bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Samuel 24
2 Samuel 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Obusungu bw'Omukama ne buddamu okweserera ku Yisirayeli, n'abatankulira Dawudi ng'amugamba nti: “Genda obale Yisirayeli ne Yuda.”
2
Kabaka n'agamba Yowabu n'abagabe b'eggye lye bonna abaali naye nti: “Muyiteeyite mu bika bya Yisirayeli byonna, okuva ku Daani okutuuka e Beeriseba, mubale abantu, mmanye omuwendo gw'abantu nga bwe gwenkana.”
3
Yowabu n'agamba kabaka nti: “Omukama Katonda wo ku muwendo gw'abantu nga bwe guli kati agwongereko emirundi kikumi, ne mukama wange kabaka akyerabireko. Naye mukama wange kabaka, mu kintu kino kiki ky'ogenderedde?”
4
Naye kabaka kye yagamba kye kyasinza ekya Yowabu n'abagabe b'eggye amaanyi. Yowabu n'abagabe b'eggye ne bava ewa kabaka, ne bagenda babale abantu ba Yisirayeli.
5
Bwe baasomoka Yorudani, ne basiisira okumpi ne Aroweri ekiri mu kiwonvu wakati, mu maserengeta gaakyo; ne bakutulira mu Gaadi okulaga e Yazeri.
6
Ne bagenda e Gileyaadi ne mu nsi y'Abakitti mu Kadesi; ne bajja mu Daani. Bwe baava mu Daani, ne bakutula ne bagenda e Sidoni.
7
Batuuka ku kigo kya Tiiro n'ebibuga byonna eby'Abakivi n'Abakanaani, oluvannyuma ne bakkirira e Beeriseba mu Negevu ekya Yuda.
8
Nga bamaze okuyitaayita mu nsi yonna badda e Yeruzaalemu nga wayise emyezi mwenda n'ennaku amakumi abiri.
9
Yowabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu: mu Yisirayeli mwasangibwamu obusiriivu munaana obw'abasajja abeesobola, abakwasi b'ekitala; ate mu Yuda, obusiriivu butaano obw'abasajja.
10
Abantu bwe baamala okubalibwa, omutima Dawudi ne gumuluma, n'agamba Omukama nti: “Nnyonoonye nnyo olwa kino kye nkoze. Nkwegayiridde, ayi Mukama, ggyawo ekibi ky'omuweereza wo, kubanga kye nkoze kya busiru nnyo.”
11
Dawudi okugenda okuzuukuka ku makya ng'ekigambo ky'Omukama kyatuuse dda ewa Gaadi omulanzi, omulabi wa Dawudi, nti:
12
“Genda ogambe Dawudi nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Nkuwadde bisatu olondeko kimu ku ebyo kye mba nkukola’ ”
13
Gaadi n'ajja ewa Dawudi, n'agamba nti: “Oyagala ki kikugwire: Enjala egwire ensi yo okumala emyaka esatu? Oba omale emyezi esatu ng'odduka abalabe bo abagenda bakugoba? Oba kawumpuli agwe mu nsi yo amale ennaku ssatu? Kale weerowooze, olondeko kye nnaddiza oli antumye.”
14
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Ndiko ennaku nnyingi; naye ekisinga obulungi ka ngwe mu mikono gy'Omukama, kasita wa kisa kingi, naye tondeka kugwa mu mikono gy'abantu.”
15
Bw'atyo Dawudi n'alondawo kawumpuli. Bwali budde bwa kukesa ŋŋano. Omukama n'asindika kawumpuli mu Yisirayeli, okuva ku makya okutuusa obudde obulagaane, abantu emitwalo musanvu okuva ku Daani okutuuka e Beeriseba ne bafa.
16
Malayika bwe yagololera emikono gye ku Yeruzaalemu akizikirize, Omukama n'alaba ne yeddamu ku kabi kano, n'agamba malayika eyali atta abantu nti: “Kimala! Kaakati ssa omukono gwo.” Malayika w'Omukama yali ayimiridde kumpi n'egguuliro lya Arawuna Omuyebusi.
17
Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n'agamba Omukama nti: “Nze nakola ekibi, nze nayonoona; bano endiga obuliga baakola ki? Nkwegayiridde, omukono gwo gukyukire nze n'ennyumba ya kitange.”
18
Ku olwo Gaadi n'ajja ewa Dawudi, n'amugamba nti: “Yambuka, ozimbire Omukama omwaliiro mu gguuliro lya Arawuna Omuyebusi.”
19
Dawudi n'ayambuka ng'Omukama bwe yali amulagidde ng'ayita mu Gaadi.
20
Arawuna bwe yatunula wansi, n'alaba kabaka n'abaweereza be nga bajja gy'ali, n'afuluma, n'avunnamira kabaka ng'amaaso ge agatuusizza ku ttaka,
21
n'agamba nti: “Lwaki mukama wange kabaka azze ew'omuweereza we?” Dawudi n'amugamba nti: “Nzize kukugulako gguuliro lyo, nzimbirewo Omukama omwaliiro, kawumpuli agudde mu bantu akome.”
22
Arawuna n'agamba Dawudi nti: “Mukama wange kabaka alitwale, atambire nga bw'asiimye. Ente ziizo ez'ekitambiro ekyokye; ebiggo ebiwuula n'ebikoligo biibyo olw'enku.
23
Ayi kabaka, byonna Arawuna abiwa buwi kabaka.” Era Arawuna n'agamba kabaka nti: “Omukama Katonda wo akusiime.”
24
Kabaka n'amwanukula, n'agamba nti: “Nedda; nzija kulisasulira; sijja kuweereza Mukama Katonda wange bitambiro ebyokye nga sirina kye mpaddeyo.” Dawudi n'agula egguuliro n'ente, n'abisasulira sekeli za ffeeza amakumi ataano.
25
Dawudi n'azimbirayo Omukama omwaliiro, n'aweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu; Omukama n'addiramu ensi olw'okwegayirira kwabwe, ekibonerezo ku Yisirayeli ne kikomezebwa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24