bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 14
Deuteronomy 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 15 →
1
“Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Nga mukungubagira afudde temwesalaasalanga na kwemwa mu bwetikkiro,
2
kubanga muli bantu batukuvu ab'Omukama Katonda wo. Omukama yakulonda mu mawanga gonna agali ku nsi obeere ggwanga lye, ekkula lye”
3
“Temulyanga kintu na kimu ekyenyinyalwa.
4
Bino bye bisolo bye muyinzanga okulya: ente, endiga, embuzi,
5
engabi, ennangaazi, ensowe, embulabuzi, entamu, enteŋo, n'endiga ey'omu nsiko.
6
Muyinza okulya ensolo yonna eyawula ekiganja, ekinuulo nga kiryebulemu wabiri, ate ng'ezza obwenkulumu; eyo mugiryanga.
7
Naye zino temuziryanga okuva mw'ezo ezimenyerwa mu zizza obwenkulumu oba mu zaawula ekiganja, ez'ekinuulo ekiryebulemu: eŋŋamiya, akamyu n'omusu, kubanga zizza obwenkulumu naye tezaawula kiganja; ezo si nnongoofu gye muli.
8
Embizzi nayo si nnongoofu, kubanga eyawula ekiganja naye tezza bwenkulumu. Temulyanga nnyama yaabyo wadde okukwata ku kalannamye waabyo.
9
“Ku byonna ebibeera mu mazzi muyinza okulya ebyo ebirina amayindu n'amagamba.
10
Naye ebitalina mayindu na magamba temubiryanga; si birongoofu ku mmwe.
11
“Ennyonyi zonna ennongoofu muyinza okuzirya.
12
Zino zo temuziryanga: empungu, ensega, ne makwanzi,
13
kamunye, eddiirawamu na buli kika kya nsega nzirugavu,
14
buli kika kya nnamuŋŋoona,
15
wonzi, olubugabuga, enkunga, na buli kika kya kakubampanga,
16
ekiwuugulu, ekkufufu, ennunda,
17
ekiwuugulu eky'amatu, eŋŋaaŋa, olusoove,
18
enkonkonamasonko, buli kika kya ssekanyolya, ekkookootezi n'ekinyira.
19
Ebiwuka byonna ebibuuka, ebirina ebiwaawaatiro, si birongoofu gye muli, temubiryanga.
20
Buli kyonna ekibuuka, nga kirongoofu, mukiryanga.
21
“Temulyanga nnyama ya kalannamye. Oyinza okugiwa omugwira ali eyo mu bibuga byammwe, oba okugimuguza. Naye mmwe muli bantu ba Mukama Katonda wo abatukuvu. Tofumbanga kabuzi mu mata ga nnyina waako.
22
“Ku ebyo ensigo bye zaabaza ebiva mu nnimiro yo oggyangako ekyekkumi buli mwaka.
23
Ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo, n'ebiggulanda by'omu ggana lyo ne mu kisibo kyo, obiriiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, mu kifo ky'aliba alonze okussaamu erinnya lye; olyoke oyige okutya Omukama Katonda wo obudde bwonna.
24
Ekifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze okussaamu erinnya lye, bwe kiriba nga kikuli wala, ate nga ggwe Omukama akuwadde omukisa, naye nga tosobola kubitwalayo,
25
byonna obitundanga n'oggyamu ssente; ssente ozisibangako mu ngalo zo n'ozitwala mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze,
26
n'ozigulamu buli kyonna ky'oliba oyagadde, ng'ente, endiga, evviini, omwenge, leero kyonna omutima gwo kye guliba gusiimye. Ekyo ggwe n'ab'omu nnyumba yo mulikiriira eyo mu maaso g'Omukama Katonda wo, ne musanyuka.
27
Omuleevi gw'oli naye mu kibuga kyo tomwerabiranga, anti ye talina mugabo oba busika mu mmwe.
28
“Mu mwaka ogwokusatu, ku byonna by'obanga obazizza mu mwaka ogwo, oggyangako ekyekkumi, n'okitereka mu bibuga byo,
29
bw'atyo Omuleevi atalina mugabo oba busika mu mmwe, n'omugwira, n'enfuuzi, ne nnamwandu, abali mu bibuga byo, nabo balye bakkute, Omukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mirimu gyonna egy'emikono gyo gy'okola.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34