bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 4
Deuteronomy 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 5 →
1
“Kale nno, Yisirayeli, wulira amateeka n'ebiragiro bye mbayigiriza, mubituuse mulyoke musobole okuyingira mu nsi mugitwale, ensi Omukama Katonda wa bajjajjammwe gy'anaabawa.
2
Temugattanga kigambo ku bye mbagamba, era temuggyangako n'ekimu; wabula mukwatenga ebiragiro by'Omukama Katonda wammwe bye mbawa.
3
Mwalaba n'amaaso gammwe byonna Omukama bye yakola e Baali-Pewori; nga bwe yazikiriza mu mmwe bonna abaagobereranga Baali ow'e Pewori.
4
Sso mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mwenna muli balamu leero.
5
Wuuno nabayigiriza amateeka n'ebiragiro, ng'Omukama Katonda wange bwe yandagira, mubituusanga mu nsi gye mugenda okutwala.
6
Mubikwatanga butiribiri era mubituusanga. Olwo lwe muliraga mu maaso g'amawanga amagezi gammwe n'okutegeera kwammwe. Bwe baliwulira amateeka ago gonna, balyewuunya nti: ‘Mulabe eggwanga ettutumufu lino, eggezi era eggwanga eritegeera!’
7
Kale ggwanga ki eddala ettutumufu, eririna balubaale abaliri okumpi ng'Omukama Katonda waffe bw'ali naffe buli lwe tumukoowoola?
8
Ye ggwanga ki eddala ettutumufu, eririna amateeka n'ebiragiro ebituukirivu, ng'amateeka gano ge mbassa mu maaso gammwe leero bwe gali?
9
“Weekuume wennyini era wegendereze nnyo oleme kwerabira bintu amaaso go bye galabye, oba n'obireka ne bikuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo. Obiyigirizanga abaana bo ne bazzukulu bo.
10
Jjukira olunaku lwe wayimirira mu maaso g'Omukama Katonda wo ku Korebu, Omukama lwe yaŋŋamba nti: ‘Kuŋŋaanyiza we ndi abantu, bawulire ebigambo byange, bayige okuntya obudde bwonna bwe banaamala mu nsi, babiyigirize n'abaana baabwe.’
11
Mwasembera ne muyimirira wansi w'olusozi, olwabuubuukanga omuliro okutuuka ku ggulu, nga luliko ekire ekiddugavu n'enzikiza ekutte.
12
Omukama yayogera nammwe ng'ayima mu muliro wakati; ebigambo mwabiwulira kyokka temwalaba nfaanana ye, mwawulira ddoboozi lyokka.
13
Yabanjulira endagaano ye gye yalagira mugoberere, Ebigambo Ekkumi bye yawandiika ku mpande ebbiri ez'amayinja.
14
Mu budde obwo nange yandagira mbayigirize amateeka n'ebiragiro bye muteekwa okugoberera mu nsi gye mugenda okutwala.
15
“Mwekuume nnyo. Temwalaba nfaanana ye ku lunaku Omukama lwe yayogera nammwe ku Korebu ng'ayima wakati mu muliro,
16
muleme kwonooneka nga mwekolera ebifaananyi bya balubaale ebyole mu nfaanana ya buli kifaananyi, abeere musajja oba mukazi,
17
oba ekifaananyi eky'ekisolo kyonna ku nsi, oba eky'ekinyonyi kyonna ekibuuka mu bbanga,
18
oba eky'ebyewalula ku ttaka, oba eky'ebyennyanja ebiri wansi mu mazzi.
19
Bw'ositulanga amaaso eri eggulu n'olaba enjuba n'omwezi n'emmunyeenye, eggye lyonna ery'eggulu, tokemebwanga n'obivunnamira n'obisinza; ebyo byo Omukama Katonda wo yabirekera gali amawanga amalala gonna wansi w'eggulu.
20
Naye mmwe Omukama yabaggya mu kabiga k'essasa ly'e Misiri, obeere eggwanga lye, obusika bwe, nga bwe mumanyi bwe kiri kaakati.
21
“Omukama yansunguwalira olw'okubeera mmwe, n'alayira nti sijja kusomoka Yorudani na kuyingira mu nsi ennungi, Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa ebeere obusika bwo.
22
Nze ŋŋenda kufiira mu nsi eno; sijja kusomoka Yorudani, naye mmwe mujja kusomoka, ensi eyo amakula mugitwale.
23
Kyokka mwekkaanye, temwerabiranga endagaano y'Omukama Katonda wammwe gye yakuba nammwe, temwekoleranga bifaananyi bya balubaale byole mu nfaanana y'ebyo byonna Omukama Katonda wo bye yakugaana;
24
kubanga Omukama Katonda wo muliro ogusenkenya, Katonda ow'obuggya.
25
“Oluvannyuma ng'ozadde abaana n'abazzukulu, nga mumaze okulwa mu nsi, mumala mwonooneka nga mukola ekifaananyi kyonna ekyole mu nfaanana y'ekintu kyonna, ne mukola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda wo, ne mumunyiiza,
26
olwa leero mpita eggulu n'ensi ng'abajulirwa bange mu maaso gammwe, nti ensi gye mugenda okutwala nga musomose Yorudani, temuligibeeramu bbanga ggwanvu, mugenda kuzikiririra ddala.
27
Omukama alibasaasaanya mu mawanga, era abaliwonawo eyo mu mawanga Omukama gy'alibatwala baliba batono.
28
Eyo muliweererezaayo balubaale abantu be beekoledde mu miti ne mu mayinja, abatasobola kulaba, kuwulira, kulya wadde okuwunyiriza.
29
“Naye nga muli eyo bw'olinoonya Omukama Katonda wo, ogenda kumuggukako; naye ng'omunoonyezza n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna.
30
Ennaku bw'erimala okukuyinga, bino byonna nga bimaze okukugwira, gye bujja, olidda eri Omukama Katonda wo n'owulira eddoboozi lye.
31
Kubanga Omukama Katonda wo, Katonda wa kisa; talikuvaamu, talikuzikiriza, era talyerabira ndagaano ne bajjajjaabo gye yabalayirira.
32
“Tunula olabe mu nnaku ez'edda, edda nga tonnaba kubaawo, okuva Katonda lwe yatonda omuntu ku nsi; buuliriza okuva eggulu gye liva okutuuka gye likoma, olabe oba waali wabaddewo ekintu ekyenkana awo, oba kyali kiwuliddwako;
33
oba waali wabaddewo eggwanga ne liwulira eddoboozi lya Katonda ayogera ng'ayima mu muliro wakati, nga ggwe bwe waliwulira, n'asigala nga mulamu!
34
Oba waali wabaddewo lubaale agenda ne yeggyirayo eggwanga okuva mu ggwanga eddala nga yeeyamba ebigezo, n'obubonero, n'ebikuuno, n'entalo, n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, n'ebikolwa eby'entiisa, ng'ebyo Omukama Katonda wammwe bye yakola mu Misiri nga naawe olaba?
35
“Bino byakwolekebwa, olyoke omanye nti Omukama yennyini ye Katonda, era tewali mulala okuggyako ye.
36
Yakuwa n'owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu akuyigirize; ku nsi n'akulaga omuliro gwe ogubumbujja, n'owulira ebigambo bye nga biva mu muliro wakati.
37
Lwa kubeera nga yayagala bajjajjaabo, n'alonda ezzadde lyabwe eribaddirira. Yakuggya mu Misiri nga yeeyoleka yennyini era n'amaanyi ge ag'ekitalo,
38
alyoke agobewo amawanga amanene agakusinga amaanyi, akuyingize mu nsi yaabwe, agikuwe ng'obusika bwo, nga bwe kiri kaakati.
39
“Manya nno olwa leero, era okikwate mu mutima gwo, nti Omukama yennyini ye Katonda waggulu eyo mu ggulu, ne wansi mu nsi; teriiyo mulala.
40
Kwata amateeka ge n'ebiragiro bye bye nkuwa olwa leero, olyoke obeerenga bulungi n'abaana bo abalikuddirira, obeere mu nsi ebbanga ggwanvu, ensi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa emirembe gyonna.”
41
Musa n'ayawula ebibuga bisatu ebuvanjuba wa Yorudani
42
abeeranga asse munne gy'anaddukiranga, singa abeera amusse mu butanwa nga tebwali bukyayi mu kusooka. Alisobolanga okuddukira mu bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe.
43
Ebibuga nga ye Bezeri mu ddungu, ekiri mu nsi ey'omuseetwe, olw'ekika kya Rubeni; ne Ramoti mu Gileyaadi, olw'ekika kya Gaadi; ne Golani mu Basani, olw'ekika kya Manasse.
44
Lino lye tteeka Musa lye yawa Abayisirayeli;
45
bino ye njigiriza, amateeka n'ebiragiro bye yabuulira Abayisirayeli lwe baava e Misiri,
46
emitala wa Yorudani mu kiwonvu kya Beti-Pewori, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abaamori eyabeeranga mu Kesuboni, Musa n'Abayisirayeli gwe baakuba bwe baali bava e Misiri.
47
Baatwala ensi ye n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani, bakabaka abo ababiri ab'Abaamori abaali emitala ebuvanjuba wa Yorudani,
48
okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'omugga Arunoni, okutuuka ku lusozi Siyoni, ye Kerumoni,
49
ne Araba yenna emitala ebuvanjuba wa Yorudani okutuuka ku nnyanja y'e Araba wansi w'enkonko za Pisuga.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34