bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 9
2 Samuel 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Dawudi n'agamba nti: “Wakyaliwo ow'ennyumba ya Sawulo asigaddewo mmugirire ekisa olw'okubeera Yonatani?”
2
Awo waaliwo omuweereza mu nnyumba ya Sawulo, erinnya lye Ziba. Ne bamutumya ajje ewa kabaka; Dawudi n'amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” Ye n'ayanukula nti: “Ye nze, omuweereza wo.”
3
Kabaka n'amubuuza nti: “Wakyasigaddewo omulala ow'ennyumba ya Sawulo gwe nsobola okugirira ekisa kya Katonda?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonatani; mulema amagulu gombi.”
4
N'agamba nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammyeli mu Lo-Debari.”
5
Kabaka Dawudi n'amutumyayo mu nnyumba ya Makiri, mutabani wa Ammyeli mu Lo-Debari.
6
Mefiboseti mutabani wa Yonatani, mutabani wa Sawulo, bwe yajja ewa Dawudi, n'agwa wansi ku maaso ge, n'amuvunnamira. Dawudi n'agamba nti: “Mefiboseti.” N'addamu nti: “Nzuuno omuweereza wo.”
7
Dawudi n'amugamba nti: “Leka kutya, kubanga nkukakasa nti nzija kukugirira ekisa olw'okubeera Yonatani kitaawo; nzija kukuddiza ennimiro zonna ezaali eza Sawulo jjajjaawo, era ojja kuliiranga ku mmeeza yange bulijjo.”
8
Mefiboseti n'avunnama, n'agamba nti: “Nze ani omuweereza wo, ggwe okussa omwoyo ku nze embwa enfu nga nze!”
9
Kabaka n'ayita Ziba omuweereza wa Sawulo, n'amugamba nti: “Byonna ebyali ebya Sawulo n'ennyumba ye yonna, mbiwadde muzzukulu wa mukama wo.
10
Kale nno ggwe n'abaana bo n'abaweereza bo mumulimire ennimiro ze, muleetenga amakungula, muzzukulu wa mukama wo afune emmere; ye Mefiboseti muzzukulu wa mukama wo ajja kulyanga ku mmeeza yange bulijjo.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano n'abaweereza amakumi abiri.
11
Ziba n'agamba kabaka nti: “Omuweereza wo ajja kutuukiriza byonna Mukama wange kabaka by'alagidde omuweereza we okukola.” Mefiboseti yaliiranga ku mmeeza ya kabaka, ng'omu ku batabani ba kabaka.
12
Mefiboseti yalina mutabani we omuto, erinnya lye Mika; bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba baaweerezanga Mefiboseti.
13
Ye Mefiboseti yasulanga mu Yeruzaalemu, kubanga bulijjo yaliiranga ku mmeeza ya kabaka; ate yali mulema amagulu gombi.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24