bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 23
2 Samuel 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
1
Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo: “Ebigambo bya Dawudi mutabani wa Yesse, obubaka bw'omusajja eyasukkulumizibwa waggulu, omusiige wa Katonda wa Yakobo, omuyimbi wa Yisirayeli ow'ennyimba.
2
“Mwoyo w'Omukama yayogerera mu nze, n'ebigambo bye byandi ku lulimi.
3
Katonda wa Yisirayeli yayogera, Olwazi lwa Yisirayeli yaŋŋamba: ‘Afuga abantu mu butuukirivu, afuga ng'atya Katonda,
4
ali ng'ekitangaala kya mmambya ng'asala ng'eggulu tekuli bire, ng'ekitangaala ekijja ng'enkuba ekedde, ekimerusa omuddo mu ttaka.’
5
“Ennyumba yange tenyweredde ku Katonda? Yakola nange endagaano ey'olubeerera, nnuŋŋamu mu byonna, nnywevu. Taliwa obulokofu bwange bwonna na buli kye neegomba okubala?
6
Naye ababi balikanyugibwa eri ng'amaggwa, agatayoolwawo na ngalo.
7
Ayagadde okugakwatako, yeeyamba kyuma oba lunyago; we gali, we gookerwa.”
8
Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abazira: Yosebu-Bassebeti Omutakukemoni; ye yali omukulu w'Abasatu. Effumu lye yaligalulira abantu lunaana, n'abatta mu lulwana lumu.
9
Amuddirira ye Eleyazari, mutabani wa Dodo Omwakoki. Ali mu bazira Asatu abaali ne Dawudi e Pasi-Dammimu Abafilisitiini lwe baakuŋŋaanirayo okubatabaala bo abasajja ba Yisirayeli ne badduka.
10
Naye ye yagumirawo, n'atta Abafilisitiini okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa, ne gukakanyalira ku kitala; Omukama ku olwo yawa obuwanguzi obw'amaanyi; abantu ne badda ewa Eleyazari, naye nga lwa kwenyagira bintu.
11
Amuddirira ye Samma, mutabani wa Age Omwarari. Abafilisitiini baakuŋŋaana mu Leki mu kifo awaali ennimiro ejjudde empokya. Amagye ga Yisirayeli ne gadduka Abafilisitiini,
12
naye Samma n'agumira mu nnimiro wakati, n'agitaasa, n'akuba Abafilisitiini. Omukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi.
13
Mu budde obw'amakungula basatu mu kibinja ky'Asatu baaserengeta ewa Dawudi mu mpuku y'e Adullamu; Abafilisitiini nga bo basiisidde mu kiwonvu ky'e Refayimu.
14
Olwo Dawudi yali mu bwekwekero; yo enkambi y'Abafilisitiini yali Beteleemu.
15
Dawudi n'ayagala okunywa amazzi, n'agamba nti: “Singa waliwo andeetera ku mazzi ag'omu kidiba ekiri okumpi n'omulyango gw'e Beteleemu.”
16
Abasajja abazira basatu ne bawaguza mu lusiisira lw'Abafilisitiini, ne basena amazzi mu kidiba ky'e Beteleemu ekyali okumpi n'omulyango, ne bagaleetera Dawudi. Naye n'agaana okuganywa, wabula n'agayiwa awo mu maaso g'Omukama,
17
ng'agamba nti: “Kikafuuwe, Mukama, nze okukola kino; nze nnywe omusaayi gw'abantu bano abaatunze obulamu bwabwe?” Bw'atyo n'atayagala kunywa. Abazira abasatu ebyo bye baakola.
18
Abisayi, muganda wa Yowabu mutabani wa Zeruya, ye yali omukulu w'Abasatu. Yagalulira effumu lye abasajja ebikumi bisatu n'abatta, ne yeekolera erinnya mu Asatu.
19
Teyassibwamu ekitiibwa okusinga n'Abasatu? Yafuuka mukulu waabwe, naye teyatuuka bali Abasatu.
20
Ne Benaaya mutabani wa Yoyada yali musajja muzira eyakola ebingi; yali ava Kabuzeeli. Oyo yatta abasajja abazira babiri ab'e Mowabu. Era ku lunaku olw'omuzira yakkirira mu bunnya bw'oluzzi n'atta empologoma.
21
Era yatta omusajja Omumisiri omuwagguufu; omusajja yalina effumu mu mukono, naye yaserengeta gy'ali n'omuggo. Effumu n'alisika ku Mumisiri ate n'amussisa effumu lye lyennyini.
22
Benaaya, mutabani wa Yoyada, ebyo bye yakola; naye abalirwa mu Basatu abazira.
23
Yassibwamu ekitiibwa okusinga Asatu, naye era teyatuuka bali Abasatu. Dawudi yamufuula mutwe gwa bakuumi be.
24
Asa-Eli muganda wa Yowabu yali mu Makumi Asatu. Elukanani mutabani wa Dodo ow'e Beteleemu;
25
Samma ow'e Karodi; Elika ow'e Karodi;
26
Kelezi ow'e Paluti; Yira mutabani wa Yikkesi, ow'e Tekowa;
27
Abiyezeri ow'e Anatoti; Mebunnayi Omukusati;
28
Zalumoni Omwakoki; Mawarayi owe Netofa;
29
Kelebu mutabani wa Baana, ow'e Netofa; Yittayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibewa eky'Ababenyamiini;
30
Benaaya ow'e Piratoni; Yiddayi ow'e Nakale-Gaasi;
31
Abi-Aluboni ow'e Beti-Aruba; Azumaveti ow'e Bakurimu;
32
Eliyakuba ow'e Saaluboni; batabani ba Yaseni; Yonatani
33
Samma Omwarari; Akiyamu mutabani wa Sarari Omwarari;
34
Elifeleti mutabani wa Akasubayi, ow'e Beti-Maaka; Eliyamu mutabani wa Akitofeli Omugilo;
35
Kezuro ow'e Karumeli; Paarayi Omwaruba;
36
Yigali mutabani wa Natani, ow'e Zoba; mutabani wa Agadi;
37
Zeleki Omwammoni; Nakarayi Omubeeroti, omwetissi w'ebyokulwanyisa bya Yowabu mutabani wa Zeruya;
38
Yira Omuyituri; Garebu Omuyituri;
39
Wuriya Omukitti. Bonna wamu, makumi asatu mu musanvu.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24