bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 2
2 Samuel 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Oluvannyuma, Dawudi ne yeebuuza ku Mukama, n'agamba nti: “Nnyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Omukama n'amugamba nti: “Yambuka.” Dawudi n'abuuza nti: “Nnyambuke wa?” N'amwanukula nti: “Mu Keburoni.”
2
Dawudi bw'atyo n'ayambuka wamu ne bakazi be: Akinowamu ow'e Yezureeli ne Abigayili eyali muka Nabali ow'e Karumeli.
3
Dawudi era n'atwala ne basajja be abaali naye, buli omu, n'ennyumba ye, ne basenga mu kibuga Keburoni n'obubuga bwakyo.
4
Abasajja mu Yuda ne bajja eyo, Dawudi ne bamusiiga omuzigo afuge ennyumba ya Yuda. Bwe baabuulira Dawudi nti abantu b'e Yabesi-Gileyaadi be baaziika Sawulo,
5
Dawudi n'atuma ababaka eri abantu b'e Yabesi-Gileyaadi, n'abagamba nti: “Omukama abawe omukisa mmwe abaagirira ekisa kino mukama wammwe Sawulo ne mumuziika.
6
Kale nno nammwe Omukama abagirire ekisa, abayise n'obwesigwa; nange nzija kubayisa bulungi olw'ekyo kye mwakola.
7
Kale nno mugume, mubeere bazira newandibadde nga mukama wammwe Sawulo afudde, kubanga nze ennyumba ya Yuda ensiize mbeere kabaka waabwe.”
8
Naye Abuneri, mutabani wa Neri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali addidde Yisi-Boseti, mutabani wa Sawulo, n'amutwala e Makanayimu,
9
n'amufuula kabaka afuge Gileyaadi, Asuri, Yezureeli, Efurayimu, Benyamiini ne Yisirayeli yenna.
10
Yisi-Boseti, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandikira okufuga Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri; ennyumba ya Yuda yokka ye yali egoberera Dawudi.
11
Ebbanga Dawudi lye yamala mu Keburoni ng'afuga ennyumba ya Yuda, gyali emyaka musanvu n'emyezi mukaaga.
12
Abuneri mutabani wa Neri n'abasajja ba Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu, ne balaga e Gibewoni.
13
Ne Yowabu, mutabani wa Zeruya n'abasajja ba Dawudi ne bajja okubasisinkana ku kidiba ky'e Gibewoni. Eggye erimu ne libeera ku ludda olumu olw'ekidiba, n'eddala ku ludda olulala.
14
Abuneri n'agamba Yowabu nti: “Leka abavubuka balwanagane mu maaso gaffe.” Yowabu n'ayanukula nti: “Basituke.”
15
Ne basituka, ne bajja, nga bawera kkumi na babiri okuva mu Benyamiini ku ludda lwa Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo na kkumi na babiri okuva mu basajja ba Dawudi.
16
Buli omu n'akwata omutwe gwa munne n'afumita ekitala mu lubiriizi lwa munne, ne bagwa maliri wansi; ekifo ekyo kwe kukituuma Kelukati-Kazzurimu; kiri mu Gibewoni.
17
Ku olwo olutalo ne lukaalaama nnyo; abasajja ba Dawudi ne bagoba Abuneri ne basajja ba Yisirayeli.
18
Era waaliyo ne batabani ba Zeruya basatu: Yowabu, Abisayi ne Asaweli; Asaweli yalina emisinde mu bigere okwenkana ennangaazi ey'ettale.
19
Asaweli n'awondera Abuneri nga takyama kudda ku ddyo oba ku kkono ng'agoba Abuneri.
20
Abuneri n'akebuka emabega we, n'agamba nti: “Ye ggwe Asaweli?” N'addamu nti: “Ye nze.”
21
Abuneri n'amugamba nti: “Kyama ku ddyo oba ku kkono, kwata omu ku bavubuka, omwambule ebyokulwanyisa bye.” Naye Asaweli n'atayagala kukyama amuleke.
22
Abuneri n'addamu okugamba Asaweli nti: “Kyama, ndeka. Lwaki nandikufumise n'ogwa ku ttaka? Nnaatunula ntya Yowabu muganda wo mu maaso?”
23
Naye Asaweli n'agaana okukyama. Abuneri n'amufumita omuwunda gw'effumu lye mu lubuto, effumu ne limuyitamu okutuuka mu mugongo n'agwa awo, n'afiirawo. Bonna bwe baatuukanga mu kifo Asaweli we yali agudde n'afa, nga bayimirira.
24
Bo Yowabu ne Abisayi baasigala bawondera Abuneri; enjuba yali egwa, ne bajja ne batuuka ku lusozi Amma, olutunuulidde Giya, mu kkubo eridda mu ddungu ly'e Gibewoni.
25
Ababenyamiini ne bakuŋŋaanira ku Abuneri, ne beekolamu ebibinja, ne balindira ku ntikko y'akasozi.
26
Abuneri n'alaamiriza Yowabu n'agamba nti: “Ekitala kinaakolanga gwa kuwemmenta? Ggwe tolaba nga kino mu luvannyuma kinaavaamu nnyiike? Onookoma ddi ku bantu balekere awo okuwondera baganda baabwe?”
27
Yowabu n'agamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, toba kwogera, abantu tebandireseeyo kuwondera baganda baabwe okutuukira ddala ku makya.”
28
Awo Yowabu n'afuuwa eŋŋombe, eggye lyonna ne liyimirira, ne balekeraawo okuwondera Yisirayeli; tebaayongera na kulwana.
29
Abuneri ne basajja be ne bakutulira mu Araba ekiro ekyo kyonna ne basomoka Yorudani, ne bayita mu Bisuroni mwonna, ne batuuka e Makanayimu.
30
Yowabu n'adda ng'ava okugoba Abuneri; n'addayo, n'akuŋŋaanya abantu be bonna. Ku basajja ba Dawudi, kwabulako abasajja kkumi na mwenda, nga tobaze Asaweli.
31
Abasajja ba Dawudi batta Ababenyamiini abaali ne Abuneri ebikumi bisatu mu nkaaga.
32
Baatwala Asaweli, ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Beteleemu. Yowabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Keburoni nga bukya.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24