bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 29
Deuteronomy 29
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
1
Omukama n'ayita Yisirayeli yenna n'abagamba nti: “Amaaso gammwe gaalaba byonna Omukama bye yakola mu nsi y'e Misiri ku Faraawo ne ku baweereza be bonna ne ku nsi ye yonna.
2
N'amaaso gammwe mwalaba ebigezo ebinene, obubonero, n'ebikuuno ebinene.
3
N'okutuusa ku lunaku lwa leero Omukama tannabawa mutima gutegeera, maaso galaba, na matu gawulira.
4
Emyaka amakumi ana gye mmaze nga mbayisa mu ddungu, ebyambalo byammwe tebyayabirirako n'engatto z'omu bigere byammwe tezaggweerera.
5
Temwalya mugaati, temwanywa vviini oba ekitamiiza. Nakikola mulyoke mutegeere nti nze Mukama Katonda wammwe.
6
Bwe mwatuuka mu kifo kino; Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'ajja ne Ogi kabaka w'e Basani batulwanyise, naye twabawangula.
7
Twatwala ensi yaabwe ne tugiwa ab'ekika kya Rubeni n'ab'ekika kya Gaadi, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ebeere yaabwe.
8
Awo nno mukwatenga ebigambo by'endagaano eno, mubituuse, lwe muliba n'omukisa mu byonna bye mukola.
9
“Olwa leero mwenna muyimiridde mu maaso g'Omukama Katonda wammwe: abafuzi, abaami, abakadde n'abakulu, buli musajja yenna mu Yisirayeli,
10
abaana bammwe, bakazi bammwe n'abagwira abali naawe mu lusiisira, okuva ku batyabi b'enku okutuuka ku abo abakukimira amazzi,
11
olyoke oyingire mu ndagaano y'Omukama Katonda wo, endagaano Omukama Katonda wo gy'agenda okukakasa naawe agisibe n'ekirayiro,
12
okukufuula eggwanga lye naye abeere Katonda wo, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajjaabo, Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.
13
Nkola endagaano eno n'okugikakasa n'ekirayiro si nammwe mwekka,
14
mmwe abali wano olwa leero mu maaso g'Omukama Katonda waffe, wabula era n'abo bonna abatali wano naffe olwa leero.
15
“Anti nammwe mumanyi nga bwe twabanga mu nsi y'e Misiri, n'engeri gye twayita mu mawanga wakati bwe mwabanga mugayitamu.
16
Mwalaba ebyenyinyalwa bye n'ebifaananyi bye ebya balubaale ebikole mu miti, amayinja, ffeeza, ne zaabu.
17
Mwegendereze mu mmwe muleme kubeeramu musajja oba mukazi, amaka oba ekika, omutima gwe ne guva ku Mukama Katonda waffe, n'agenda okusinza balubaale b'amawanga ago, mu mmwe ne mubaamu ekikolo ekizaala obutwa n'omususa.
18
Ow'engeri eyo bw'awuliranga ebigambo by'ekirayiro kino ne yeenyumiikiriza mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Nzija kubeera bulungi ne bwe nnaagoberera obukakanyavu bw'omutima gwange,’ ekyandiviiramu omwonoonyi okuzikirira wamu n'ataliiko musango,
19
Omukama tagenda kumusonyiwa. Obusungu n'obuggya bw'Omukama birimuttunkirako; ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino bigenda kumujjira, n'erinnya lye Omukama agenda kulisangulawo wansi w'eggulu.
20
Omukama alimulondamu mu bika byonna ebya Yisirayeli aboneebone, ng'ebikolimo by'omu ndagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky'Etteeka kino bwe bigamba.
21
“Abaana bammwe abalibaddirira mu mazadde agajja, n'abagwira abaliba bavudde mu nsi ez'ewala, baliraba ebibonoobono by'ensi eyo n'endwadde Omukama z'aliba agisindikidde:
22
Ensi yonna eriba ddungu eryokeddwa, ya lunnyo, ebabuddwa ebibiriiti, omutasigiddwa kantu; terisobola kumeza wadde okukuza akaddo konna, ng'ezikiridde nga Sodoma, Gomorra, Aduma ne Zeboyimu, Omukama bye yazikiriza mu busungu bwe n'obuswandi.
23
Amawanga gonna gagenda kwebuuza nti: ‘Lwaki Omukama yakola ati ensi eno? Kwesera kwa busungu nnabaki buno obungi bwe buti?’
24
Bagenda kwanukulwa nti: ‘Kubanga baayabulira endagaano y'Omukama Katonda wa bajjajjaabwe gye yakuba nabo, lwe yabaggya e Misiri.
25
Ne basinza balubaale ne babavunnamira; balubaale be baali batamanyi, b'atabawanga.
26
Obusungu bw'Omukama kyebwava bweserera ku nsi eno, n'agireetera ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
27
Yabasimbula mu nsi yaabwe ng'asunguwadde, ajjudde obuswandi, munyiivu, n'abasukkiza mu nsi endala, nga bwe kiri kaakati.’
28
“Ebikisiddwa biba bya Mukama Katonda waffe, naye ebibikkulibwa biba byaffe n'abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tutuusenga ebigambo byonna eby'omu tteeka lino.”
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34