bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 24
Deuteronomy 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 25 →
1
“Omusajja bw'awasanga omukazi, oluvannyuma n'asanga nga tamusanyusa, ng'amuzuddemu ekintu ekitajja, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'obugobe, n'agimukwasa, n'amugoba mu maka ge,
2
omukazi bw'ava mu maka ge, n'agenda afumbirwa omusajja omulala,
3
n'oyo naye n'amukyawa, n'amuwa ebbaluwa ey'obugobe, n'amugoba mu maka ge, oba ye yennyini omusajja n'afa,
4
oli eyasooka okumuwasa tayinza kuddamu kumufuula mukazi we, kubanga omukazi oyo yagwagwawazibwa. Ekyo Omukama akyenyinyala. Ensi yo Omukama Katonda wo gy'abanga akuwadde ng'obusika togireeteranga kugwa mu kibi.
5
“Omusajja bw'abanga yaakawasa, tasindikibwanga mu lutalo, era tassibwangako omulimu omulala gwonna, wabula alekebwanga n'abeera ewuwe omwaka mulamba ng'asanyusa mukazi we gw'awasizza.
6
“Ng'omusingo olw'ebbanja oli ly'akulinako, tomuggyangako byombi, enso n'olubengo, ne bw'eba enso yokka, kubanga ebyo bwe bulamu bwe bwennyini bw'aba asinzeewo.
7
“Singa omuntu asangibwa ng'awamba omu ku baganda be mu Bayisirayeli, n'amuyisa ng'omuddu, n'amutunda, eyawamba bw'akwatibwanga, attibwanga buttibwa. Oteekwa okuggyirawo ddala ekibi kino mu mmwe.
8
“Ku bulwadde obw'ekigenge weegenderezanga era ofangayo nnyo n'okola nga bakabona Abaleevi bwe babanga bakugambye. Otuukirizanga n'obwegendereza bo bye nabalagira.
9
Jjukira Omukama Katonda wo kye yakola Miriyamu mu kkubo lwe wava e Misiri.
10
“Bw'owolanga munno, libeere bbanja ki, toyingiranga nnyumba ye ggwe kweggyiramu musingo gwe,
11
wabula oyimiriranga wabweru, gw'owola ye n'akuleetera omusingo ebweru gy'oli.
12
Bw'abeeranga omwavu, togendanga okwebaka ng'omusingo gwe okyagulina;
13
ogumuddizanga ng'enjuba egwa, yeebikke ekizibawo kye; alikusabira omukisa, n'ekikolwa kyo kiriba ng'obutuukirivu bwo mu maaso g'Omukama Katonda wo.
14
“Tokumpanyanga mupakasi wo mwavu oba ali mu bwetaavu, abeere muganda wo oba omugwira asula mu bibuga byo.
15
Naye buli lunaku ng'enjuba tennagwa omusasulanga empeera ye, kubanga munaku, omutima gwe gugirumirwa, sikulwa ng'akoowoola n'akuwaabira ew'Omukama n'oba n'omusango.
16
“Bakitaabwe b'abaana si ba kuttibwanga olw'abaana baabwe, n'abaana si ba kuttibwanga olwa bakitaabwe; buli omu anaafanga lwa kibi kye.
17
“Tosalirizanga mugwira na mulekwa; n'ekizibawo kya nnamwandu tokitwalanga nga musingo;
18
Jjukira nti wali muddu mu Misiri, Omukama Katonda wo n'akununulayo; kyenva nkulagira okolenga ekyo.
19
“Bw'okesanga amakungulago mu nnimiro ne weerabirayo omuganda mu nnimiro, toguddukiranga; gulekere omugwira, mulekwa ne nnamwandu, Omukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu byonna emikono gyo bye gikola.
20
“Bw'ogendanga okukuba oliva zo, toziddangamu gwa kubiri; ezisigalira zibeere za mugwira, mulekwa ne nnamwandu.
21
“Bw'onoganga emizabbibu mu nnimiro yo, togiyitangamu gwa kubiri, ebirimba ebisigalira bibeere bya mugwira, mulekwa ne nnamwandu.
22
“Jjukira nti naawe wali muddu mu Misiri; kyenva nno nkulagira okole ekyo.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34