Ddala Abuneri yali ateekwa okufa ng'abasiru bwe bafa?
34
Emikono gyo tegyali misibe, n'ebigere byo tebyali biriggye mu nvuba. Wabula wafa ng'omuntu bw'afiira mu mikono gy'ababi.” Abantu bonna ne baddamu okumukaabira.
35
Abantu bonna ne bajja ne basindirira Dawudi alyeyo ku kantu nga bukyali misana, naye Dawudi n'alayira nti: “Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa nkomba ku mmere wadde akantu akalala konna ng'enjuba tennagwa.”
36
Abantu bonna ne bawulira, ne kibasanyusa, anti byonna kabaka bye yakolanga byasanyusanga abantu bonna.
37
Abantu bonna ne Yisirayeli yenna ne bamanya ku olwo nti okuttibwa kwa Abuneri mutabani wa Neri tekwava ku Dawudi.
38
Era kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Temulaba nti omulangira era omuntu omukulu ddala agudde olwa leero mu Yisirayeli?
39
Newandibadde nsiigiddwa mbeere kabaka, naye nkyali munafu; abasajja bano batabani ba Zeruya bakyansinziza wala amaanyi. Omukama aweere akoze akabi ng'agerera ku kabi k'akoze.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24