bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 2
Deuteronomy 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 3 →
1
“Ne tukyuka, ne tusitula nga twolekedde eddungu nga tukutte ekkubo ery'Ennyanja ey'Ebiwuuwa, ng'Omukama bwe yali aŋŋambye. Twamala obudde buwanvu nga twetooloola olusozi Seyiri.
2
Omukama n'aŋŋamba nti:
3
‘Olusozi luno mulwetoolodde ekimala; kati mwolekere emambuka.
4
Abantu balagire obagambe nti: “Mujja kuyita mu nsi ya baganda bammwe, bazzukulu ba Ezawu, abali mu Seyiri, bagenda kubatya naye mubeere beegendereza nnyo.
5
Mwekkaanye, temubalumbagananga; mu nsi yaabwe sijja kubawaamu wadde ekigere ekimu kiti, kubanga olusozi Seyiri naluwa Ezawu lubeere lulwe.
6
Emmere gye munaalya mugibagulangako na ffeeza, n'amazzi ge munaanywa mugabagulangako na ssente.
7
Omukama Katonda wo yakuwa omukisa mu byonna emikono gyo bye gikola; akulabiridde mu lugendo lwo ng'okutula eddungu lino eddene. Emyaka amakumi ana, Omukama Katonda wo ng'ali naawe era tewabulwa kantu.” ’
8
“Ne tuyita mu baganda baffe, bazzukulu ba Ezawu, abali mu Seyiri, ne tuleka ekkubo lya Araba eriva engulu e Elati ne Eziyoni-Geberi, ne tukwata ekkubo ery'eddungu eriraga e Mowabu.
9
Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Totulugunya Bamowabu, era tobalumbagana, kubanga sijja kukuwa kantu ku nsi yaabwe, kubanga abazzukulu ba Loti nabawa Ari, y'eba ebeera ensi yaabwe.’
10
[Abeemi be baasooka okubeera eyo. Baali bantu ba maanyi nga bangi, nga bawagguufu ng'Abaanaki.
11
Okufaanana ng'Abaanaki nabo baali Barefa, newandibadde Abamowabu baabayitanga Beemi.
12
Mu Seyiri mwasooka kubeeramu Bakori; mu kifo kyabwe mwaddamu bazzukulu ba Ezawu abaabagobamu ne babazikiriza, nga Yisirayeli bwe yakola mu nsi Omukama gye yabawa ebeere yaabwe.]
13
‘Musituke nno musomoke Ekiwonvu Zeredi.’ “Ne tusomoka omugga.
14
Okusomoka Ekiwonvu Zeredi nga wayise emyaka asatu mu munaana okuva lwe twava e Kadesi-Baruneya okutuusa ng'ezzadde lyonna ery'abatabaazi lifudde liwedde mu lusiisira, ng'Omukama bwe yali abalayiridde.
15
Omukono gw'Omukama gwabalinga bukiika okutuusa ng'abamaze mu lusiisira.
16
“Abatabaazi bonna mu bantu nga bamaze okufa,
17
Omukama n'aŋŋamba nti:
18
‘Olwa leero ojja kusala ensalo za Mowabu e Ari.
19
Bw'onootuuka mu Bammoni, tobatulugunya era tobalumbagana, kubanga sijja kukuwa ku nsi y'Abammoni, kubanga nagiwa baana ba Loti ebeere yaabwe.’
20
[Ensi eyo nayo yali nsi y'Abarefa, abaabeerangamu, naye Abammoni nga babayita Bazamuzummi.
21
Baali bantu ba maanyi nga bangi; nga bawagguufu ng'Abaanaki. Abo Omukama yabazikiriza, n'awa Abammoni abaabagobamu ne basenga mu kifo kyabwe.
22
Omukama yabakolera nga bwe yali akoledde bazzukulu ba Ezawu ababeera e Seyiri; yabagobera Abakori n'abazikiriza. Baabagobamu ne badda mu kifo kyabwe n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
23
Ate Abavvi abaabeeranga mu byalo okutuuka e Gaza, Abakafutori abaali bavudde e Kafutori baabazikiriza, ne basenga mu bifo byabwe.]
24
‘Musituke. Mweyongereyo, musomoke omugga Arunoni. Laba, Sikoni kabaka w'e Kesuboni Omwamori mmuwadde mu mikono gyo, n'ensi ye. Mutandikireewo okugyezza; mumutabaale.
25
Olwa leero nzija kutandika okukuba encukwe mu mawanga gonna wansi w'eggulu, bakutye. Buli lwe banaakuwulirangako, nga bakankana, nga beenyoola olw'obulumi mu maaso go.’
26
“Natuma ababaka nga nsinziira mu ddungu ly'e Kademoti eri Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'obubaka obw'emirembe nga ŋŋamba nti:
27
‘Nzikiriza nsalire mu nsi yo; nzija kukwata kkubo ddene lyokka, sijja kukyama kudda ku ddyo oba ku kkono.
28
Emmere ey'okulya gitukuguze na ffeeza, n'amazzi ag'okunywa bwe gatyo; ekikulu nzikiriza nkutulire awo,
29
ng'abazzukulu ba Ezawu ababeera e Seyiri bwe bankola, ko n'Abamowabu abali mu Ari, okutuusa lwe nnaatuuka ku Yorudani, nsomoke, ndage mu nsi Omukama Katonda waffe gy'anaatuwa.’
30
“Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni yagaana okutuleka okuyitawo, kubanga Omukama Katonda wo yali agugubizza omutima gwe, alyoke amuweeyo mu mikono gyo, nga bwe yakikoze kati.
31
Omukama n'agamba nti: ‘Laba, ntandise okukuwa Sikoni n'ensi ye. Tandika okugiwangula ogitwale.’
32
Sikoni n'avaayo okukwatagana naffe ng'ali n'eggye lye lyonna, mu lutalo lw'e Yawazi.
33
Omukama Katonda waffe n'amutuwa, ne tumukuba ne batabani be n'eggye lye lyonna.
34
Mu budde obwo ebibuga bye byonna ne tubiwamba, ne tubizikiririza ddala byonna na buli muntu, abasajja, abakazi n'abato; tetwalekamu n'omu yawonawo,
35
naye ebisolo by'awaka n'ebintu bye twanyaga mu bibuga bye twawamba twabyetwalira.
36
Okuva ku Aroweri ekiri ku lubalama lw'omugga Arunoni, n'okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu, okutuuka e Gileyaadi, tewaali kibuga kyatusukkirira; byonna Omukama Katonda waffe yabituwa.
37
Kyokka okusinziira ku ebyo byonna Omukama Katonda waffe bye yali atulagidde, temwalumba ku nsi y'Abammoni, n'eyo eri ku Kiwonvu Yabboki, n'eyeetoolodde ebibuga eby'omu nsozi.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34