bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 12
2 Samuel 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Awo Katonda n'atuma Natani ewa Dawudi. Bwe yajja gy'ali, n'amugamba nti: “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga omulala nga mwavu.
2
Omugagga yalina endiga n'ente nga bingi nnyo.
3
Baabuwe omwavu nga talina kantu, mpozzi akaliga akato; akatono kati ke yali aguze. Yakalunda, ne kakula naye wamu n'abaana be; kaalyanga ku tugaati twe; kaanyweranga ku kikopo kye; keebakanga awo mu mikono gye, leero nga kali nga kawala ke.
4
Naye omugenyi bwe yajja ew'omugagga, omugagga yalemwa okukwata ku ndiga ne ku nte ze, afumbire omugenyi eyali azze ewuwe, wabula yakwata kaliga ka musajja omwavu, n'akafumbira eyali azze ewuwe.”
5
Obusungu bwa Dawudi ne bweserera ku musajja oli, n'agamba Natani nti: “Mazima Omukama nga mulamu, omusajja oyo eyakola ekyo agwanidde kufa.
6
Akaliga ajja kukagatta n'obuliga buna, kubanga yakola ekyo n'atalaga busaasizi.”
7
Natani n'agamba Dawudi nti: “Ggwe musajja oyo! Kino Omukama Katonda wa Yisirayeli ky'agamba: ‘Nakusiiga omuzigo obeere kabaka wa Yisirayeli, era nakuwonya mu mikono gya Sawulo,
8
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbassa mu mikono gyo, ne nkuwa ennyumba ya Yisirayeli n'eya Yuda. Bino bwe biba nga bitono, naandikwongeddeko n'ebisinga.
9
Lwaki kale wagaye ekigambo ky'Omukama n'okola ekibi mu maaso ge? Wuriya Omukitti wamutta n'ekitala, mukazi we n'omutwala abeere mukazi wo; wamussa kitala ky'Abammoni.
10
Olw'okubeera ekyo, ekitala si kya kuva mu nnyumba yo emirembe gyonna, kubanga onnyoomye, n'otwala muka Wuriya Omukitti abeere mukazi wo.’
11
Kale nno kino ky'agamba Omukama: ‘Nzija kukusitulira akabi mu nnyumba yo. Bakazi bo nzija kubakuggyako ng'olaba bw'oti mbawe munno; alyebaka ne bakazi bo emisana ttuku.
12
Ggwe wakola mu nkiso, nze ekyo nzija kukikola mu maaso ga Yisirayeli yenna emisana ttuku.’ ”
13
Dawudi n'agamba Natani nti: “Nyonoonye eri Omukama.” Natani n'agamba Dawudi nti: “N'Omukama aggyewo ekibi kyo; tojja kufa.
14
Naye kubanga oleetedde abalabe b'Omukama okumuvuma olwa kino, omwana anaakuzaalirwa ajja kufa.”
15
Natani n'addayo ewuwe. Omukama n'akuba omwana muka Wuriya gwe yazaalira Dawudi, n'alwala.
16
Dawudi n'awanjagira Omukama ku lw'omwana, n'asiiba, n'abeeranga mu nnyumba ye; yeebakanga ku ttaka ekiro kyonna.
17
Abakadde mu nnyumba ye ne bajja awo we yali bamuwalirize ave ku ttaka, naye n'agaana, nga takkiriza na kulya nabo mmere.
18
Ku lunaku lwomusanvu omwana n'afa. Abaweereza ba Dawudi baatya okumubuulira omwana bw'afudde; anti baagamba nti: “Wuuno omwana bw'abadde akyali mulamu, twamugambanga nga tatuwuliriza. Kati tunaamugamba tutya nti: ‘Omwana afudde!’ Yandikola ekisinga obubi.”
19
Dawudi bwe yalaba abaweereza be nga boogeraganya obwama, n'ategeera ng'omwana afudde; n'abuuza abaweereza be nti: “Omwana afudde?” Ne baanukula nti: “Afudde.”
20
Dawudi n'ava ku ttaka, n'anaaba, n'asaaba omuzigo, n'akyusa ebyambalo, n'agenda mu nnyumba y'Omukama, n'asinza. Bwe yadda mu nnyumba ye, n'asaba akookulya, ne bamuteerayo emmere, n'alya.
21
Abaweereza be ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Omwana bwe yali akyali mulamu, wasiibanga n'okaaba olw'okubeera ye; omwana bw'afudde, osituse n'olya!”
22
N'addamu nti: “Omwana ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba olw'okubeera ye; anti nali ŋŋamba nti: ‘Ani amanyi, oboolyawo Omukama anansaasira omwana n'alama.’
23
Naye kati afudde, ate nsiibira ki? Nkyasobola okumukomyawo? Nze ndigenda gy'ali, naye ye tagenda kudda gye ndi.”
24
Dawudi n'akubagiza Batuseba mukazi we, n'agenda gy'ali, ne yeebaka naye. N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma Solomoni. Omukama n'amwagala.
25
Omukama n'atuma ng'ayita mu Natani omulanzi, amutuume Yedidiya olw'okubeera Omukama.
26
Mu bbanga eryo Yowabu yalwanyisa Rabba eky'Abammoni, n'awangula ekibuga kya kabaka.
27
Yowabu n'atuma ababaka ewa Dawudi, n'agamba nti: “Nalwanyisa Rabba, ne nkwata enzizi zaakyo.
28
Kale nno kuŋŋaanya eggye erisigadde, ozinde ekibuga, okikwate, kubanga nze bwe nnaakiwamba, kijja kubbulwamu linnya lyange.”
29
Dawudi n'akuŋŋaanya eggye lyonna, n'agenda e Rabba, n'akirumba, n'akikwata.
30
N'aggya ku mutwe gwa kabaka waabwe engule. Engule yali ezitowa talenta eya zaabu nnamba, ng'etoneddwako amayinja ag'omuwendo. Ne bagissa ku mutwe gwa Dawudi. Era Dawudi n'anyagulula ekibuga, n'atwala omunyago munene nnyo.
31
Abantu abaalimu yabaggyamu n'abassa ku gw'okukola n'emisumeeni, n'ensuuluulu ez'ebyuma n'embazzi ez'ebyuma, n'abakozesa amataffaali. Bw'atyo bwe yakola ne ku bibuga byonna eby'Abammoni. Olwo Dawudi n'akomawo mu Yeruzaalemu n'eggye lyonna.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24