bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 8
2 Samuel 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Oluvannyuma, Dawudi yawangula Abafilisitiini n'abafufuggaliza ddala. Yaggya Metegi-Amma mu mikono gy'Abafilisitiini.
2
Yawangula Abamowabu n'abeebasa ku ttaka, n'abapimako n'akaguwa. Buli lwe yapimanga obuguwa obubiri, abo nga battibwa; akaguwa akookusatu gwe kaawererangako oyo ng'atalizibwa. Abamowabu ne bafuuka baweereza ba Dawudi ne bawa n'omusolo.
3
Dawudi yalwanyisa ne Adadeezeri mutabani wa Rekobu, kabaka w'e Zoba, lwe yali agenze okuzza mu mikono gye ensi y'oku mugga Furaati.
4
Dawudi n'amuwambako abeebagazi lukumi mu lusanvu, n'abatabaazi ab'ebigere emitwalo ebiri. Dawudi embalaasi zonna yazisala enteega, n'alekawo kikumi kyokka ez'oku bigaali.
5
Abaaramu b'e Damasiko bajja okudduukirira Adadeezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta mu Baaramu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
6
Dawudi yassa enkambi z'abatabaazi mu Aramu ekya Damasiko; Abaaramu ne bafuuka baweereza be, ne bawa n'omusolo. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga.
7
Dawudi yatwala engabo eza zaabu ezaalinga n'abagabe ba Adadeezeri, n'azireeta mu Yeruzaalemu.
8
Era Dawudi kabaka n'aggya ekikomo kingi nnyo mu Beta ne mu Berotayi, ebibuga bya Adadeezeri.
9
Towu kabaka w'e Kamati bwe yawulira nti Dawudi afufuggazza eggye lyonna erya Adadeezeri,
10
n'atuma mutabani we Yoramu ewa kabaka Dawudi, amulamuseeko era amukulise okulwanyisa Adadeezeri n'amuwangula, kubanga Adadeezeri yalinga alwanagana ne Towu. Kadoramu n'atwala ebintu bya ffeeza, ebya zaabu n'eby'ekikomo.
11
Nabyo kabaka Dawudi n'abisingira Omukama, okufaanana ne ffeeza ne zaabu okuva mu mawanga gonna ge yali awangudde bye yali amaze okusingira Omukama:
12
ebyava mu Aramu, mu Mowabu, mu Bammoni, mu Bafilisitiini, mu Amaleki ne mu munyago gwe yajja ku Adadeezeri mutabani wa Rekobu, kabaka w'e Zoba.
13
Era Dawudi yayitimuka lwe yadda ng'amaze okutta Abeedomu omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu ky'Omunnyu.
14
Yassa enkambi z'abatabaazi mu Edomu wonna. Abeedomu ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga.
15
Dawudi n'afuga Yisirayeli yonna; era Dawudi yakoleranga abantu be bonna ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu.
16
Yowabu mutabani wa Zeruya nga y'aduumira eggye; Yosafati, mutabani wa Akiludi nga y'akuuma ebyafaayo;
17
Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abiyatari mutabani wa Akimeleki nga be bakabona; Seraaya nga ye muwandiisi;
18
Benaaya mutabani wa Yoyada nga y'alabirira Abakereti n'Abapeleti; bo batabani ba Dawudi baali bakabona.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24