bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 5
2 Samuel 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Ebika byonna ebya Yisirayeli ne bijja ewa Dawudi mu Keburoni ne bagamba nti: “Tuutuno tuli ba magumba go na ba nnyama yo.
2
Mu kusooka, Sawulo bwe yali akyali kabaka waffe, ggwe wali omukulembeze wa Yisirayeli mu ntabaalo zaabwe. Omukama n'akugamba nti: ‘Ggwe onoolunda abantu bange Yisirayeli, ggwe onooba omukulembeze wa Yisirayeli.’ ”
3
Abakadde ba Yisirayeli bwe bajja ewa kabaka Dawudi mu Keburoni, kabaka n'akola nabo endagaano mu maaso g'Omukama, ne bamusiiga omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli.
4
Dawudi we yatandikira okufuga ng'alina emyaka amakumi asatu; yafugira emyaka amakumi ana.
5
Mu Keburoni yabeera kabaka wa Yuda okumala emyaka musanvu n'emyezi mukaaga; mu Yeruzaalemu yalimu nga kabaka wa Yisirayeli ne Yuda okumala emyaka amakumi asatu mu esatu.
6
Kabaka n'agenda ne basajja be e Yeruzaalemu okulumba Abayebusi abaabeeranga mu nsi eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira wano; ggwe bamuzibe n'abalema bayinza n'okukugoba.” Nga bategeeza nti: “Dawudi taayingire wano.”
7
Naye Dawudi n'awamba ekigo kya Siyoni, kye Kibuga kya Dawudi.
8
Ku olwo Dawudi yagamba nti: “Buli yenna anatta Omuyebusi, alina kuyita mu mukutu gw'amazzi, atuuke abalema abo n'abazibe b'amaaso, abo omutima gwa Dawudi be gwakyawa.” Olugero kyeruva lugamba nti: “Muzibe n'omulema tebaliyingira mu lubiri.”
9
Dawudi ekisulo kye n'akissa mu kigo, n'akiyita Kibuga kya Dawudi; n'azimba okukyetooloola, okuva ku Millo n'okudda munda.
10
Dawudi n'agenda nga yeeyongera amaanyi, n'Omukama Katonda w'Amagye ng'ali naye.
11
Kiramu kabaka w'e Tiiro n'atuma ababaka ewa Dawudi ng'aweerezza emiti gy'entolookyo, n'ababazzi, n'abakomozi b'amayinja g'ebisenge, ne bazimba olubiri lwa Dawudi.
12
Dawudi n'ategeera ng'Omukama amukakasizza ku bwakabaka bwa Yisirayeli, era ng'atutumudde obwakabaka bwe ku lw'abantu be Yisirayeli.
13
Dawudi bwe yamala okuva mu Keburoni n'awasaayo abasebeyi n'abakazi abalala mu Yeruzaalemu. Dawudi yazaalirwa abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14
Gano ge mannya g'abo abaamuzaalirwa e Yeruzaalemu: Sammuwa, Sobabu, Natani ne Solomoni;
15
Yibukari, Elisuwa, Nefegi, Yafiya,
16
Elisama, Eliyada ne Elifeleti.
17
Abafilisitiini bwe baawulira nti Dawudi bamusiize abeere kabaka wa Yisirayeli yenna, ne bambuka bonna bamunoonye. Dawudi bwe yawulira, n'aserengeta mu kigo.
18
Abafilisitiini bwe bajja, ne batalaaga mu kiwonvu ky'e Refayimu.
19
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Nnyambuke eri Abafilisitiini? Onoobampa mu mikono gyange?” Omukama n'agamba nti: “Yambuka, kubanga kwo okuwa nzija kukuwa Abafilisitiini mu mikono gyo.”
20
Dawudi n'ajja mu Baali-Perazimu n'abakubira eyo, n'agamba nti: “Ng'amazzi bwe gawaguza, n'Omukama bw'awaguzza mu balabe bange mu maaso gange.” Ekifo ekyo kwe kuyitibwa Baali-Perazimu.
21
Abafilisitiini baalekayo ebifaananyi bya balubaale baabwe, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
22
Abafilisitiini era ne baddamu okwambuka, ne batalaaga wonna mu kiwonvu ky'e Refayimu.
23
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama, ye n'amwanukula nti: “Toyambuka, wabula beetooloole ng'obava emabega waabwe obalumbire mu maaso g'emiti gya balusaamu.
24
Bw'onoowulira ebigere waggulu mu miti gya balusaamu, awo ng'ositukiramu, kubanga oyo ajja kubeera Mukama ng'akukulembeddemu okukuba olusiisira lw'Abafilisitiini.”
25
Dawudi n'akola ng'Omukama bwe yali amulagidde, n'akuba Abafilisitiini okubaggya e Gibewoni okutuuka e Gezeri.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24