bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 25
Deuteronomy 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 26 →
1
“Bwe wabangawo abasoowaganye, batuukirirenga abalamuzi, bo balisalawo ensonga; omutuufu ne bamwejjeereza, ate omusobya ne bamusingisa omusango.
2
Omusobya bw'abanga asaanira kukubibwa, omulamuzi amugalamizanga wansi n'amukubira awo mu maaso ge; obungi bw'embooko bwa kugererwa ku bunene bw'omusango gwe,
3
kyokka tomukubanga kusukka mbooko makumi ana. Bw'alikubwa okusinga ku ezo, muganda wo aliba anyoomeddwa mu maaso go.
4
“Ente ewuula eŋŋano, togisibanga mumwa.
5
“Ab'oluganda bwe babanga bali wamu, omu ku bo n'afa nga talina mwana, nnamwandu w'omufu tafumbirwanga mulala w'ebweru, wabula muganda wa bba amuwasanga, atuukirize obuvunaanyizibwa bw'okuba mulamu we.
6
Omulenzi omukazi gw'asookanga okuzaala amuyitanga linnya lya muganda we omufu, erinnya ly'oli lireme kuzikirira mu Yisirayeli.
7
Naye omusajja bw'abanga tayagala kutwala muka muganda we, omukazi agendanga mu bakadde ku wankaaki w'ekibuga, n'agamba nti: ‘Mulamu wange tayagala linnya lya muganda we lisigale mu Yisirayeli, nange agaanyi okumpasa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw'okuba mulamu wange.’
8
Amangu ago abakadde bamutumyanga ne bamubuuza. Bw'agugubanga nti: ‘Saagala kumuwasa,’
9
nnamwandu wa muganda we asemberanga gy'ali nga n'abakadde weebali, n'amwambulamu engatto mu kigere kye ekimu, n'amuwandira amalusu mu maaso nga bw'agamba nti: ‘Kino kye bakola omuntu atayagala kusibusa zzadde lya muganda we.’
10
Mu Yisirayeli balimuyitanga ‘Nnyumba y'Omwambule Engatto’.
11
“Abasajja n'abasajja nga balwana, omukazi w'omu n'ayagala ataase bba mu mikono gy'amukuba, n'asoonookereza omukono gwe n'amubaka ebitundu bye eby'ekyama,
12
omukono gw'omukazi ogutemangako; tomukwatirwanga kisa.
13
“Mu nsawo yo tobeerangamu na minzaani za buzito bwa njawulo, ennene n'entono.
14
Mu nnyumba yo temubangamu efa za njawulo, engazi n'entono.
15
Obeeranga ne minzaani epima ekituufu, eyeesigika; obeeranga n'efa epima ekituufu, eyeesigika, olyoke owangaale ebbanga ggwanvu mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa.
16
Kubanga Omukama Katonda wo yeenyinyala yenna akola ebyo, buli yenna atali mwenkanya.
17
“Jjukira Amaleki bye yakukola mu kkubo lwe wava mu Misiri:
18
nga bwe yakusisinkana mu kkubo, lwe wali oweddemu amaanyi ng'okooye, n'atta ab'omu ggye lyo bonna abaali bakoobedde; teyatya na ku Katonda.
19
Awo nno Omukama Katonda wo bw'akuwanga n'oweerako ku balabe bonna abakwetoolodde mu nsi gy'agenda okukuwa ogitwale ng'obusika, osangulirangawo ddala erinnya lya Amaleki wansi w'eggulu. Teweerabiranga!
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34