bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 21
Deuteronomy 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 22 →
1
“Mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ogitwale bwe musangibwangamu eyo ku ttale omuntu attiddwa, eyamutta nga tamanyiddwa,
2
abakadde n'abalamuzi bo bafulumanga ne bapima ebbanga okuva awali omulambo okutuuka ku bibuga ebyetooloddewo.
3
Abakadde b'omu kibuga ekisinga okuba okumpi, baddiranga ennyana y'ente etasibwangako kikoligo, era etakozesebwanga ku mulimu,
4
ne batwala ennyana eyo mu kiwonvu awatalimwangako wadde okusigibwawo akantu, awali omugga ogutakalira, ne bamenyera eyo ennyana eyo ensingo.
5
Awo bakabona basemberanga, bazzukulu ba Leevi, Omukama Katonda wo be yalonda bamuweereze, bawe n'omukisa mu linnya lye n'okumala ensonga zonna ez'okusoowaagana n'okulwana.
6
Abakadde bonna ab'omu kibuga ekyo ekiri okumpi n'awali oli eyattibwa, banaabiranga engalo zaabwe ku nnyana gye bamenye ensigo mu kiwonvu,
7
ne boogerera waggulu nti: ‘Emikono gyaffe sigiyiwanga musaayi guno, n'amaaso gaffe sigaalaba kantu.
8
Mukama, kkiriza okuddaabiriza kw'abantu bo Yisirayeli be wanunula; omusaayi ogutaliiko musango togusiba ku bantu bo Yisirayeli.’ Olwo ogw'okuyiwa omusaayi gulibasonyiyibwa.
9
Bw'otyo bw'oneggyangako okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, kasita olikola ekituufu mu maaso g'Omukama.
10
“Bw'ogendanga okulwanyisa abalabe bo, Omukama Katonda wo amala abakuwa mu mikono gyo, n'owambayo n'abasibe,
11
mu basibe omwo n'olabamu omukazi afaanana obulungi, n'omwagala, oyinza okumuwasa.
12
Bw'omuleetanga ewuwo, amwanga enviiri n'asala n'enjala,
13
n'ayambulamu ebyambalo bye eby'obusibe, n'atuula mu nnyumba yo okumala omwezi mulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina. Oluvannyuma oyinza okugenda gy'ali n'omuwasa n'afuuka mukazi wo.
14
Bw'abanga takyakusanyusa, omulekanga n'agenda gy'ayagala. Tomutundangamu ssente, era tomuyisanga ng'omuddu, kubanga wamutoowaza dda.
15
“Omuntu bw'abeeranga n'abakazi ababiri omu nga muganzi omulala nga mukyawe, bombi bamala bamuzaalira abaana ab'obulenzi, ate ng'ow'omukyawe ye muggulanda,
16
bw'ayagalanga okubagabanyiza eby'obusika, omwana w'omuganzi tamuwanga eby'obuggulanda n'amukiza omuggulanda yennyini omwana w'omukyawe.
17
Ow'omukyawe gw'akakasanga ku buggulanda, byonna by'alina amuwangako bya mirundi ebiri; anti oyo kye kibala ekisooka eky'amaanyi ge, obukulu bw'obuggulanda ye nnyinibyo.
18
“Omuntu bw'abanga n'omwana ow'emputtu, omujeemu, atawulira kitaawe oba nnyina kye bamugamba, bwe bamubonereza nga tabawuliriza,
19
kitaawe ne nnyina bamuddiranga ne bamutwala eri abakadde b'ekibuga kye, ne bamussa ku mulyango gw'ekibuga kye.
20
Bagambanga abakadde b'ekibuga nti: ‘Omwana waffe ono wa mputtu, mujeemu, tatuwulira, musaasaanya era mutamiivu.’
21
Awo abasajja ab'omu kibuga bamukubanga amayinja n'afa. Ekibi kino muteekwa okukiggyira ddala mu mmwe. Yisirayeli yenna aliwulira n'atya.
22
“Omuntu bw'azzanga omusango ogumussisa, n'asalirwa ogw'okufa, n'attibwa n'awanikibwa ku muti,
23
omulambo gwe temugulekanga ne gusula ku muti; aziikibwanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga buli awanikibwa ku muti abeera kikolimo ewa Katonda. Tojaajamyanga nsi yo Omukama Katonda wo gye yakuwa ng'obusika.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34