bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 6
2 Samuel 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Dawudi ate n'akuŋŋaanya abasajja abalondobe mu Yisirayeli emitwalo esatu.
2
Dawudi n'asitula, n'agenda ne basajja be bonna okuva e Baala ekya Yuda, baggyeyo Ssanduuku ya Katonda eyitibwa erinnya ly'Omukama w'Amagye awaŋŋamye wakati mu bakerubi abagiriko.
3
Ssanduuku ya Katonda ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu eyali ku kasozi, ne bagissa ku kigaali ekipya. Wuzza ne Akiyo, batabani ba Abinadabu be baali bagoba ekigaali ekiggya.
4
Ssanduuku y'Omukama yali ku kigaali nga Akiyo agikulembeddemu.
5
Dawudi ne Yisirayeli yenna baali bazinira mu maaso g'Omukama n'amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ku nnanga, entongooli, obugoma, ensaasi n'ensaazo.
6
Bwe baatuuka ku gguuliro lya Nakoni, Wuzza n'agolola omukono gwe ku Ssanduuku y'Omukama, kubanga ente zasirittukamu.
7
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Wuzza; Katonda n'amukubira awo olw'obujoozi bwe. N'afiira awo kumpi n'Essanduuku ya Katonda.
8
Dawudi n'anyiiga olw'Omukama okumalira obusungu bwe ku Wuzza; ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezi-Wuzza n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
9
Dawudi n'atya Omukama ku olwo, n'agamba nti: “Ssanduuku y'Omukama eneeyingira etya ewange?”
10
N'atayagala kukyamya Ssanduuku ya Mukama wuwe mu Kibuga kya Dawudi, wabula n'agitwala mu nnyumba ya Obedi-Edomu Omugitti.
11
Ssanduuku y'Omukama n'emala mu nnyumba ya Obedi-Edomu Omugitti emyezi esatu, Omukama n'awa omukisa Obedi-Edomu n'ennyumba ye yonna.
12
Ne babuulira Dawudi nti: “Omukama awadde omukisa ennyumba ya Obedi-Edomu n'ebibye byonna olw'okubeera Ssanduuku ya Katonda.” Dawudi n'agenda, n'aggya Ssanduuku ya Katonda mu nnyumba ya Obedi-Edomu, n'agireeta mu Kibuga kya Dawudi mu ssanyu.
13
Abaali batwala Ssanduuku y'Omukama bwe baatambulako ebigere mukaaga, n'atambira ente n'ennyana ensavuwaze.
14
Dawudi yali azina n'amaanyi ge gonna mu maaso g'Omukama; yali yeesibye efodi ey'olugoye.
15
Dawudi n'ennyumba yonna eya Yisirayeli baali batwala Ssanduuku y'Omukama n'obuluulu n'amaloboozi ag'eŋŋombe.
16
Ssanduuku y'Omukama bwe yali eyingira mu Kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'atunula wansi ng'ayima mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi nga yeebuukiza, azina mu maaso g'Omukama, n'amunyooma mu mutima gwe.
17
Ne bayingiza Ssanduuku y'Omukama ne bagissa mu kifo kyayo, munda mu weema Dawudi gye yali agisimbidde; Dawudi n'aweereza mu maaso g'Omukama ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu.
18
Dawudi bwe yamala okuweereza ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu, n'awa abantu omukisa mu linnya ly'Omukama w'Amagye.
19
N'agabula akeesedde k'Abayisirayeli, buli omu, omusajja n'omukazi, n'abawa kakkeeki, ekitole ky'empirivuma kimukimu n'ekitole ky'emizabbibu emiwotose. Oluvannyuma abantu bonna ne bagenda buli omu ewuwe.
20
Dawudi bwe yakomawo awe omukisa ennyumba ye, Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okumwaniriza. N'agamba nti: “Olwa leero kabaka wa Yisirayeli nga yeewadde ekitiibwa, ne yeeyambula mu maaso g'abazaana n'abaweereza be, ne yeeyisa ng'omukopi bwe yandikoze!”
21
Dawudi n'agamba Mikali nti: “Nzija kuzinira Omukama eyalondawo nze n'alekawo kitaawo oba omuntu omulala yenna mu nnyumba ye, n'anteekawo mbeere omukulembeze w'abantu b'Omukama, Yisirayeli.
22
Nzija kwefeebya n'okusingawo, nange nze nzennyini nenyoome; kyokka mu maaso g'abazaana b'oyogeddeko nzija kulabika nga ndi wa kitiibwa okusingawo.”
23
Mikali muwala wa Sawulo teyaddayo kuzaala mwana okutuusa lwe yafa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24