bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 14
2 Samuel 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Yowabu, mutabani wa Zeruya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guzzeemu okumulumira Abusalomu.
2
Awo Yowabu n'atuma e Tekowa, n'aggyayo omukazi omugezi, n'amugamba nti: “Weefaananye ng'ali mu kukungubaga; teekako ebyambalo by'okukungubaga; teweesiiga muzigo, ofaanane ng'omukazi amaze ebbanga eggwanvu ennyo ng'okaabira eyakufaako.
3
Olwo genda ewa kabaka omugambe ebigambo bino.” Awo Yowabu n'amubuulira eby'okwogera.
4
Omukazi w'omu Tekowa bwe yayingira ewa kabaka, n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnama, n'agamba nti: “Mponya, ayi kabaka.”
5
Kabaka n'amugamba nti: “Ogubadde?” Ye n'ayanukula nti: “Ndi nnamwandu; baze yafa.
6
Omuzaana wo yalina abaana babiri abaweereza; baayombera eyo ku ttale nga tewali muntu kubatawulula; omu n'akuba munne n'amutta.
7
Ate wuuno kati ab'oluganda bonna balumbye omuzaana wo, bagamba nti: ‘Mutuwe oyo eyatta muganda we tumutte olw'okubeera obulamu bwa muganda we gwe yatta, olwo tusangulirewo ddala n'omusika.’ Baagala okuzikiza eryanda lyange erimu liti lye nsigazizza, baze aleme kusigaza linnya ku nsi na zzadde.”
8
Kabaka n'agamba omukazi nti: “Weddireyo eka, nzija kubaako kye ndagira ku bikukwatako.”
9
Omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti: “Ayi Mukama wange kabaka, leka omusango gubeere ku nze ne ku nnyumba ya kitange; ye kabaka ne nnamulondo ye tebaliiko musango.”
10
Kabaka n'agamba nti: “Singa wabaawo akugambako ekigambo kyonna, mundeetere; tagenda kuddayo kukutawaanya.”
11
N'addamu nti: “Kabaka awanjagire Omukama Katonda we, awoolera eggwanga olw'omusaayi aleme kukola kabi, baleme kuzikiriza mutabani wange.” N'addamu nti: “Mazima Omukama nga mulamu, mpaawo luviiri lunaava ku mutwe gwa mwana wo ne lugwa ku ttaka.”
12
Awo omukazi n'agamba nti: “Omuzaana wo leka abeeko ky'agamba mukama wange kabaka.” N'agamba nti: “Yogera.”
13
Omukazi n'agamba nti: “Lwaki abantu ba Katonda obakoledde ekifaanana kityo? Okulaba nga kabaka yaayogera ekigambo ekyo, ali ng'eyeesalira yennyini omusango, kubanga kabaka yagaana okuzza owuwe eyagobebwa.
14
Ffenna tufa, tuli nga mazzi, bwe gayiika ku ttaka nga tegakyaseneddwawo. Katonda taggyawo bulamu; asala gonna oyo abeera agobeddwa aleme kusigala ng'agobeddwa w'ali.
15
Kale nno kyenvudde nzija njogere ewa kabaka mukama wange ekigambo kino, kubanga abantu bantiisizza. Omuzaana wo n'agamba nti: ‘Nzija kwogera ewa kabaka, oboolyawo kabaka anaakola muzaana we ky'agambye.
16
Oboolyawo kabaka ajja kuwulira, awonye omuzaana we mu mikono gy'oli ayagala okumalawo nze ne mutabani wange mu busika Katonda bwe yatuwa.’
17
Muzaana wo kyavudde agamba nti: ‘Ekigambo kya Mukama wange kabaka kindeetere okuweerako, anti omukama kabaka wange abeera nga malayika wa Katonda, mu kulamula ekirungi n'ekibi.’ Omukama Katonda wo abeere naawe.”
18
Kabaka n'ayanukula n'agamba omukazi nti: “Tonkisa kigambo ku bye ŋŋenda okukubuuza.” Omukazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka ayogere.”
19
Kabaka n'amubuuza nti: “Yowabu tali naawe mu bintu bino byonna?” Omukazi n'ayanukula, n'agamba nti: “Mazima ggwe ng'oli mulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza kuwunjuka kudda ku ddyo oba ku kkono n'ava ku mukama wange kabaka ky'aba agambye. Kituufu yabadde Yowabu eyandagidde okukola kino; yennyini ye yaŋŋambye njogere ebigambo bino byonna.
20
Omuweereza wo Yowabu ye yakikoze, alongoose embeera nga bw'eri. Ggwe nno, mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda; kyova otegeera byonna ebikolebwa ku nsi.”
21
Kabaka n'agamba Yowabu nti: “Kale nzija kukikola. Genda oyite omuvubuka Abusalomu.”
22
Yowabu n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnama, n'asabira kabaka omukisa. Yowabu n'agamba nti: “Olwa leero omuweereza wo ategedde nti asanze ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga okoze omuweereza wo ky'asabye.”
23
Yowabu n'asituka n'agenda mu Gessuru, n'aleeta Abusalomu mu Yeruzaalemu.
24
Naye kabaka n'agamba nti: “Addeyo mu nnyumba ye, saagala ansisinkane.” Abusalomu n'addayo mu nnyumba ye; teyasisinkana kabaka.
25
Mu Yisirayeli mwonna temwali musajja atendebwa nnyo bulungi nga Abusalomu; okuva ku mutwe okutuuka ku bigere nga taliiko kamogo na kamu.
26
Bwe yamwanga enviiri ze, ng'azipima. Anti yateranga okumwa enviiri ze buli mwaka kubanga zamuzitowereranga. Zaazitowanga sekeli ebikumi bibiri, mu sekeli za kabaka.
27
Abusalomu yazaalirwa abalenzi basatu n'omuwala omu, erinnya lye Tamari; yali muwala mulungi mu ndabika.
28
Abusalomu yabeera mu Yeruzaalemu emyaka ebiri nga tasisinkananga kabaka.
29
N'atuma ewa Yowabu ajje amutume ewa kabaka, naye Yowabu teyajja. N'atumayo omulundi omulala, era n'agaana okujja.
30
Kwe kugamba abaweereza be nti: “Mulabe, ennimiro ya Yowabu eriraanye eyange, mulimu sayiri. Mugende mugiteekere omuliro.” Abaweereza ba Abusalomu ne bateekera ennimiro omuliro.
31
Yowabu n'asituka, n'ajja ewa Abusalomu mu nnyumba ye, n'abuuza nti: “Lwaki abaweereza bo baateekedde ennimiro yange omuliro?”
32
Abusalomu n'ayanukula Yowabu nti: “Laba, nakutumira, ne nsaba nti jjangu nkutume ewa kabaka omumbuulize nti: ‘Naviira ki e Gessuru? Kyandisinzeeko singa nasigalirayo ddala’. Kale nno nsaba nsisinkane kabaka. Oba ndiko ekibi ekinvunaanibwa, anzite.”
33
Yowabu n'agenda ewa kabaka n'amubuulira. Kabaka n'atumya Abusalomu, n'ajja ewa kabaka, n'agwa ku ttaka mu maaso ge nga yeevuunise ku maaso ge, n'avunnama. Kabaka n'anywegera Abusalomu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24