bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 17
2 Samuel 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Akitofeli yagamba Abusalomu nti: “Ekiro mbadde njagala okulonda abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, mpondere Dawudi;
2
njagala mmulumbe ng'akooye, ayenjebuse, mmukube entiisa, abantu bonna abali naye badduke. Nzija kutta kabaka yekka,
3
olwo abantu bonna mbakomyewo gy'oli ng'omugole bw'adda ewa bba. Onoonya bulamu bwa muntu omu, bo abantu bonna bajja kubeera mu ddembe.”
4
Ekirowoozo kye ne kisanyusa Abusalomu n'abakadde bonna mu Yisirayeli.
5
Abusalomu n'agamba nti: “Muyite ne Kusayi Omwaruki, tuwulire naye ky'agamba.”
6
Kusayi bwe yajja ewa Abusalomu, Abusalomu n'amugamba nti: “Akitofeli kino ky'ateesa, tukole nga bw'agamba? Bwe kitaba ekyo, ggwe tuwe ky'ogamba”
7
Kusayi n'agamba Abusalomu nti: “Ku mulundi guno Akitofeli amagezi g'awadde si malungi.”
8
Kusayi n'ayongerako nti: “Ggwe naawe omanyi kitaawo ne basajja be nga bwe bali abatabaazi ab'amaanyi, ate nga bakambwe ng'eddubu erinyagiddwako obwana bwalyo. Kitaawo amanyi eby'okulwana; tajja kusula awo awali eggye.
9
Kabekasinge nga na kati yeekwese mu mpuku oba awantu awalala wonna. Kasita wanaabaawo abatabaazi abattibwa mu kusooka, abantu bwe banaawulira bajja kugamba nti: ‘Abagoberezi ba Abusalomu babasanjaze.’
10
Olwo n'omuzira, alina omutima ng'ogw'empologoma, encukwe ejja kumukwata, kubanga Yisirayeli yenna amanyi nti kitaawo muzira, na bonna abali naye bazira.
11
Nze ndowooza kino kye kyandibadde ekituufu: Yisirayeli yenna akukuŋŋaanireko, okuva ku Daani okutuuka ku Beeriseba, nga bangi butabalika ng'omusenyu ku nnyanja, ggwe wennyini obakulemberemu mu lutalo.
12
Mu buli kifo w'asuubirwa okusangibwa, tujja kumulumbayo, tumugwiire ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka; ye ne basajja be tewali n'omu ati ajja kulama.
13
Bw'anaabaako ekibuga mw'ayingidde, Yisirayeli yenna ajja kuleeta emiguwa ku kibuga ekyo, tukisike, tukikube mu luwonvu, n'akayinja kaakyo akamu kati tekaliddayo kulabibwako.”
14
Abusalomu ne Yisirayeli yenna ne bagamba nti: “Amagezi Kusayi Omwaruki g'awadde gasinze aga Akitofeli.” Anti Omukama yali ateesezza okukotoggera ekirowoozo kya Akitofeli ekirungi, alyoke aleetere Abusalomu akabi.
15
Kusayi n'agamba Zadoki ne Abiyatari bakabona nti: “Akitofeli yawadde Abusalomu n'abakadde mu Yisirayeli amagezi gano na gano, ate nze ne mpa bwe gati ne bwe gati.
16
Kale nno mutume mangu ewa Dawudi, mumugambe nti: ‘Ekiro kino tosula ku misomoko mu ddungu, wabula somoka mangu; kabaka baleme kumumira n'abantu be bonna.’ ”
17
Yonatani ne Akimaazi baali babeera kumpi ne Eni-Rogeli. Omuzaana yali wa kugenda ababuulire, ate bo bagende babuulire Dawudi, kubanga baali tebeetantala kya kulabibwa nga bayingira ekibuga.
18
Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba n'abuulira Abusalomu; bo ne badduka ne bagenda ku nnyumba y'omusajja omu mu Bakurimu; yalina oluzzi awo mu luggya lwe, ne bakkirira omwo.
19
Mukazi we n'ajja, n'ayanjaluliza olugoye ku kisaanikira ku luzzi, n'ayanjalako empeke. Kino tewaali yakimanyaako.
20
Abaweereza ba Abusalomu bwe bajja ew'omukazi mu nnyumba, ne babuuza nti: “Akimaazi ne Yonatani bali ludda wa?” Omukazi n'abaanukula nti: “Bayise buyisi ne balaga eri ku mugga.” Abasajja ne banoonya, bwe baabulwa, ne baddayo e Yeruzaalemu.
21
Bwe baagenda, bali ne bavaayo mu luzzi, ne beeyongerayo, ne babuulira Dawudi kabaka nti: “Muyimuke, musomoke mangu omugga, kubanga Akitofeli abakoledde olukwe bwati ne bwati.”
22
Dawudi n'asituka n'abantu bonna abaali naye, ne basomoka Yorudani. Obudde bugenda okukya nga tewali n'omu atannasomoka mugga.
23
Akitofeli yalaba amagezi ge sigasiimiddwa, n'atandiika endogoyi ye, n'asituka n'agenda mu nnyumba ye. Bwe yamala okutereeza eby'ennyumba ye, ne yeetuga, n'afa, n'aziikibwa ku biggya bya kitaawe.
24
Dawudi n'agenda e Makanayimu, ne Abusalomu n'asomoka Yorudani n'abasajja bonna aba Yisirayeli.
25
Abusalomu yali atadde Amasa ku ggye mu kifo kya Yowabu. Amasa oyo yali mutabani wa musajja eyayitibwanga Yitura Omuyisirayeli, eyawasa Abigayili muwala wa Yesse, mwannyina Zeruya, nnyina wa Yowabu.
26
Yisirayeli ne Abusalomu ne basiisira mu nsi ya Gileyaadi.
27
Dawudi bwe yajja mu Makanayimu, Sobi, mutabani wa Nakasi ow'e Rabba eky'Abammoni, ne Makiri mutabani wa Ammyeli ow'e Lo-Debari, ne Baruzillayi Omugileyaadi ow'e Rogelimu,
28
ne bamuleetera eby'okwebakako, n'essowaani n'ebibya eby'ebbumba. Baaleetera Dawudi n'eggye lye ebyokulya: eŋŋano, sayiri, obuwunga, empeke ensiike, ebijanjaalo, empokya,
29
omubisi gw'enjuki, bbongo, endiga n'amata g'ente amakwafu. Baateebereza nti abantu baali bayala, bakoowu era bayonta mu ddungu.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24