bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 11
Deuteronomy 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 12 →
1
“Yagalanga Omukama Katonda wo, kwatanga by'akuutira, amateeka ge, ennamula ye n'ebiragiro bye obudde bwonna.
2
Jjukira olwa leero nti si baana bammwe be baayita mu bino, si be baalaba Omukama Katonda wammwe bw'agunjula, obukulu bwe, omukono gwe ogw'amaanyi, n'omukono gwe omugolole;
3
obubonero obwewuunyisa ne bye yakola kabaka Faraawo kabaka w'e Misiri n'ensi ye yonna mu Misiri wakati;
4
ne bye yakola eggye lyonna ery'Abamisiri n'embalaasi zaalyo n'ebigaali byalyo, n'abakulukusizaako amazzi g'Ennyanja ey'Ebiwuuwa lwe baali babawondedde, Omukama amale abazikirize n'okutuusa ku lunaku lwa leero;
5
nammwe bye yabakolera mu ddungu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino;
6
ne bye yakola Datani ne Abiramu batabani ba Eliyabu, eyali mutabani wa Rubeni, ettaka lwe lyayasama ne libamira n'ab'omu nnyumba zaabwe, ne weema zaabwe, n'ebintu byabwe byonna, bye baalina, nga Yisirayeli yenna alaba.
7
Wabula gaali maaso gammwe agaalaba ebikuuno ebyo byonna Omukama bye yakola.
8
“Mukwatenga ebiragiro byonna nze bye mbalagira olwa leero, mulyoke mufune amaanyi okusobola okuyingira n'okutwala ensi gye musomokera Yorudani mugitwale,
9
mulyoke muwangaalire mu nsi Omukama gye yalayirira okuwa bajjajjammwe n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
10
“Ensi gye mugenda okuyingira mugitwale, teri nga nsi y'e Misiri gye mwava, mwe wasiganga ensigo n'ogifukirira amazzi n'ekigere ng'afukirira akalimiro k'enva.
11
Naye ensi gye musomokera Yorudani mugitwale, ya nsozi na biwonvu, enywa enkuba eva mu ggulu.
12
Ye nsi Omukama Katonda wo gy'alabirira; Omukama Katonda wo agissaako eriiso okuva ku masooka g'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo.
13
Bwe muliba mukutte ebiragiro byange, bye mbalagira olwa leero: okwagala Omukama Katonda wammwe n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna,
14
ndiwa ettaka lyammwe enkuba mu myezi gyayo, eya Ddumbi ne Ttoggo, okuŋŋaanye eŋŋano yo, evviini yo ensu n'omuzigo gwo.
15
Ndiwa omuddo ku ttale olw'ebisolo byo, naawe olirya n'okkuta.
16
Mwekkaanye sikulwa ng'omutima gwammwe gusendebwasendebwa, ne muva ku Mukama, ne muweereza balubaale abagwira ne mubasinza,
17
olwo obusungu bw'Omukama bugenda kubeesererako; alisiba eggulu enkuba ereme kutonnya n'ettaka lireme kuleeta kibala kyalyo; amangu ago mulisaanawo ku nsi ennungi Omukama gy'agenda okubawa.
18
“Ebigambo byange bino mubiteeke mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe; mubisibanga ku mikono gyammwe ng'akabonero, mubisibirenga ne ku byenyi byammwe.
19
Mubiyigirizanga batabani bammwe; obyogeranga ng'obadde otudde mu nnyumba yo, ng'otambula mu kkubo, ng'ogenda okwebaka oba nga wa kazuukuka.
20
Obiwandiikanga ku myango gy'ennyumba yo ne ku miryango gyo,
21
ennaku zo n'eza batabani bo ziryoke zeyongere obungi mu nsi Omukama gye yalayira okuwa bajjajjaabo, ebbanga lyonna eggulu lye lirimala nga liri waggulu w'ensi.
22
“Bwe muliba mukuumye ebiragiro bino byonna nze bye mbalagira ne mubituusa: okwagala Omukama Katonda wammwe, okutambulira mu makubo ge gonna n'okumunywererako,
23
Omukama aligobawo amawanga ago gonna mu maaso gammwe; mugenda kutwala amawanga agabasinga obunene n'amaanyi.
24
Buli we mulirinnya ekigere walifuuka wammwe, okuva ku ddungu okutuuka e Lebanoni, okuva ku mugga Furaati okutuuka ku nnyanja ey'ebugwanjuba.
25
Tewaliba abaziyiza; Omukama Katonda wammwe nga bwe yabagamba, alibafuula ba ntiisa abakanga wonna mu nsi we muliraga.
26
Nzuuno olwa leero nzisa mu maaso gammwe omukisa n'ekikolimo.
27
Omukisa: bwe muliba muwulidde ebiragiro by'Omukama Katonda wammwe, nze bye mbalagira olwa leero;
28
ekikolimo: bwe muliba temugondedde biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne muva mu kkubo, lye mbalaga olwa leero, ne mugoberera balubaale be mutamanyangako.
29
Omukama Katonda wo bw'alimala okukuyingiza mu nsi gy'ogenda okutwala, omukisa oguweeranga ku lusozi Gerizimu, ekikolimo okirangiriranga ku lusozi Ebali.
30
[Ensozi zino, nga bwe mumanyi, ziri mitala wa Yorudani, ebugwanjuba ng'osaze ekkubo eriraga ebugwanjuba okumpi n'emivule gy'e More, mu nsi y'Abakanaani ababeera mu Araba okumpi ne Gilugali.]
31
Mugenda okusomoka Yorudani, mutwale ensi Omukama Katonda wammwe gy'anaabawa. Nga mumaze okugitwala, nga mugibaddemu,
32
mwekkaanye, mutuusanga amateeka gonna n'ebiragiro bye nzisa mu maaso gammwe olwa leero.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34