bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 33
Deuteronomy 33
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
1
Guno gwe mukisa Musa omuntu wa Katonda gwe yawa Abayisirayeli nga tannafa,
2
yagamba nti: “Omukama yajja ng'ava ku Sinayi, n'abaakira ng'ava ku Seyiri; yayakaayakana ng'ava ku lusozi Parani, n'asembera ng'ava e Meribuboti Kadesi, n'ajja gye bali okuva emaserengeta ng'akkirira enkonko.
3
Mazima oyagala abantu; bonna abatukuvu bo bakuli bati mu ngalo zo, bonna bavunnama ku bigere byo, ne bafuna enjigiriza okuva mu kigambo kyo.
4
Musa yatuwa etteeka, obusika bw'ekibiina kya Yakobo.
5
Mu Mwagalwa mulimu kabaka, ng'abakungu mu ggwanga bakuŋŋaanye wamu n'ebika bya Yisirayeli.
6
“Rubeni abeewo, era tafanga, n'abantu be tebabanga batono.”
7
Ku Yuda yagamba kino nti: “Mukama, wulira eddoboozi lya Yuda, muleete eri abantu bo. Yeerwanako n'omukono gwe; mubeerere obuyambi ku balabe be.”
8
Ku Leevi yagamba nti: “Tummimu yo ne Wurimu bya musajja gwe weetukuliza, gwe wagereza e Massa, gwe wayomba naye ku mazzi e Meriba.
9
Eyagamba kitaawe ne nnyina nti: ‘Sibatya,’ baganda be ataabategeera, n'abaana be ataabafaako. Kubanga yakuuma ekigambo kyo, yalabirira endagaano yo.
10
Ayigiriza Yakobo ebiragiro byo, ne Yisirayeli etteeka lyo; Aweereza obubaani mu maaso go n'ebitambiro ebyokye ku mwaliiro gwo.
11
Mukama, wa omukisa obugagga bwe, siima omulimu gw'emikono gye. Kutula emigongo gy'abamusitukiddemu, n'abamukyawa baleme kusituka nate.”
12
Ku Benyamiini yagamba nti: “Omwagalwa w'Omukama asula mu ye mu ddembe, kubanga amutaasa olunaku lwonna; naye atudde wakati w'ebibegabega bye.”
13
Ku Yozefu, yagamba nti: “Ensi ye Omukama agiwe omukisa; n'omusulo gw'eggulu ogusinga obulungi, n'eddubi eryebase eyo wansi,
14
n'ebibala by'enjuba ebikira obulungi, n'eby'omwezi bye gubaza ebisukkirivu obulungi,
15
n'eby'ensozi ez'edda ebisooka mu bulungi, n'ebirungi ennyo eby'obusozi obwa ddi na ddi,
16
n'ebisukkirivu obulungi eby'ensi n'ebigijjuzizza. Omukisa gw'oyo asula mu kisaka ekibuubuuka omuliro gujje ku mutwe gwa Yozefu, ku kyenyi ky'omulangira mu baganda be.
17
Mu kitiibwa ali ng'ennume eggula enda, amayembe ge, mayembe ga mbogo, g'alikozesa n'atomera amawanga n'ago agaliba ku nkingi z'ensi. Egyo gye mitwalo gya Efurayimu, Ezo ze nkumi n'enkumi za Manasse.”
18
Ku Zebuluni yagamba nti: “Zebuluni, sanyuka mu ntabaalo, naawe Yissakari, mu weema zo.
19
Baliyita abantu ku lusozi ne batambirirayo ebitambiro eby'obutuukirivu. Baliyonka ku mwero gw'ennyanja n'obugagga obukweke mu musenyu.”
20
Ku Gaadi yagamba nti: “Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi. Abwamiridde oyo ng'empologoma, ataagulako omukono n'omutwe.
21
Yeerondera ekitundu ekisinga obulungi, ekitundu ky'omufuzi kye kyamuterekerwa; yajja ku bukulembeze bw'abantu. Yakola obutuukirivu bw'Omukama; yatuusa ebibuuliriro bye eri Yisirayeli.”
22
Ku Daani yagamba nti: “Daani mwana gwa mpologoma; gusinziira ne gubuuka okuva mu Basani.”
23
Ku Nafutali yagamba nti: “Nafutali akkuse obuganzi ew'Omukama, ajjudde emikisa gye; alisikira obugwanjuba n'amaserengeta.”
24
Ku Aseeri yagamba nti: “Aseeri eyasingira ddala okuweebwa omukisa mu baana, asanyukirwe mu baganda be, ebigere bye abinaaze mu muzigo.
25
Eminyolo gyo giriba gya kyuma na kikomo, amaanyi go galyenkana n'obungi bw'ennaku zo.
26
“Teri ali nga Katonda w'Omwagalwa ayeebagala eggulu ajje akuyambe, mu bukulu bwe ajjira ku bire.
27
Katonda ow'edda n'edda bwe buddukiro bwo, akuwaniridde n'emikono gye egitaggwaawo. Aligobawo omulabe mu maaso go, Oyo agamba nti: ‘Zikiriza’.
28
“Yisirayeli alituula ntende, ensulo ya Yakobo etudde yokka, mu nsi ey'eŋŋano n'evviini, eyo eggulu gye litonnyesa omusulo.
29
Weesiimye, Yisirayeli! Ani akufaanana, ggwe eggwanga eryanunulibwa Omukama? Yennyini ye ngabo yo era omuyambi wo, oyo ekitala ky'obukulu bwo. Abalabe bo balyebwalabwala mu maaso go, ate ggwe olisambirira ebifo byabwe ebigulumivu.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34