bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 11
2 Samuel 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Ku ntandikwa y'omwaka, obudde bakabaka mwe batera okugendera mu ntalo, Dawudi yasindika Yowabu, abasajja be ne Yisirayeli yenna. Ne bafufuggaza Abammoni, ne bazinda Rabba. Naye Dawudi yasigala mu Yeruzaalemu.
2
Olumu akawungeezi, Dawudi yasituka ku kitanda kye, n'atambulatambula ku bbalaza waggulu ku nnyumba ye. Bwe yali ku bbalaza waggulu n'alengera omukazi anaaba; omukazi yali mulungi nnyo mu ndabika.
3
Kabaka n'atuma omuntu amuzuulire omukazi oyo ye ani. N'amugamba nti: “Oyo si Batuseba muwala wa Eliyamu, mukazi wa Wuriya Omukitti?”
4
Dawudi n'atuma ababaka ne bamuleeta; omukazi n'ajja gy'ali, Dawudi ne yeebaka naye. Omukazi nno yali yaakamala okwetukuza oluvannyuma lw'obutaba mulongoofu. N'addayo ewaabwe.
5
Omukazi n'afuna olubuto; n'atuma ewa Dawudi, n'amugamba nti: “Nfunye olubuto.”
6
Dawudi n'atuma ewa Yowabu ng'amusaba nti: “Nsindikira Wuriya Omukitti.” Yowabu n'asindika Wuriya ewa Dawudi,
7
Wuriya bwe yajja ewa Dawudi, Dawudi n'abuuza ku Yowabu n'eggye nga bwe bali, n'olutalo nga bwe lugenda.
8
Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Wuriya n'afuluma mu lubiri lwa kabaka; ne bamugobereza akalabo akaava ewa kabaka.
9
Naye Wuriya yeebaka awo ku wankaaki w'olubiri lwa kabaka wamu n'abaweereza abalala aba mukama we; teyaserengeta mu nnyumba ye.
10
Dawudi ne bamubuulira nti: “Wuriya teyagenze mu nnyumba ye.” Dawudi n'abuuza Wuriya nti: “Tewavudde mu lugendo? Lwaki tewaserengese mu nnyumba yo?”
11
Wuriya n'agamba Dawudi nti: “Ssanduuku, Yisirayeli ne Yuda basula mu nsiisira, ne mukama wange Yowabu n'abaweereza ba mukama wange bali bweru ku ttale, nze ŋŋende mu nnyumba yange, ndye, nnywe, neebake ne mukazi wange? Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukola kintu ekyo.”
12
Awo Dawudi kwe kugamba Wuriya nti: “Sigala wano n'olwa leero; enkya nzija kukusiibula oddeyo.” Wuriya n'asigala mu Yeruzaalemu ku olwo n'olwaddirira.
13
Dawudi n'amuyita ewuwe, n'alya n'anywa naye, n'amutamiiza. Wuriya bwe yafuluma akawungeezi, yeebaka ku kiwempe kye wamu n'abaweereza ba mukama we; mu nnyumba ye teyaserengetayo.
14
Bwe bwakya, Dawudi n'awandiikira Yowabu ebbaluwa, n'agimuweereza ng'agikwasizza Wuriya.
15
Mu bbaluwa yawandiikamu nti: “Wuriya mumuteeke mu maaso awali okulwana okwa maanyi, ate mwesege mumuleke yekka bamukube afe.”
16
Yowabu bwe yali azinze ekibuga, n'assa Wuriya mu kifo we yali amanyi nti waliwo abasajja ab'amaanyi.
17
Abasajja b'ekibuga bwe baafuluma okulwanyisa Yowabu, abamu ne battibwa okuva mu ggye ne mu baweereza ba Dawudi; Wuriya Omukitti naye n'afa.
18
Yowabu n'atuma, n'abuulira Dawudi byonna ebifudde mu lutalo.
19
Yakuutira gwe yatuma nti: “Bw'onoomala okubuulira kabaka ebifudde mu lutalo,
20
obusungu bwe bwanditumbuka; ayinza okukubuuza nti: ‘Lwaki mwasemberedde ekibuga okulwana? Mwabadde temumanyi nti balasa nga bayima ku bbugwe waggulu?
21
Ani yakuba Abimeleki mutabani wa Yerubbeseti? Si mukazi ye yamusuulako olubengo ng'ayima ku bbugwe waggulu, n'afiira e Tebezi? Lwaki mwasemberedde bbugwe?’ Ggwe onoomuddamu nti: ‘N'omuweereza wo Wuriya Omukitti yafudde.’ ”
22
Omubaka n'agenda, n'ajja n'anyumiza Dawudi byonna Yowabu bye yali amulagidde,
23
omubaka n'agamba Dawudi nti: “Abasajja batusinzizza amaanyi; baafulumye, ne batulumba ebweru, naye naffe ne tubasindiikiriza ne tubazzaayo ku mulyango gw'ekibuga.
24
Abalasi b'obusaale ne balasa obusaale mu baweereza bo nga bayima waggulu ku bbugwe, mu baweereza ba kabaka ne mufaamu abamu, n'omuweereza wo Wuriya Omukitti n'afa.”
25
Dawudi n'agamba omubaka nti: “Kino ky'onoogamba Yowabu nti: ‘Ekyo tekikweraliikiriza, kubanga olumu ekitala kirya ono, olulala ne kirya oli; yongeramu amaanyi mu kulumba kw'olumbyemu ekibuga, okizikirize.’ Bw'otyo omugumye.”
26
Muka Wuriya bwe yawulira nga bba Wuriya yafa, n'amukungubagira.
27
Obudde obw'okukungubaga bwe bwaggwaako, Dawudi n'amutumya, n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'afuuka mukazi we, n'amuzaalira omwana mulenzi. Naye ekyo Dawudi kye yakola tekyasanyusa Mukama.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24