bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 13
2 Samuel 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Oluvannyuma, olwatuuka, Amunoni mutabani wa Dawudi n'ayagala mwannyina wa Abusalomu mutabani wa Dawudi, ayitibwa Tamari; yali muwala mubalagavu.
2
Amunoni ne kimuluma, n'alwala n'okulwala olw'okwagala Tamari mwannyina, kubanga yali mbeerera nga tasobola kumukola kantu.
3
Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simewa, muganda wa Dawudi; yali musajja mukalabakalaba nnyo.
4
N'amugamba nti: “Mutabani wa kabaka, lwaki okogga engeri eyo buli lukya? Lwaki tombuulirako?” Amunoni n'amugamba nti: “Tamari, mwannyina Abusalomu muganda wange mmwagala.”
5
Yonadabu n'amwanukula nti: “Weebake ku kitanda kyo, obeere ng'omulwadde. Kitaawo bw'anajja okukulaba, omugambe nti: ‘Nkwegayiridde, njagala mwannyinaze Tamari ajje ampeereze emmere ndyeko; njagala agintegekere wano nga bwe mmutunuulira, mmulyeko mu ngalo.’ ”
6
Amunoni ne yeebaka, ne yeefaananya ng'omulwadde. Kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, njagala mwannyinaze Tamari ajje, anfumbire wano mu maaso gange obugaati nga bubiri, mmulyeko mu ngalo.”
7
Dawudi n'atuma ewa Tamari mu lubiri, n'agamba nti: “Genda mu nnyumba ya mwannyoko Amunoni omufumbireyo ku mmere.”
8
Tamari n'ajja mu nnyumba ya Amunoni mwannyina; yali yeebase mu buliri. N'addira obutta n'abugoya, n'abukulungamu obugaati, n'afumba obugaati awo mu maaso ge.
9
N'akwata olusaniya, n'abumussa mu maaso; naye Amunoni n'agaana okulya. N'agamba nti: “Bonna mubafulumye okuva we ndi.” Bonna ne bafuluma okuva w'ali,
10
Awo Amunoni n'agamba Tamari nti: “Emmere giyingize mu kisenge, nkulyeko mu ngalo.” Tamari n'akwata obugaati bwe yali akoze, n'abuleeta mu kisenge eri Amunoni mwannyina.
11
Bwe yabumuleetera alye, n'amubaka, n'agamba nti: “Jjangu, weebake nange, mwannyinaze.”
12
Ye n'amwanukula nti: “Togeza mwannyinaze, togeza okunkaka. Ekintu nga kino tekikolebwa mu Yisirayeli; tokola eky'obugwagwa ekyo.
13
Nze nnadda wa okweggyako obuswavu obwenkana awo. Naawe ojja kubalibwa ng'omu ku basiru abagwagwa mu Yisirayeli. Nkwegayiridde gamba kabaka; tajja kukuŋŋaana.”
14
Naye Amunoni teyamuwuliriza; engeri gye yali amusinza maanyi, n'amukaka, ne yeebaka naye.
15
Amunoni n'amukyawa nnyo ne ssekukyawa yenna; mu mazima okukyawa kwe yamukyawamu nga kusingira wala okwagala kwe yali amwagaddemu. Amunoni n'amugamba nti: “Situka, genda.”
16
Ye n'amwanukula nti: “Nedda; eky'okungoba kino kibi nnyo n'okusinga ky'ova okunkola.” Amunoni n'agaana okumuwuliriza.
17
N'ayita omuweereza eyamulabiriranga, n'agamba nti: “Omukazi ono mufulumye, omuggalire ebweru, oluggi olusibe.”
18
Yali ayambadde ekyambalo kiwanvu eky'amajjolobera; bwe gityo eminagiro abambejja ba kabaka embeerera gye baayambalanga. Omuweereza w'oli n'amufulumya, n'aggalawo, n'asiba oluggi.
19
Tamari ne yeeyiwa enfuufu mu mutwe, ekiteeteeyi ekiwanvu eky'amajjolobera n'akiyuza, emikono n'agissa ku mutwe, n'agenda ng'atambula nga bw'atema emiranga.
20
Mwannyina Abusalomu n'amugamba nti: “Mwannyoko Amunoni abadde naawe? Naye nno kati mwannyinaze, weesirikire; ye mwannyoko; ekintu ekyo tokissaako mutima.” Tamari n'abeera yekka eyo mu nnyumba ya Abusalomu mwannyina nga yesunsulise.
21
Kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo, naye n'atayagala kunakuwaza mutabani we, kubanga yali amwagala, anti nga ye mwana we omuggulanda.
22
Ye Abusalomu n'asiriikirira Amunoni, nga tayogera naye kigambo, kibeere kirungi oba kibi; anti Abusalomu yali akyaye Amunoni olw'okwonoona mwannyina Tamari.
23
Olwatuuka, nga wayise emyaka ebiri, abamwako endiga za Abusalomu ebyoya ne bajja e Baali-Kazori ekiri okumpi ne Efurayimu. Abusalomu n'ayita batabani ba kabaka bonna.
24
N'ajja ewa kabaka n'amugamba nti: “Abamwako endiga ebyoya z'omuweereza wo batuuse. Nkwegayiridde, kabaka ajje n'abakungu be ew'omuweereza we.”
25
Kabaka n'agamba Abusalomu nti: “Togeza, mwana wange, togeza kugamba ffenna tujje, kiyinza okukukaluubiriza.” Newandibadde Abusalomu yamwekubako nnyo, naye ye yagaana okugenda; wabula yamuwa omukisa.
26
Abusalomu n'agamba nti: “Kale oba ggwe toyagala kujja, nkwegayiridde, kiryose Amunoni muganda wange mukkirize ajje naffe.” Kabaka n'amugamba nti: “Lwaki agenda naawe?”
27
Abusalomu n'amwekubako, n'amuwaliriza okumuteera Amunoni ne batabani ba kabaka bonna. Abusalomu n'akola embaga, nga gy'obeera nti ya kabaka.
28
Abusalomu n'alagira basajja be nti: “Mwekkaanye Amunoni; omutima gwe bwe gunaaba gucamuse olw'evviini, mmala mbagamba nti: ‘Mukube Amunoni,’ mumutte; temutya, anti nze mbalagidde. Mugume, mubeere bazira.”
29
Abasajja ba Abusalomu ne bakola Amunoni nga Abusalomu bwe yali abalagidde. Batabani ba kabaka ne basituka, buli omu ne yeebagala ennyumbu ye, ne badduka.
30
Baba bakyagenda, amawulire ne gatuuka Dawudi nti: “Abusalomu asse batabani ba kabaka bonna, tewasigadde n'omu.”
31
Kabaka n'asituka, n'ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka ku ttaka; n'abaweereza be bonna ne bayimirira awo ebyambalo byabwe nga biyuzeeyuze.
32
Yonadabu mutabani wa Simewa, muganda wa Dawudi, n'agamba nti: “Mukama wange aleme kutya nti abavubuka, batabani ba kabaka, bonna battiddwa; Amunoni yekka y'afudde, kubanga okuva lwe yayonoona Tamari mwannyina, ekyo kibadde tekiva ku mumwa gwa Abusalomu.
33
Kale nno, mukama wange kabaka aleme kweraliikirira olw'ebigambibwa nti: ‘Batabani ba kabaka bonna battiddwa,’ kubanga Amunoni yekka y'afudde.”
34
Ye Abusalomu mu kadde ako yali adduse. Omusajja omukuumi bwe yasitula amaaso, n'alaba abantu bangi ebugwanjuba; baali bajja nga bakkirira akasozi. Omukuumi n'ajja n'abuulira kabaka nti: “Ndabye abantu mu kkubo ly'e Oronayimu ku kasozi.”
35
Yonadabu n'agamba kabaka nti: “Laba, abo batabani ba kabaka be bajja; beebo ng'omuweereza wo bwe yagambye.”
36
Olwali okwogera, batabani ba kabaka ne batuuka, ne batema emiranga, ne bakaaba, ne kabaka n'abaweereza be bonna ne bakaaba nnyo nnyo.
37
Abusalomu n'adduka n'alaga ewa Talumayi mutabani wa Ammiwudi kabaka w'e Gessuru. Dawudi n'asigala ng'akaabira omwana we ennaku zonna.
38
Abusalomu bwe yadduka, n'ajja mu Gessuru, yamalayo emyaka esatu.
39
Naye kabaka ng'amaze okukubagizibwa olw'okufa kwa Amunoni, omutima gwe ne gutandika okumulumira Abusalomu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24