bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 15
Deuteronomy 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 16 →
1
“Ku buli nkomerero ya myaka musanvu ojja kusonyiwanga amabanja.
2
Onookikolanga bw'oti: eyawola munne ajja kumusonyiwanga ky'amubanja; eky'okusaba munne oba muganda we amusasule ajja kukirekanga, kubanga Omukama alangiridde ekisonyiwo ky'amabanja.
3
Omugwira ye okyayinzanga okumubanja, naye ebbanja ly'obanja munnansi munno olisonyiwanga.
4
Mu mmwe temubangamu adooba, kubanga Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mungi mu nsi gy'alikuwa ogitwale ng'obusika bwo,
5
kasita oliba ng'owulidde eddoboozi ly'Omukama Katonda wo, n'otuusa ekiragiro kino kye nkulagira olwa leero.
6
Kubanga Omukama Katonda wo agenda kukuwa omukisa, nga bwe yasuubiza. Oliwola amawanga mangi, ate nga ggwe tewali gwe weewozeeko; olifuga amawanga mangi, ate ggwe nga tewali akufuga.
7
“Bwe wabangawo omwavu mu baganda bo mu kimu ku bibuga byo ebiri mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, bw'awammanga, tomukaluubiriranga, tokodowaliranga muganda wo mwavu;
8
wabula obanga mwetegefu okumuyamba n'okumwazika buli ky'ajula.
9
Wekkaanye, ekirowoozo ekibi tekikujjanga mu mutima n'ogamba nti: ‘Anti omwaka ogwomusanvu ogw'ekisonyiwo ky'amabanja gunaatera okutuuka,’ olwo n'otunuuliza muganda wo omwavu eriiso ebbi, nga toyagala kumwazika ky'asabye; yandireekaana eri Omukama olw'okubeera ggwe n'obaako omusango.
10
Omuweesanga kisa, sso si n'omutima ogutaagaane; olw'okubeera ekyo Omukama Katonda wo alikuwa omukisa na byonna emikono gyo bye gikola.
11
Mu nsi abaavu bulijjo balibeeramu; kale nno kyenva nkulagira obeere mugabi eri muganda wo, eri omwavu, n'eri ali mu bwetaavu ali mu nsi yo.
12
“Omwebureeyi munno, omusajja oba omukazi, bwe bamukuguzanga, n'amala emyaka mukaaga ng'akuweereza, mu mwaka ogwomusanvu, omutanga n'akuleka.
13
Ng'omusiibula, tomulekanga kugenda ngalo nsa;
14
omuwangayo okuva mu magana go, mu gguuliro lyo ne ku ssogolero lyo, Omukama Katonda wo nga naawe bw'aliba akuwadde.
15
Ojjukiranga nti naawe wali muddu e Misiri, Omukama Katonda wo n'akununulayo; kyenva nkulagira bwe ntyo olwa leero.
16
Bw'agamba nti: ‘Saagala kukuleka,’ kubanga ggwe n'amaka go abaagala, nga mumativu okubeera ewuwo,
17
oddiranga olukato, n'olumuyisa mu kutu kwe ne luyingira mu luggi; olwo nga wa kubeera muweereza wo ebbanga lyonna. N'omuzaana bw'omukolanga bw'otyo.
18
“Tokaluubirirwanga kumusiibula, kubanga singa ebadde mpeera ya kuwa mupakasi, eyiye olw'emyaka omukaaga gy'amaze ng'akuweereza, yandikubisizzaamu emirundi ebiri. Omukama Katonda wo agenda kukuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.
19
“Buli kiggulanda kyonna ekizaalibwa mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, kasita kiba kirume, okisingiranga Omukama Katonda wo. Ente esooka okuzaalibwa togikozesanga mirimu, n'endiga esooka okuzaalibwa togimwangako byoya.
20
Buli mwaka, ggwe ng'oli n'ab'omu maka go, ogiriiranga mu maaso g'Omukama, mu kifo Omukama ky'aliba alonze.
21
Naye ekisolo bwe kibeerangako akamogo oba nga kirema, oba nga tekiraba, oba nga kiriko enkeka ey'amaanyi, tokitambiriranga Mukama Katonda wo.
22
Okiriiranga eyo mu bibuga byo. Abalongoofu n'abatali balongoofu bayinza okukiryako, nga bwe mwandiridde ennangaazi oba engabi.
23
Gwo omusaayi gwakyo togulyanga, oyiwanga muyiwe ku ttaka ng'amazzi.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34