bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 1
Deuteronomy 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo Musa bye yagamba Yisirayeli yenna ebuvanjuba wa Yorudani mu ddungu, mu Araba emitala wa Sufu, wakati wa Parani ne Tofeli, Labani, Kezeroti ne Di-Zawabu.
2
Okuva ku Korebu okutuuka e Kadesi-Baruneya ng'oyitidde ku lusozi Seyiri kitwala ennaku kkumi na lumu.
3
Mu mwaka ogw'amakumi ana, mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, ku lunaku olubereberye olw'omwezi, Musa n'abuulira Abayisirayeli byonna Omukama bye yali amulagidde gye bali.
4
Musa yali amaze okukubira e Edureyi Sikoni kabaka w'Abaamori, eyali afuga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyali afuga mu Asutaroti.
5
Musa ng'ali emitala wa Yorudani mu nsi y'Abamowabu, yatandika okunnyonnyola etteeka lino, n'agamba nti:
6
“Omukama Katonda waffe yayogera naffe ku Korebu, n'agamba nti: ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala;
7
mukyuke, mweyongereyo mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, ne mu mawanga gonna agaliranyeewo mu Araba ne mu nsozi, mu Sefela ne mu Negevu, mutuukire ddala ne ku lubalama lw'ennyanja, muyingire mu nsi y'Abakanaani, ne mu Lebanoni okutuuka ku mugga Furaati.
8
Mulabe, ensi eyo ngibawadde; mugende, mutwale ensi eyo Omukama gye yalayira okuwa bajjajjammwe Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo, n'ezzadde lyabwe eriribaddirira.’
9
“Mu budde obwo nabagamba nti: ‘Mumpitiridde obuzito, sibayinza nzekka bw'omu;
10
Omukama Katonda wammwe abawadde okwala; kati muumwo muli bangi ng'emmunyeenye ku ggulu.
11
Omukama Katonda wa bajjajjammwe abawe mwale, muwere nkumi na nkumi, abawe omukisa nga bwe yabagamba.
12
Naye obw'omu nnaayinza ntya okwetikka emitawaana, obuzito n'ennyombo zammwe?
13
Mumpe abasajja be mulonze mu bika byammwe, abagezi, abategeevu, abamanyirivu, mbateekewo ng'abaami mu mmwe.’
14
Mwannyanukula nti: ‘Ky'oyagala okukola kintu kirungi.’
15
Awo ne nzigya mu bika byammwe abasajja abagezi, abamanyirivu, ne mbassaawo ng'abakulu bammwe, babe abagabe b'enkumi n'ebikumi, ataano n'amakumi, babe abakulu mu bika byammwe.
16
Mu budde obwo nalagira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulire ensonga za baganda bammwe, mubalamule mu bwenkanya, ensonga ne bwe ziba wakati w'abooluganda, oba owooluganda n'omugwira.
17
Temwekubiiranga nga mulamula; omutene mumuwulirizanga kye kimu n'omunene. Temutyanga muntu n'omu, kubanga alamula ye Katonda. Ensonga ebazibuwalidde, mugindeeteranga, ŋŋenda kugiwulira.’
18
Mu budde obwo nabalagira byonna bye muteekeddwa okukola.
19
“Nga Omukama bwe yali atulagidde, twava ku Korebu ne tukutula mu ddungu eryo lyonna eddene ate ery'entiisa lye mwalaba, ne tuyita mu kkubo ly'omu nsozi mu nsi y'Abaamori, ne tutuuka e Kadesi-Baruneya.
20
Ne mbagamba nti: ‘Muzze mu nsozi z'Abaamori, ensi Omukama Katonda waffe gy'atuwadde.
21
Kati ensi yiiyo Omukama Katonda wo gy'akuwadde; yambuka, ogitwale ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, totekemuka.’
22
Mmwe mwenna mwansemberera ne muŋŋamba nti: ‘Tutume abasajja basookeyo gye tugenda, bekkaanye ensi, bajje batubuulire entambula bw'eneeba, batubuulire n'ebifa ku bibuga gye tugenda.’
23
Ekirowoozo nakisiima, kwe kulonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri, omu mu buli kika.
24
Ne bagenda ne bambuka mu nsi ey'ensozi, ne batuuka mu Kiwonvu kya Esukoli ne bakiketta.
25
Baddira ku bibala byayo ne babikkiriza gye twali, ne bagamba nti: ‘Ensi Omukama Katonda waffe gy'agenda okutuwa nnungi.’
26
Naye temwayagala kwambukayo; ne mujeemera ekiragiro ky'Omukama Katonda wammwe.
27
Mwemulugunyiza mu weema zammwe, ne mugamba nti: ‘Omukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri atuweeyo mu mikono gy'Abaamori, batuzikirize.
28
Tulage wa? Baganda baffe batutekemudde emitima bwe bagambye nti: “Abantu bali bawagguufu, bawanvu okutusinga; ebibuga binene, bbugwe abyetoolodde akoma ku ggulu; twalabyeyo n'Abaanaki.” ’
29
“Ne mbagamba nti: ‘Muleke kutya, temubatya.
30
Omukama Katonda abakulembedde, y'ajja okubalwanirira, nga bwe yakola ebyo byonna ku lwammwe mu Misiri nga nammwe mulaba.
31
Era ne mu ddungu naawe wennyini walaba Omukama Katonda wo bwe yakuyisa mu ddungu, ng'akusitudde ng'omuzadde omusajja bw'asitula omwana we, eyo yonna mu kkubo gye wayita, okutuusa lwe muzze mu kifo kino.’
32
Newandibadde olw'ekyo, era temwakkiriza Mukama Katonda wammwe,
33
eyabakulembera mu ŋŋendo zammwe, ekiro mu muliro, emisana mu mpagi ey'ekire, ng'abanoonyeza ebifo aw'okusiisira n'okubalagirira ekkubo lye munaakwata.
34
Omukama bwe yawulira ebigambo byammwe, n'asunguwala, n'alayira nti:
35
‘Mu basajja ab'ezzadde lino ebbi temuli n'omu aliraba ku nsi ennungi gye nalayira okuwa bajjajjammwe,
36
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne. Oyo y'aligiraba; ye ndimuwa ensi gy'alinnyeeko ekigere kye, ndigiwa n'abaana be, kubanga yagoberera Omukama n'omutima gwe gwonna.’
37
Nange Omukama yannyiigira olw'okubeera mmwe n'agamba nti: ‘Naawe toliyingirayo.
38
Naye Yoswa omuweereza wo, y'aliyingirayo. Oyo mugumye, kubanga y'alikulembera Yisirayeli okugyetwalira ng'obusika.
39
Abaana bammwe abato be mugambye nti ba kutwalibwa nga basibe, amabujje kati agataawula kirungi ku kibi, abo be baliyingira ensi ne bagitwala;
40
naye mmwe, kati mukyuke, mugende mu ddungu, mukwate ekkubo ery'Ennyanja ey'Ebiwuuwa.’
41
“Mwayanukula nti: ‘Twonoonye ew'Omukama; tujja kwambuka, tulwane, ng'Omukama Katonda waffe bw'atulagidde.’ Buli omu yeesiba ebyokulwanyisa bye nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsozi.
42
Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Bagambe nti: “Temwambuka kugenda kulwana, kubanga sijja kugenda nammwe; abalabe bammwe bajja kubakubirayo” ’
43
Nabalabula, naye mmwe temwawuliriza, mwajeemera ekiragiro ky'Omukama. Mwetumiikiriza ne mwambuka mu nsozi.
44
Abaamori abaasulanga mu nsozi ezo baavaayo ne babalumba, ne babagoba ng'enjuki bwe zikola, ne babakuba okubaggyira ddala e Seyiri okutuuka e Koruma.
45
Bwe mwakomawo ne mukaabira mu maaso g'Omukama; teyassa mwoyo ku kukaaba kwammwe, teyabawuliriza.
46
Bwe mutyo ne musigala mu Kadesi ennaku nnyingi ebbanga eryo lyonna lye mwamalayo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34