bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 20
2 Samuel 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Waaliyo nno omusajja empongabyoya, erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuri Omubenyamiini. Yafuuwa eŋŋombe, n'agamba nti: “Ffe Dawudi tetumulinaamu mugabo; tetulina busika mu mutabani wa Yesse. Buli muntu adde mu weema ye, Yisirayeli.”
2
Awo abantu bonna aba Yisirayeli ne baawukana ne Dawudi, ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuri; bo abantu ba Yuda ne basigala ku kabaka waabwe; ne bajja naye okuva ku Yorudani okutuuka e Yeruzaalemu.
3
Kabaka bwe yatuuka mu lubiri lwe mu Yeruzaalemu, n'atwala basebeyi be ekkumi be yali alese okukuuma olubiri n'abassa mu nnyumba nga kuliko abakuumi. Yabalabiriranga naye nga tagenda gye bali. Baatuusa okufa ng'abaawuddeko, abakuumira eyo ebbali nga bannamwandu.
4
Kabaka n'agamba Amasa nti: “Kunga basajja ba Yuda bonna bajje wano mu nnaku ssatu, naawe obeerangawo.”
5
Amasa n'agenda okukunga Yuda naye yayisaamu mu budde obwamupimirwa.
6
Dawudi n'agamba Abisayi nti: “Ono Seba mutabani wa Bikuri ayinza okutukola obubi okusinga ne Abusalomu. Ddira abaweereza ba mukama wo, omuwondere, sikulwa ng'agguka mu bibuga ebiriko ebigo n'atudduka.”
7
Abasajja ba Yowabu, Abakereti, Abapeleti, n'abasajja abazira bonna, ne bava mu Yeruzaalemu okuwondera Seba mutabani wa Bikuri.
8
Baali bali kumpi n'ejjinja eddene eriri mu Gibewoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'olutalo okwali ekimyu mu kiwato kye, nga ku kyo kusibiddwako ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yasembera ekitala ne kisowokayo mu kiraato.
9
Yowabu n'alamusa Amasa nti: “Mirembe, muganda wange.” N'akwata akalevu ka Amasa n'omukono ogwa ddyo ng'agenda okumunywegera.
10
Amasa yali teyekengedde kitala kyali mu mukono gwa Yowabu; Yowabu n'akimusogga mu lubuto, ebyenda ne biyiika ku ttaka; teyamufumita gwa kubiri, n'afa. Yowabu ne Abisayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuri.
11
Omu ku baweereza ba Yowabu n'ayimirira kumpi n'omulambo gwa Amasa, n'agamba nti: “Awagira Yowabu n'awagira Dawudi agoberere Yowabu.”
12
Ye Amasa yali aboyaanira mu musaayi gwe mu kkubo wakati. Omusajja n'alaba nga buli muntu eyatuukanga awali Amasa ayimirira. Kwe kumukululawo mu kkubo, n'amussa ebbali ku nsiko, n'amusuulako olugoye, anti ng'alaba nga buli eyamutuukangako ng'ayimirira.
13
Bwe bamuggya mu kkubo, abantu bonna ne bayitawo buyisi, ne bagoberera Yowabu bagende bawondere Seba mutabani wa Bikuri.
14
Seba yasomoka, n'ayita mu bika byonna ebya Yisirayeli okutuuka mu Abeli-Beti-Maaka, ne mu Baberi bonna. Bonna ne bakuŋŋaana ne bamugoberera.
15
Abasajja ba Yowabu bajja ne bazingiza Seba mu Abeli-Beti-Maaka. Ekibuga ne bakituumako embibiro okwetooloola bbuggwe waakyo. Abantu bonna abaali ne Yowabu ne batandika okukoona bamenye bbuggwe.
16
Omukazi omugezi n'ayima mu kibuga n'aleekaana nti: “Muwulire, muwulire! Mugambe Yowabu nti: ‘Sembera wano njogere naawe.’ ”
17
N'asembera gy'ali, n'amugamba nti: “Ggwe Yowabu?” N'ayanukula nti: “Ye nze.” Omukazi n'agamba nti: “Wulira omuzaana wo ky'agamba.” Ye n'ayanukula nti: “Mpulira.”
18
Omukazi n'agamba nti: “Edda baageranga nti: ‘Oba beebuuza, beebuuze mu Abeli,’ olwo ensonga ne ziggwa.
19
Nze omu ku abo ab'eddembe era abeesigwa mu Yisirayeli; oyagala kuzikiriza ekibuga nnakazadde mu Yisirayeli. Lwaki oyagala okumira obusika bw'Omukama?”
20
Yowabu n'ayanukula n'agamba nti: “Kikafuuwe, kikafuuwe nze okumira oba okuzikiriza.
21
Si bwe guli; wabula omusajja ayitibwa Seba avudde mu nsozi za Efurayimu, mutabani wa Bikuri asitudde omukono gwe okulwanyisa Dawudi. Oyo gwe muba mumpa ekibuga nkireke.” Omukazi n'agamba Yowabu nti: “Omutwe gwe tujja kuguyisa ku kigo waggulu tugukukasukire.”
22
Omukazi n'agenda eri abantu bonna n'ayogera nabo n'amagezi ge. Ne batemako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuri ne bagukasukira Yowabu. Ye n'afuuwa eŋŋombe, ne bava ku kibuga, buli omu n'akwata eridda mu weema ye; Yowabu n'adda e Yeruzaalemu ewa kabaka.
23
Yowabu ye yali aduumira eggye lyonna erya Yisirayeli; Benaaya mutabani wa Yoyada nga y'ali ku Bakereti n'Abapeleti.
24
Ye Adoramu nga y'akulira akasanvu; Yosafati mutabani wa Akiludi nga y'akuuma ebyafaayo,
25
Seva nga muwandiisi, Zadoki ne Abiyatari nga bakabona;
26
ate Yira Omuyayiri nga kabona wa Dawudi.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24