bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 15
2 Samuel 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
1
Oluvannyuma, Abusalomu ne yeekolera ekigaali n'afuna n'embalaasi n'abasajja amakumi ataano ab'okumukulemberangamu nga badduka.
2
Abusalomu bwe yazuukukanga ku makya, ng'ayimirira ku kkubo ery'oku mulyango gw'ekibuga. Buli musajja eyabangako ekizibu kye yalinga atwala okwanjula ewa kabaka, Abusalomu ng'amuyita gy'ali, ng'amugamba nti: “Ova mu kibuga ki?” Ng'amwanukula nti: “Omuweereza wo nva mu kika kino oba kiri ekya Yisirayeli.”
3
Abusalomu ng'amwanukula nti: “Wulira! Ensonga yo nnungi era ntuufu naye ewa kabaka teri anaakuwulira.”
4
Awo Abusalomu ng'agamba nti: “Singa nno mbadde nnondeddwa ku bulamuzi mu nsi, olwo buli alina ekizibu oba ensonga yandizze gye ndi, nange nandimwejjeerezza.”
5
Omuntu bwe yasemberanga gy'ali amuvunnamire, nga ye agolola omukono, ng'amukwata ng'amunywegera.
6
Abayisirayeli bonna abajjanga ewa kabaka, nga baagala kabaka abawulirize, Abusalomu bwe yabakolanga atyo; n'asikiriza emitima gy'abasajja ba Yisirayeli.
7
Nga wayise emyaka ena, Abusalomu n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, ka ŋŋende mu Keburoni, ntuukirize kye neetema ew'Omukama.
8
Omuweereza wo yeetema bwe nali e Gessuru eky'omu Aramu nti: ‘Omukama bw'alinziza mu Yeruzaalemu, ndisinza Omukama e Keburoni.’ ”
9
Kabaka n'amugamba nti: “Genda mu ddembe.” N'asituka, n'alaga e Keburoni.
10
Abusalomu n'atuma ababaka mu nkiso mu bibuga bya Yisirayeli byonna, ng'agamba nti: “Olunaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, mugambe nti: ‘Abusalomu ye kabaka mu Keburoni.’ ”
11
Abasajja ebikumi bibiri ne bagenda ne Abusalomu okuva mu Yeruzaalemu; baayitibwa buyitibwa, ne bagenda mu mutima mulungi, tebaamanya kantu konna.
12
Abusalomu bwe yali atambira ebitambiro, n'atumya ne Akitofeli Omugilo omuwi w'amagezi owa Dawudi, ave mu kibuga kye e Gilo abeewo. Olukwe ne lufuna amaanyi, abantu ne bagenda nga beeyongera okwegatta ku Abusalomu.
13
Omubaka n'ajja ewa Dawudi n'agamba nti: “Emitima gy'abantu ba Yisirayeli gizze eri Abusalomu.”
14
Dawudi n'agamba abakungu be abaali naye mu Yeruzaalemu nti: “Musituke, tudduke, oba si ekyo tuyinza obutafuna we tuddukira Abusalomu. Mwanguweeko okufuluma, sikulwa ng'atukwatira wano, n'atusaanyaawo ffenna, n'ekibuga n'akitta n'obwogi bw'ekitala.”
15
Abakungu ba kabaka ne bamugamba nti: “Abaweereza beetegefu okukola kyonna mukama waffe kabaka ky'anaaba alonzeewo.”
16
Kabaka n'agenda, n'abantu b'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Wabula kabaka yaleka bakazi be kkumi abasebeyi bakuume olubiri.
17
Kabaka n'agenda n'abantu be bonna nga bamuvaako emabega, ne bayimirirako ku nnyumba esembayo.
18
Awo abasajja be bonna ne bamuyita awo mu maaso ge: Abakereti bonna, Abapeleti bonna n'Abagitti bonna abasajja olukaaga abaamugoberera nga bava e Gati; bonna ne bayita mu maaso ga kabaka.
19
Kabaka n'agamba Yittayi Omugitti nti: “Lwaki naawe ojja naffe? Weddireyo obeere ne kabaka, kubanga oli mugwira; oli muwaŋŋanguse okuva ewammwe.
20
Jjo lwe watuuka, ate olwa leero nkuwalirize okugenda ng'obungeeta naffe, nze atamanyi na gye ndaga? Funyamu, zzaayo ne baganda bo. Ekisa n'obwesigwa bibeere naawe.”
21
Yittayi n'ayanukula kabaka n'agamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe Mukama wange kabaka ng'oli mulamu, wonna mukama wange kabaka w'anaabeera, oba kitegeeza kufa oba bulamu, eyo n'omuweereza wo gy'anaabeera.”
22
Dawudi n'agamba Yittayi nti: “Kale tambula, somoka.” Yittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'ab'omu maka ge bonna abaali naye.
23
Ensi yonna yali ekuba ebiwoobe ng'abantu bonna basomoka. Oluvannyuma ne kabaka n'asomoka Ekiwonvu Kiduroni, abantu bonna ne bakwata ekkubo ery'eddungu.
24
Ne Zadoki n'atuuka n'Abaleevi bonna nga bali naye basitudde Ssanduuku y'Endagaano ya Katonda. Ne bawummuza wansi Ssanduuku y'Endagaano ya Katonda, Abiyatari n'atambira ebitambiro okutuusa abantu bonna lwe baafuluma mu kibuga ne baggwaamu.
25
Kabaka n'agamba Zadoki nti: “Zzaayo Ssanduuku ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiba nsanze ekisa mu maaso g'Omukama, alinkomyawo ne ngitunulako, n'ekifo w'abeera.
26
Bw'aliba agambye nti: ‘Tonsanyusa,’ ndi mwetegefu, ky'aliraba ekisaanye okunkolera, ky'alinkolera.”
27
Kabaka n'agamba Zadoki kabona nti: “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mu ddembe, wamu ne mutabani wo Akimaazi ne Yonatani mutabani wa Abiyatari; batabani bammwe bombi babeere nammwe.
28
Nze nzija kulindirira ku misomoko mu ddungu, okutuusa lwe ndifuna ekiva gye muli.”
29
Zadoki ne Abiyatari ne bazzaayo Ssanduuku ya Katonda e Yeruzaalemu ne basigala eyo.
30
Dawudi n'ayambuka akasozi ka Oliva, ng'alinnya eno bw'akaaba; omutwe yali agubisse, ebigere bye nga byereere; n'abantu bonna abaali naye baagendanga bakaaba, emitwe nga bagibisse.
31
Dawudi ne bamubuulira nti ne Akitofeli yeekobye ne Abusalomu. Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama, fulula ebibuuliriro bya Akitofeli.”
32
Dawudi bwe yatuuka waggulu w'olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, n'asanga Kusayi Omwaruki ng'amulindiridde okumusisinkana; Engoye ze zaali ziyuliseyulise, ettaka nga lijjudde omutwe gwe.
33
Dawudi n'amugamba nti: “Bw'onoogenda nange, ojja kunfuukira omugugu.
34
Naye bw'onodda mu kibuga, ogamba Abusalomu nti: ‘Ayi kabaka, nzija kukuweereza; luli nali muweereza wa kitaawo, naye kati ndi muweereza wo,’ olwo olinnyamba okusaabulula amagezi ga Akitofeli.
35
Zadoki ne Abiyatari bakabona tebajja kubeera eyo naawe? Kyonna ky'oliwulira mu lubiri lwa kabaka, okitegeezanga Zadoki ne Abiyatari bakabona.
36
Batabani baabwe babiri baali nabo: Akimaazi owa Zadoki ne Yonatani owa Abiyatari; mubatumenga bantuuseeko kyonna ky'onoobanga owulidde.”
37
Mukwano gwa Dawudi Kusayi abeera ayingira ati mu kibuga, ne Abusalomu n'ayingira Yeruzaalemu.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24