bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 31
Deuteronomy 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 32 →
1
Awo Musa n'agenda n'ayogera ebigambo bino eri Yisirayeli yenna nti:
2
“Kati ndi wa myaka kikumi mu abiri, sikyasobola kubakulembera, ate nga n'Omukama yaŋŋamba nti: ‘Togenda kusomoka Yorudani.’
3
Omukama Katonda wo yennyini ajja kusomoka ng'akukulembeddemu. Agenda kuzikiriza amawanga ago mu maaso gammwe, ensi yaabwe mugitwale. Yoswa agenda kusomoka ng'akukulembeddemu, ng'Omukama bwe yayogera.
4
Omukama agenda kukola amawanga gano kye yakola Sikoni ne Ogi bakabaka b'Abaamori, bwe yabazikiriza wamu n'ensi yaabwe.
5
Nabo bw'aliba ababawadde, mubakole kye kimu, nga bwe nabalagira.
6
Mugume, munywere; temutya, temwekanga olw'okubeera bo, kubanga Omukama Katonda wo yennyini ye mugabe wo, atambula naawe, tagenda kukuleka, wadde okukwabulira.”
7
Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Yisirayeli yenna nti: “Guma, nywera, anti ggwe ojja okuyingiza eggwanga lino mu nsi, Omukama gye yalayira okuwa bajjajjaabwe; ojja kugibagabira ku kalulu ebeere obusika bwabwe.
8
N'Omukama ajja kukukulemberamu era ajja kubeera naawe, tagenda kukuleka, wadde okukwabulira; leka kutya, totekemuka.”
9
Musa n'awandiika etteeka lino, n'alikwasa bakabona, bazzukulu ba Leevi, abaatwalanga Essanduuku y'Endagaano y'Omukama, n'abakadde bonna aba Yisirayeli.
10
Musa n'abalagira nti: “Ku nkomerero ya buli myaka musanvu, mu mwaka ogw'ekisonyiwo ky'amabanja, ku mbaga ey'Ensiisira,
11
bonna Abayisirayeli lwe bakuŋŋaana mu maaso g'Omukama Katonda wo mu kifo ky'aliba alonze, osomanga ebigambo by'etteeka lino bonna nga bawulira.
12
Kuŋŋaanya buli muntu: abasajja, abakazi, abato, n'abagwira abasula mu bibuga byammwe, bawulire, bayige okutya Omukama Katonda wammwe, balyoke bakwatenga era batuusenga byonna ebigambibwa mu tteeka lino.
13
N'abaana baabwe kati abatannamanya, bawulire, bayige okutya Omukama Katonda wammwe ennaku zonna ze munaaba mu nsi gye musomokera Yorudani mugitwale.”
14
Omukama n'agamba Musa nti: “Ennaku ez'okufa kwo ziri kumpi; yita Yoswa mujje mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano mmulage eky'okukola.” Musa ne Yoswa ne bagenda ne bayimirira ku Weema ey'Ensisinkano.
15
Omukama n'alabikirayo mu mpagi ey'ekire, empagi n'eyimirira ku mulyango gwa Weema.
16
Omukama n'agamba Musa nti: “Wuuno ogenda okugalamira ne bajjajjaabo; mangu eggwanga lino ligenda kukola obwamalaaya ne balubaale mu nsi gye bagenda okuyingira. Bagenda kunjabulira bamenye endagaano gye nkubye nabo.
17
Ku olwo obusungu bwange bugenda kubeesererako, mbaabulire; ŋŋenda kubakisa amaaso gange, bagenda kuwemmentebwa. Obubenje n'ebizibu bigenda kubagwira, ku olwo bagambe n'okugamba nti: ‘Kituufu, Katonda tali nange, ggwe lwaki ennaku eno yonna ensanga?’
18
Nze ŋŋenda kukisa amaaso gange ku olwo olw'okubeera obwonoonefu bwabwe bwonna bwe baakyukira eri balubaale abagwira.”
19
“Kale nno kati mwewandiikire oluyimba luno, oluyigirize Abayisirayeli, olubakwase bujjukizi, olubayimbise, lubalumirize.
20
Kubanga nga mmaze okuyingiza eggwanga eryo mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, bwe balimala okulya ne bakkuta ne bagejja, bagenda kukyukira eri balubaale, babasinze, nze banjabulire, bamenye endagaano yange.
21
Obubenje obungi n'ebizibu bwe birimala okubagwira, oluyimba olwo lugenda kubalumiriza, kubanga terugenda kwerabirwa abazzukulu baabwe. Na kati nga sinnaba kubayingiza, mmanyi bulungi bye bagenda okukola mu nsi gye nabalayirira.”
22
Musa n'awandiika oluyimba luno ku olwo, n'aluyigiriza Abayisirayeli.
23
Omukama n'alagira Yoswa mutabani wa Nuunu nti: “Guma, nywera, kubanga ggwe ojja okuyingiza Abayisirayeli mu nsi gye nabalayirira; nange nzija kubeera naawe.”
24
Musa bwe yamala okuwandiika ebigambo byonna eby'etteeka lino mu kitabo okutuuka gye bikoma,
25
n'alagira Abaleevi abaatwalanga Essanduuku y'Endagaano y'Omukama nti:
26
“Muddire ekitabo kino eky'etteeka mukiteeke kumpi n'Essanduuku y'Endagaano y'Omukama Katonda wammwe, kiryoke kibeere eyo kinjulirenga gye bali.
27
Anti mmanyi bw'oli omujeemu, ow'ensingo enkakanyavu. Oba mwajeemera Omukama nga nkyali mulamu ndi nammwe, leero alirabisa nga mmaze okufa!
28
“Mukuŋŋaanyize we ndi bonna abakulu b'ebika byammwe n'abaami bammwe, njogere ebigambo bino nga nabo bawulira, nkowoole eggulu n'ensi binjulire gye muli.
29
Kubanga mmanyi nti bwe nnaamala okufa mugenda kwonooneka, muve mu kkubo lye mbalagidde. Gye bujja obubenje bujja kubagwira kubanga muliba mwonoonye eri Omukama, ne mumunyiiza olw'ebyo emikono gyammwe bye giriba gikoze.”
30
Musa n'atontoma ebigambo by'oluyimba luno okutuukira ddala gye lukoma ng'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli kiwulira, nti:
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34